Chapter 1
1 Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n'anywezebwa mu bwakabaka bwe, Mukama Katonda we n'aba naye, n'amugulumiza nnyo.
2 Sulemaani n'ayogera ne Isiraeri yenna, abaami b'enkumi n'ab'ebikumi n'abalamuzi na buli mukulu mu Isiraeri yenna, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe.
3 Awo Sulemaani n'ekibiina kyonna wamu naye ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni; kubanga eyo ye yali eweema ya Katonda ey'okusisinkanirangamu, Musa omuddu wa Mukama gye yakola mu ddungu.
4 Naye essanduuko ya Katonda Dawudi yali agirinnyisizza n'agiggya e Kiriyasuyalimu n'agireeta mu kifo Dawudi kye yagitegekera: kubanga yali agikubidde eweema e Yerusaalemi.
5 Era nate ekyoto eky'ekikomo Bezaaleri mutabani wa Uli mutabani wa Kuuli kye yakola kyali eyo mu maaso g'eweema ya Mukama: Sulemaani n'ekibiina ne bagendanga gye kiri.
6 Sulemaani n'ayambukayo eri ekyoto eky'ekikomo mu maaso ga Mukama ekyali ku weema ey'okusisinkanirangamu, n'aweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.
7 Mu kiro ekyo Katonda n'alabikira Sulemaani, n'amugamba nti Saba kye mba nkuwa.
8 Sulemaani n'agamba Katonda nti Walaga Dawudi kitange ekisa kingi, n'onfuula kabaka mu kifo kye.
9 Kale, ai Mukama Katonda, ekigambo kye wasuubiza Dawudi kitange kinywezebwe: kubanga onfudde kabaka w'abantu abafaanana enfuufu ey'oku nsi obungi.
10 Mpa nno amagezi n'okumanya, nfulumenga nnyingirenga mu maaso g'abantu bano: kubanga ani ayinza okusalira emisango abantu bo bano abenkanidde awo obukulu?
11 Katonda n'agamba Sulemaani nti Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, so tosabye bugagga, ebintu, newakubadde ekitiibwa, newakubadde obulamu bw'abo abakukyawa, so tosabye kuwangaala; naye weesabidde amagezi n'okumanya, osalirenga emisango abantu bange, be nkufuulidde kabaka:
12 amagezi n'okumanya oweereddwa; era ndikuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa by'atabanga nabyo n'omu ku bassekabaka abaakusooka, so tewaliba oluvannyuma lwo aliba nabyo.
13 Awo Sulemaani n'ava ku lugendo lwe n'ajja eri ekifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni, ng'ava mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ajja e Yerusaalemi; n'afuga Isiraeri.
14 Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagala embalaasi: era yalina amagaali lukumi mu bina n'abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awali kabaka e Yerusaalemi.
15 Kabaka n'afuula ffeeza ne zaabu mu Yerusaalemi okuba ng'amayinja obungi, okuba ng'amayinja, n'emivule yagifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu nsenyi obungi.
16 Era embalaasi Sulemaani ze yalina baaziggyanga mu Misiri; abasuubuzi ba kabaka ne baziweebwanga bisibo, buli kisibo n'omuwendo gwakyo.
17 Era eggaali baalikimanga nga baliggya mu Misiri nga lijjirira (sekeri) lukaaga eza ffeeza, n'embalaasi ng'ejjirira kikumi mu ataano; era bassekabaka bonna ab'Abakiiti bwe batyo ne bassekabaka ab'e Busuuli, baaziggyangamu mu mukono gwabwe.