• 1 Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna; Naayolesanga ebikolwa byo eby'ekitalo byonna.
    2 Naasanyukanga naajagulizanga mu ggwe: Naayimbanga okutendereza erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo.
    3 Abalabe bange bwe badda ennyuma, Beesittala ne bazikirira mu maaso go.
    4 Kubanga ggwe wayamba ensonga yange n'ebigambo byange; Watuula ku ntebe, ng'osala omusango ogw'ensonga.
    5 Waboggolera amawanga, wazikiriza ababi, Wasangula erinnya lyabwe emirembe n'emirembe.
    6 Abalabe baweddewo, baviibwamu emirembe egitaggwaawo; N'ebibuga bye wamenya. Era n'ekijjukizo kyabyo kizikiridde.
    7 Naye Mukama abeererawo emirembe egitaggwaawo: Ateeseteese entebe ye okusala omusango.
    8 Naye alisala omusango ogw'ensi zonna mu butuukirivu, Aliwa omusango amawanga mu mazima.
    9 Era Mukama anaabeeranga kigo ekiwanvu eri abayigganyizibwa, Ekigo ekiwanvu mu biro eby'ennaku;
    10 N'abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe; Kubanga ggwe, Mukama, tonnabaleka abakunoonya.
    11 Muyimbe okutendereza Mukama, atuula mu Sayuuni: Mubuulire ebikolwa bye mu bantu.
    12 Kubanga oyo avunaana omusaayi abajjukira: Teyeerabira kukaaba kw'abaavu.
    13 Onsaasire, ai Mukama; Laba okubonaabona kwange kwe bankola abankyaye, Ggwe annyimusa ku miryango egy'olumbe;
    14 Ndyoke njolesenga ettendo lyo lyonna: Mu miryango egy'omuwala wa Sayuuni Naasanyukiranga obulokozi bwo.
    15 Amawanga gagudde mu bunnya bwe baasima: Mu kyambika kye baatega ekigere kyabwe mwelukwatiddwa:
    16 Mukama yeetegeezezza, atuukirizza omusango: Omubi akwatibwa mu mirimu gy'emikono gye. (Kiggayoni. Seera
    17 Ababi balidda mu magombe. Ge mawanga gonna ageerabira Katonda.
    18 Kubanga abaavu tebeerabirwenga ennaku zonna, So essuubi ery'abawombeefu teriibulenga emirembe gyonna.
    19 Golokoka, ai Mukama; abantu balemenga okuwangula: Amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
    20 Obatiise, ai Mukama: Amawanga geetekeere nga bantu buntu. (Seera)