• 1 Naayimbanga ku kusaasira ne ku musango: Ggwe, ai Mukama, gwe nnaayimbiranga okutendereza.
    2 Naatambuliranga n'amagezi mu kkubo ettuukirivu: Woowe, olijja gye ndi ddi? Naatambuliranga mu nnyumba yange n'omutima ogutuukiridde.
    3 Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange: Nkyawa omulimu gw'abo abakyama; Tegwegattenga nange:
    4 Omutima ogutawulira gulindekera ddala: Sirimanya kintu kyonna kibi.
    5 Awaayiririza munne mu kyama, oyo n'azikirizanga: Alina amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala siimugumiikirizenga.
    6 Amaaso gange ganaatunuuliranga abeesigwa ab'omu nsi, batuulenga wamu nange: Atambulira mu kkubo ettuukirivu ye anampeerezanga.
    7 Akola eby'obulimba talituula mu nnyumba yange: Ayogera ebitali bya mazima talinywera mu maaso gange.
    8 Buli nkya naazikirizanga ababi bonna ab'omu nsi; Mmalewo bonna abakola ebitali bya butuukirivu baggweewo mu kibuga kya Mukama.