Chapter 11
1 Awo Abaisiraeri bonna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, nga boogera nti Laba, tuli ba ku magumba go na mubiri gwo.
2 Mu biro eby'edda Sawulo bwe yali nga ye kabaka, ggwe wafulumyanga n'oyingiza Isiraeri: Mukama Katonda wo n'akugamba nti Ggwe olirunda abantu bange Isiraeri, era ggwe oliba omulangira w'abantu bange Isiraeri.
3 Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; Dawudi n'alagaana nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama; ne bafuka ku Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Samwiri.
4 Awo Dawudi ne Isiraeri yenna ne bagenda e Yerusaalemi (ye Yebusi;) era Abayebusi, be b'omu nsi eyo, baali eyo.
5 Awo Abayebusi ne bagamba Dawudi nti Tojja kuyingira muno. Naye Dawudi n'amenya ekigo kye Sayuuni; ekyo kye kibuga kya Dawudi.
6 Dawudi n'ayogera nti Buli anaasooka okugoba Abayebusi ye aliba omukulu era omwami. Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'asooka okulinnya, n'afuuka mukulu.
7 Dawudi n'abeera mu kigo; kyebaava bakiyita ekibuga kya Dawudi.
8 N'azimba ekibuga enjuyi zonna, okuva e Miiro n'enjuyi zonna: Yowaabu n'addaabiriza ebitundu by'ekibuga ebyasigalawo.
9 Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba omukulu; kubanga Mukama ow'eggye ng'ali naye.
10 Era bano be baasinga obukulu mu bazira Dawudi be yalina, abeeraga nga ba maanyi eri ye mu bwakabaka bwe wamu ne Isiraeri yenna, okumufuula kabaka, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali ekya Isiraeri.
11 Era guno gwe muwendo gw'ab'amaanyi Dawudi be yalina: Yasobeyamu, omwana w'Omukakumoni, omukulu w'abo amakumi asatu: yayimusa effumu lye okulwana n'ebikumi bisatu n'abatta omulundi gumu.
12 N'oluvannyuma lw'oyo Eriyazaali mutabani wa Dodo, Omwakowa, ow'oku basajja ab'amaanyi abasatu.
13 Oyo yali wamu ne Dawudi e Pasudammiimu, era Abafirisuuti ne bakuŋŋaanira eyo okulwana, awaali omusiri ogwa sayiri; abantu ne badduka mu maaso g'Abafirisuuti.
14 Ne bayimirira wakati mu nnimiro ne bagulwanirira, ne batta Abafirisuuti; Mukama n'abalokola n'okuwangula okukulu.
15 Awo abasatu ku bakulu amakumi asatu ne baserengeta eri olwazi eri Dawudi, mu mpuku ya Adulamu; eggye ly'Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu.
16 Era Dawudi yali ali ku kiddukiro mu biro ebyo, n'Abafirisuuti ab'omu kigo nga bali mu Besirekemu.
17 Dawudi ne yeegomba n'ayogera nti Singa wabaddewo anannywesa amazzi ag'omu luzzi olw'e Besirekemu, oluliraanye omulyango!
18 Awo abo abasatu ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu olwaliraana omulyango, ne bagatwala ne bagaleetera Dawudi: naye Dawudi n'atakkiriza kunywako, naye n'agafuka eri Mukama, n'ayogera nti
19 Katonda wange akiddize eri gye ndi nze okukola bwe ntyo: nnywe omusaayi gw'abasajja bano abavudde mu bulamu bwabwe? kubanga bagaleese nga bavudde mu bulamu bwabwe. Kyeyava agaana okuganywa. Ebyo abasajja abo ab'amaanyi abasatu bye baakola.
20 Era Abisaayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w'abasatu kubanga yayimusa effumu lye okulwana n'ebikumi bisatu n'abatta, n'ayatiikirira ku basatu.
21 Ku abo abasatu yali n'ekitiibwa okusinga ababiri, n'afuuka omukulu waabwe: naye n'atenkana abasatu ab'olubereberye.
22 Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omuzira ow'e Kabuzeeri, eyali akoze eby'amaanyi, oyo n'atta batabani ba Alyeri, owa Mowaabu bombi: era n'aserengeta n'atta empologoma wakati mu bunnya mu biro eby'omuzira.
23 Era n’atta Omumisiri, omusajja omuwanvu ennyo, obuwanvu bwe emikono etaano; era Omumisiri yali akutte mu ngalo ze effumu eryali ng'omuti ogulukirwako engoye; yaserengeta gy'ali ag'alina omuggo, n'asika effumu n'aliggya mu mukono gw'Omumisiri, n'amutta n'effumu lye ye.
24 Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, n'ayatiikirira ku basajja abo ab'amaanyi abasatu.
25 Laba, yali n'ekitiibwa okusinga abo amakumi asatu, naye n'atenkana abasatu ab'olubereberye: Dawudi n'amufuula omukulu w'abambowa be.
26 Era abasajja ab'amaanyi ab'omu ggye; Aaskeri muganda wa Yowaabu, Erukanani mutabani wa Dodo ow'e Besirekemu;
27 Sammosi Omukalooli, Kerezi Omuperoni;
28 Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa, Abiyezeeri Omwanasosi;
29 Sibbekayi Omukusasi, Irayi Omwakowa;
30 Makalayi Omunetofa; Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa;
31 Isayi mutabani wa Libayi owe Gibeya ow'oku baana ba Benyamini, Benaya Omupirasoni;
32 Kulayi ow'oku bugga obw'e Gaasi, Abyeri Omwaluba;
33 Azimavesi Omubakalumi, Eriyaba Omusaaluboni:
34 batabani ba Kasemu Omugizoni, Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali;
35 Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali, ,Erifali mutabani wa Uli;
36 Keferi Omumekera, Akiya Omuperoni;
37 Kezulo Omukalumeri, Naalayi mutabani wa Ezubayi;
38 Yoweeri muganda wa Nasani, Mibukali mutabani wa Kaguli;
39 Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, eyatwaliranga Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ebyokulwanyisa bye;
40 Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli;
41 Uliya Omukiiti, Zabadi mutabani wa Akulayi;
42 Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, omwami ow'omu Balewubeeni, n'amakumi asatu wamu naye;
43 Kanani mutabani wa Maaka, ne Yosafati Omumisuni;
44 Uzziya Omwasutaloosi, Sama ne Yeyeeri batabani ba Kosamu Omwaloweri;
45 Yediyayeri mutabani wa Simuli, ne Yoka muganda we, Omutiizi;
46 Eryeri Omumakavi, ne Yeribayi, ne Yosaviya, batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu;
47 Eryeri ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba.