1 Ebyomumirembe

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29


Chapter 16

1 Ne bayingiza essanduuko ya Katonda, ne bagisimba wakati mu weema Dawudi gye yagikubira: ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Katonda.
2 Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama.
3 N'agabira buli muntu mu Isiraeri, abasajja era n'abakazi, buli muntu omugaati n'omugabo ogw'ennyama n'ekitole eky'ezabbibu enkalu.
4 Era n'assaawo abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g'essanduuko ya Mukama, n'okujjukizanga n'okwebazanga Mukama, Katonda wa Isiraeri n'okumutenderezanga:
5 Asafu omukulu, addirira Zekkaliya, Yeyeeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, nga balina entongooli n'ennanga; ne Asafu ng'alina ebitaasa nga bivuga nnyo;
6 ne Benaya ne Yakaziyeeri bakabona nga balina amakondeere ennaku zonna mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Katonda.
7 Awo ku lunaku olwo Dawudi kwe yasookera okulagira okwebaza Mukama n'omukono gwa Asafu ne baganda be.
8 Mwebaze Mukama, mukaabirire erinnya lye; Mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
9 Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza; Mwogere ku by'amagero bye byonna.
10 Mwenyumirize olw'erinnya lye ettukuvu; Omutima gw'abo abanoonya Mukama gusanyuke.
11 Munoonye Mukama n'amaanyi ge; Munoonye amaaso ge ennaku zonna.
12 Mujjukire eby'amagero bye bye yakola; Eby'ekitalo bye, n'emisango egy'akamwa ke;
13 Mmwe ezzadde lya Isiraeri omuddu we, Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
14 Oyo ye Mukama Katonda waffe: Emisango gye gibuna ensi zonna.
15 Mujjukire endagaano ye ennaku zonna. Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi:
16 (Endagaano) gye yalagaana ne Ibulayimu, N'ekirayiro kye yalayirira Isaaka;
17 N'ekyo n'akinyweza eri Yakobo okuba etteeka. Eri Isiraeri okuba endagaano eteriggwaawo:
18 Ng'ayogera nti Ggwe ndiwa ensi ya Kanani, Omugabo ogw'obusika bwammwe:
19 Bwe mwali abantu abatono omuwendo gwammwe; Weewaawo, abatono ennyo, era abo batambuze omwo;
20 Ne batambulatambulanga mu mawanga agatali gamu: Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala.
21 Teyaganya muntu kuboonoona; Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe;
22 Ng'ayogera nti Temukomanga ku abo be nnafukako amafuta, So temukolanga bubi bannabbi bange.
23 Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna; Mwolese obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku.
24 Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga, Eby'amagero bye mu bantu bonna.
25 Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: Era agwana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
26 Kubanga bakatonda bonna ab'amawanga bye bifaananyi: Naye Mukama ye yakola eggulu.
27 Ekitiibwa n'obukulu biri mu maaso ge: Amaanyi n'essanyu biri mu kifo kye.
28 Muwe Mukama, mmwe ebika eby'amawanga, Muwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi.
29 Muwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye: Muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge: Musinze Mukama mu bulungi obw'obutukuvu:
30 Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana.
31 Eggulu lisanyuke, era n'ensi ejaguze; Boogere mu mawanga nti Mukama afuga.
32 Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo; Ennimiro ejaguze, n'ebigirimu byonna;
33 Emiti egy'omu kibira ne giryoka giyimba olw'essanyu mu maaso ga Mukama,Kubanga ajja okusalira ensi emisango.
34 Kale mwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
35 Mwogere nti Otulokole, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe, Otukuŋŋaanye otuwonye mu mawanga, Okwebaza erinnya lyo ettukuvu, N'okujaguliza ettendo lyo.
36 Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. Awo abantu bonna ne boogera nti Amiina, ne batendereza Mukama.
37 Awo n'aleka eyo mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama Asafu ne baganda be, okuweererezanga mu maaso g'essanduuko obutayosangawo, ng'omulimu ogwa buli lunaku bwe gwayagalanga:
38 ne Obededomu ne baganda baabwe, nkaaga mu munaana; era ne Obededomu mutabani wa Yedusuni ne Kosa okuba abaggazi;
39 ne Zadoki kabona, ne baganda be bakabona, mu maaso g'eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni,
40 okuweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa obutayosa enkya n'akawungeezi, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yalagira Isiraeri;
41 era wamu nabo Kemani ne Yedusuni, n'abalala abaalondebwa, abaayatulwa amannya gaabwe, okwebaza Mukama kubanga okusaasira kwe (kubeerera) emirembe gyonna;
42 era wamu nabo Kemani ne Yedusuni nga balina amakondeere n'ebitaasa olw'abo abagenda okubikuba, era (nga balina) ebireeta ennyimba za Katonda: ne batabani ba Yedusuni okuba ku mulyango.
43 Abantu bonna ne bagenda buli muntu ewuwe: Dawudi n'addayo okusabira ennyumba ye omukisa.