1 Ebyomumirembe

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29


Chapter 4

1 Ne batabani ba Eriwenayi; Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanani, ne Deraya, ne Anani, musanvu.
2 Ne Leyaya mutabani wa Sobali n'azaala Yakasi; Yakasi n'azaala Akumayi ne Lakadi. Ezo ze nda ez'Abazolaasi.
3 Era bano be baali abaana ba kitaawe wa Etamu; Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi: n'erinnya lya mwannyinaabwe yali Kazzereruponi:
4 ne Penueri kitaawe wa Gedoli, ne Ezeri kitaawe wa Kusa. Abo be batabani ba Kuuli omubereberye wa Efulaasa, kitaawe wa Besirekemu.
5 Era Asukuli kitaawe wa Tekowa yalina abakazi babiri, Keera ne Naala.
6 Naala n'amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni, ne Kaakasutali. Abo be baali batabani ba Naala.
7 Ne batabani ba Keera ye Zeresi; Izukaali, ne Esunani.
8 Kakkozi n'azaala Anubu, ne Zobeba, n'enda za Akalukeri mutabani wa Kalumu.
9 Yabezi n'aba n'ekitiibwa okukira baganda be: nnyina n'amutuuma erinnya Yabezi, ng'ayogera nti Kubanga namuzaala lwa buyinike.
10 Yabezi n'akaabiriranga Katonda wa Isiraeri, ng'ayogera nti Singa ompeeredde ddala omukisa, n'ogaziya ensalo yange, era oba nga omukono gwo gunaabanga nange n'onkuuma obutalaba bubi, buleme okunnumya omwoyo! Katonda n'amuwa kye yasaba.
11 Kerubu muganda wa Suwa n'azaala Mekiri, eyali kitaawe wa Esutoni.
12 Esutoni n'azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina kitaawe wa Irunakasi. Abo be basajja ab'e Leka.
13 Ne batabani ba Kenazi; Osunieri ne Seraya: ne batabani ba Osunieri; Kasasi.
14 Myonosaayi n'azaala Ofula: Seraya n'azaala Yowaabu kitaawe wa Gekalasimu; kubanga baali bafundi.
15 Ne batabani ba Kalebu mutabani wa Yefune; Iru, Era, ne Naamu: ne batabani ba Era; ne Kenazi.
16 Ne batabani ba Yekalereri; Zifu, ne Zifa, ne Tiriya, ne Asaleri.
17 Ne batabani ba Ezula; Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni: oyo n’azaala Miryamu ne Sammayi, ne Isuba kitaawe wa Esutemoa.
18 Ne mukazi we Omuyudaaya n'azaala Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanowa. Awo abo be batabani ba Bisiya muwala wa Falaawo, Meredi gwe yawasa.
19 Ne batabani ba muka Kodiya mwannyina Nakamu ye kitaawe wa Keyira Omugaluni, ne Esutemoa Omumaakasi.
20 Ne batabani ba Simoni; Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi. Ne batabani ba Isi; Zokesi ne Benizokesi.
21 Batabani ba Seera mutabani wa Yuda; Eri kitaawe wa Leka, ne Laada kitaawe wa Malesa, n'ebika eby'ennyumba yaabo abaaluka bafuta ennungi, eby'ennyumba ya Asubeya;
22 ne Yokimu, n'abasajja ab'e Kozeba, ne Yowaasi, ne Salafu, abaafuganga mu Mowaabu, ne Yasubirekemu. Era ebigambo ebyo bya dda.
23 Abo be baali abajoona, era abaatuula mu Netayimu ne mu Gedera: eyo gye baabeeranga ne kabaka olw'omulimu gwe.
24 Batabani ba Simyoni: Nemweri, ne Yanini, Yalibu, Zeera, Sawuli:
25 Sallumu mutabani we, Mibusamu mutabani we, Misuma mutabani we.
26 Ne batabani ba Misuma; Kammweri mutabani we, Zakkuli mutabani we, Simeeyi mutabani we.
27 Simeeyi n'azaala abaana ab'obulenzi kkumi na mukaaga n'ab'obuwala mukaaga; naye baganda be tebaazaala baana bangi, so n'ekika kyabwe kyonna tekyayala okwenkana abaana ba Yuda.
28 Ne babeeranga e Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuali;
29 ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi;
30 Besweri ne Koluma, ne Zikulagi;
31 ne Besumalukabosi, ne Kazalususimu, ne Besubiri, ne Saalayimu. Ebyo bye byali ebibuga okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka.
32 N'ebyalo byabwe byali Etamu, ne Ayini, Limmoni, ne Tokeni, ne Asani, ebibuga bitaano:
33 n'ebyalo byabwe byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuusa e Baali. Ago ge gaali amaka gaabwe, era bamanyi amannya ga bajjajjaabwe.
34 Ne Mesobabu, ne Yamuleki, ne Yosa mutabani wa Amaziya;
35 ne Yoweeri, ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, mutabani wa Seraya, mutabani wa Asyeri;
36 ne Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya, ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya;
37 ne Ziza mutabani wa Sifi, mutabani wa Alloni, mutabani wa Yedaya, mutabani wa Simuli, mutabani wa Semaaya;
38 abo abaatuddwa amannya gaabwe baabanga bakulu mu bika byabwe: n'ennyumba za bajjajjaabwe ne zeeyongeranga nnyo.
39 Ne bajja awayingirwa mu Gedoli, ku luuyi lw'ekiwonvu olw'ebuvanjuba, okunoonyeza ebisibo byabwe omuddo.
40 Ne balaba omuddo omugimu omulungi, era ensi yali ngazi era ng'eteredde era nga mirembe; kubanga abaabeeranga omwo olubereberye baali ba Kaamu.
41 Era abo abawandiikiddwa amannya gaabwe bajja ku mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, ne balumba eweema zaabwe, n'Abamewuni abaalabikayo, ne babazikiririza ddala, ne leero, ne babeera mu kifo kyabwe: kubanga ng'eriyo omuddo ogw'ebisibo byabwe.
42 Awo abamu ku bo, ku batabani ba Simyoni, abasajja ebikumi bitaano, ne bagenda ku lusozi Seyiri, nga balina abakulu baabwe Peratiya ne Neyaliya ne Lefaya ne Wuziyeeri, batabani ba Isi.
43 Ne bakuba ekitundu ky'Abamaleki ekyafikkawo ekyawona, ne babeera eyo ne leero.