Chapter 29
1 Dawudi kabaka n'agamba ekibiina kyonna nti Sulemaani mutabani wange Katonda gw'alonze yekka akyali mwana muto, n'omulimu munene: kubanga eriyumba si lya bantu naye lya Mukama Katonda.
2 Nze nno ntegekedde ennyumba ya Katonda wange n'amaanyi gange gonna zaabu (ey'ebintu) ebya zaabu, ne ffeeza ey'ebintu ebya ffeeza, n'ebikomo eby'ebintu eby'ebikomo, ebyuma eby'ebintu eby'ebyuma, n'emiti egy'ebintu eby'emiti; amayinja aga onuku n'amayinja ag'okutona, amayinja ag'omulimu ogw'enjola n'ag'amabala mangi, n'amayinja ag'omuwendo omungi ag'engeri zonna, n'amayinja amanyirivu mangi nnyo.
3 Era nate kubanga ntadde okwagala kwange ku nnyumba ya Katonda wange, kubanga nnina obugagga bwange ku bwange obwa zaabu ne ffeeza, mbuwa ennyumba ya Katonda wange, okusukkiriza byonna bye ntegekedde ennyumba entukuvu;
4 talanta eza zaabu enkumi ssatu, zaabu ya Ofiri, ne talanta eza ffeeza eyalongoosebwa kasanvu, okugibissa ku bisenge by'ennyumba nayo:
5 zaabu ya bintu ebya zaabu, ne ffeeza ya bintu ebya ffeeza, n'olw'emirimu egy'engeri zonna egirikolebwa n'emikono gy'abafundi. Kale ani awaayo ku bubwe okwewonga leero eri Mukama?
6 Awo abakulu b'ennyumba za bakitaabwe n'abakulu b'ebika bya Isiraeri n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi wamu n'abalabirizi b'emirimu gya kabaka, ne bawaayo ku bwabwe;
7 ne bawa olw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda, zaabu talanta enkumi ttaano ne daliki kakumi, ne ffeeza talanta kakumi, n'ebikomo talanta kakumi mu kanaana, n'ebyuma talanta kasiriivu.
8 N'abo abaalabika nga balina amayinja ag'omuwendo omungi ne bagawa eri obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama wansi w'omukono gwa Yekyeri Omugerusoni.
9 Awo abantu ne basanyuka kubanga baawaayo ku bwabwe, kubanga baawaayo ku bwabwe eri Mukama n'omutima ogutuukiridde: era ne Dawudi kabaka n'asanyuka essanyu ddene.
10 Dawudi kyeyava yeebaliza Mukama mu maaso g'ekibiina kyonna: Dawudi n'ayogera nti Weebazibwe, ai Mukama, Katonda wa Isiraeri jjajjaffe, emirembe n'emirembe.
11 Obukulu bubwo n'amaanyi n'ekitiibwa n'okuwangula n'okugulumizibwa: kubanga byonna ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi (bibyo); obwakabaka bubwo, ai Mukama, era ogulumizibwa okuba omutwe gwa byonna.
12 Obugagga era n'ekitiibwa biva gyoli, era ggwe ofuga bonna; era mu mukono gwo mwe muli obuyinza n'amaanyi; era mu mukono gwo mwe muli okukuza n'okuwa bonna amaanyi.
13 Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza ne tutendereza erinnya lyo ery'ekitiibwa.
14 Naye nze ani n'abantu bange kye ki, ffe okuyinza okuwaayo bwe tutyo ku bwaffe ddala? kubanga byonna biva gyoli, era tukuwadde ku bibyo.
15 Kubanga ffe tuli bagenyi mu maaso go era batambuze nga bajjajjaffe bonna bwe baali: ennaku zaffe ez'oku nsi ziri ng'ekisiikirize, so tewali kubeerera.
16 Ai Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tutegese okukuzimbira ennyumba olw'erinnya lyo ettukuvu biva mu mukono gwo, era byonna bibyo.
17 Era mmanyi, Katonda wange, nga ggwe okema omutima era osanyukira amazima. Nze, nga nnina omutima ogw'amazima, mpaddeyo ku bwange bino byonna: era kaakano ndabye abantu bo abali wano nga bawaayo ku bwabwe gyoli ne nsanyuka.
18 Ai Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Isiraeri, bajjajjaffe, onyweze kino mu kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gw'abantu bo, oteeketeeke omutima gwabwe gyoli:
19 era owe Sulemaani mutabani wange omutima ogutuukiridde okukwata ebiragiro byo, n'ebyo bye wategeeza, n'amateeka go, n'okukola ebyo byonna, n'okuzimba ennyumba gye ntegekedde ebintu.
20 Dawudi n'agamba ekibiina kyonna nti Kaakano mwebaze Mukama Katonda wammwe. Ekibiina kyonna ne beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama ne kabaka.
21 Ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku lw'okubiri olunaku olwo nga luwedde, ente lukumi n'endiga ennume lukumi, n'abaana b'endiga lukumi n'ebiweebwayo byako ebyokunywa, ne ssaddaaka nnyingi nnyo olwa Isiraeri yenna;
22 ne baliira ne banywera mu maaso ga Mukama ku lunaku olwo ne basanyuka nnyo. Ne bafuula Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka omulundi ogw'okubiri, ne bamufukako amafuta eri Mukama okuba omulangira ne Zadoki okuba kabona.
23 Awo Sulemaani n'atuula ku ntebe ya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, n'alaba omukisa; Isiraeri yenna ne bamugondera.
24 Abakulu bonna n'abasajja ab'amaanyi era ne batabani ba Dawudi kabaka bonna ne bagondera Sulemaani kabaka.
25 Mukama n'agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isiraeri yenna n'amuwa ekitiibwa eky'obwakabaka ekitalabwanga ku kabaka yenna eyamusooka mu Isiraeri.
26 Era Dawudi mutabani wa Yese yafuga Isiraeri yenna.
27 N'ebiro bye yafugira Isiraeri byali emyaka amakumi ana; yafugira emyaka musanvu e Kebbulooni, era yafugira emyaka asatu mu esatu mu Yerusaalemi.
28 N'afa ng'akaddiye bulungi, ng'ajjudde ennaku n'obugagga n'ekitiibwa. Sulemaani mutabani we n'afuga mu kifo kye.
29 Era ebikolwa bya Dawudi kabaka, ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Samwiri omulabi ne mu bigambo bya Nasani nabbi ne mu bigambo bya Gaadi omulabi;
30 era n'okufuga kwe kwonna n'amaanyi ge n'ebiro ebyamuyitako ye ne Isiraeri n'amatwale gonna ag'ensi ezo.