1 Ebyomumirembe

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29


Chapter 12

1 Era bano be bajja eri Dawudi e Zikulagi ng'akyekwese olwa Sawulo, mutabani wa Kiisi: era baabanga mu basajja ab'amaanyi abaamubeeranga okulwana.
2 Baakwatanga emitego era baayinza okuvuumuula amayinja n'okulasa obusaale ku mutego n'omukono ogwa ddyo era n'ogwa kkono; baali ba ku baganda ba Sawulo, ba Benyamini.
3 Akiyezeri ye yali omukulu, Yowaasi n'amuddirira, batabani ba Semaa Omugibeya; ne Yeziyeri ne Pereti, batabani ba Azumavesi; ne Beraka, ne Yeeku Omwanasosi;
4 ne Isumaya Omugibyoni, omusajja ow'amaanyi mu abo amakumi asatu, era omukulu w'amakumi asatu; Yeremiya, ne Yakaziyeri, ne Yokanani, ne Yozabadi Omugederi;
5 Eruzayi ne Yerimosi, ne Beyaliya ne Semaliya, ne Sefatiya Omukalufu;
6 Erukaana ne Issiya ne Azaleri ne Yowezeeri ne Yasobeyamu, Abakoola;
7 ne Yowera ne Zebadiya, batabani ba Yerokamu ow'e Gedoli.
8 Ne ku Bagaadi ne kweyawula abaagoberera Dawudi ku kiddukiro mu ddungu abasajja ab'amaanyi abazira, abasajja abaayigirizibwa okulwana, abaayinza okukwata engabo n'effumu; amaaso gaabwe nga gafaanana amaaso g'empologoma, era ab'embiro ng'empeewo eziri ku nsozi;
9 Ezeri omukulu, Obadiya ow'okubiri, Eriyaabu ow'okusatu;
10 Misumanna ow'okuna, Yeremiya ow'okutaano;
11 Attayi ow'omukaaga, Eriyeri ow'omusanvu;
12 Yokanani ow'omunaana, Eruzabadi ow'omwenda;
13 Yeremiya ow'ekkumi, Makubannayi ow'ekkumi n'omu.
14 Abo ab'oku baana ba Gaadi be baali abakulu b'eggye; omuto nga yenkana ekikumi, n'omukulu nga yenkana olukumi.
15 Abo be baasomoka Yoludaani mu mwezi ogw'olubereberye, nga gumaze okwanjaala ku ttale lyagwo lyonna; ne bagoba abo bonna ab'omu biwonvu, ebuvanjuba era n'ebugwanjuba.
16 Awo ku baana ba Benyamini ne Yuda ne kujja mu kiddukiro eri Dawudi.
17 Dawudi n'afuluma okubasisinkana, n'addamu n'abagamba nti Oba nga muzze gye ndi mirembe okunnyamba, omutima gwange guneegatta nammwe: naye oba nga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, nga temuli kabi nu mikono gyange, Katonda wa bajjajjaffe akitunuulire, akinenye:
18 Awo omwoyo ne gulyoka gujja ku Amasayi, eyali omukulu w'abo amakumi asatu, n'ayogera nti Tuli babo, Dawudi, era tuli ku lulwo, gwe mutabani wa Yese: emirembe, emirembe gibe gy'oli, era emirembe gibe eri abo abakuyamba; kubanga Katonda wo akuyamba. Awo Dawudi n'abaaniriza, n'abafuula abaami b'ekitongole.
19 Era ne ku Manase ne kusenguka abamu ne basenga Dawudi, bwe yajja awamu n'Abafirisuuti okutabaala Sawulo, naye ne batabayamba: kubanga abakungu b'Abafirisuuti bwe baamala okuteesa ne bamugoba, nga boogera nti Anaasenga mukama we Sawulo n'aleeta akabi ku mitwe gyaffe.
20 Bwe yali ng'agenda e Zikulagi, ne kumusenga ku Manase Aduna ne Yozabadi ne Yediyayaeri ne Mikayiri ne Yozabadi ne Eriku ne Zirresayi, abaami b'enkumi aba Manase.
21 Ne bayamba Dawudi okulwana n'ekibiina eky'abakwekwesi: kubanga bonna baali basajja ba maanyi abazira, era nga baami ab'omu ggye.
22 Kubanga buli lunaku ne bajja eri Dawudi okumuyamba, okutuusa lwe baafuuka eggye ddene, erifaanana eggye lya Katonda.
23 Era gino gye miwendo gy'emitwe gy'abo abaakwata ebyokulwanyisa okulwana, abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okukyusa obwakabaka bwa Sawulo eri ye, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
24 Abaana ba Yuda abaakwatanga engabo n'effumu baali kakaaga mu lunaana abaakwata ebyokulwanyisa okulwana.
25 Ku baana ba Simyoni abasajja ab'amaanyi abazira okulwana, kasanvu mu kikumi.
26 Ne ku baana ba Leevi, enkumi nnya mu lukaaga.
27 Era Yekoyaada ye yali omukulembezi w'ennyumba ya Alooni, era ne waba wamu naye enkumi ssatu mu lusanvu;
28 ne Zadooki, omulenzi ow'amaanyi omuzira, ne ku nnyumba ya kitaawe, abaami amakumi abiri mu babiri.
29 Ne ku baana ba Benyamini, baganda ba Sawulo, enkumi ssatu: kubanga okutuusa ku biro ebyo abasinga obungi baali banyweredde ku nnyumba ya Sawulo.
30 Ne ku baana ba Efulayimu, obukumi bubiri mu lunaana, abasajja ab'amaanyi abazira, abasajja abaayatiikirira mu nnyumba za bajjajjaabwe.
31 Ne ku kitundu ky'ekika kya Manase, kakumi mu kanaana, abaayatulwa amanaya gaabwe okujja okufuula Dawudi kabaka.
32 Ne ku baana ba Isakaali, abasajja abaategeera ebiro bwe byali, okumanya ebigwanidde Isiraeri okukola; emitwe gyabwe gyali ebikumi bibiri; ne baganda baabwe bonna baagonderanga okulagira kwabwe.
33 Ku Zebbulooni abo abaayinza okutabaala mu ggye, abaayinza okusimba ennyiriri, n'ebyokulwanyisa eby'engeri zonna, obukumi butaano; era abaayinza okusimba (ennyiriri,) so abataali ba mitima ebiri.
34 Ne ku Nafutaali, abaami lukumi, era wamu n'abo abalina engabo n'effumu, obukumi busatu mu kasanvu.
35 Ne ku Badani abaayinza okusimba ennyiriri, obukumi bubiri mu kanaana mu lukaaga.
36 Ne ku Aseri, abaayinza okutabaala mu ggye, abaayinza okusimba ennyiriri, obukumi buna.
37 N'emitala wa Yoludaani, ku Balewubeeni n'Abagaadi ne ku kitundu ky'ekika kya Manase, nga balina ebyokulwaayisa eby'engeri zonna olw'olutalo, kasiriivu mu obukumi bubiri.
38 Abo bonna, abasajja abalwanyi, abaayinza okusimba ennyiriri, ne bajja n'omutima ogwatuukirira e Kebbulooni, okufuula Dawudi kabaka wa Isiraeri yenna: era n'Abaisiraeri abalala bonna baalina omutima gumu okufuula Dawudi kabaka.
39 Awo ne bamalayo wamu ne Dawudi ennaku ssatu nga balya era nga banywa: kubanga baganda baabwe baali babategekedde.
40 Era nate abo abaabali okumpi, okutuuka ku Isakaali ne Zebbulooni ne Nafutaali, ne baleeta emigaati ku ndogoyi ne ku ŋŋamira ne ku nnyumba ne ku nte, ebyokulya eby'obutta; n'ebitole eby'ettiini n'ebirimba eby'ezabbibu enkalu n'omwenge n'amafuta n'ente n'endiga nnyingi: kubanga mu Isiraeri nga mulimu essanyu.