Chapter 14
1 Kiramu kabaka w'e Ttuulo n'atuma ababaka eri Dawudi n'emivule n'abazimbi b'amayinja n'ababazzi, okumuzimbira ennyumba.
2 Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, kubanga obwakabaka bwe bwagulumizibwa waggulu, olw'abantu be Isiraeri.
3 Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi e Yerusaalemi: Dawudi ne yeeyongera okuzaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
4 Era gano ge mannya g'abaana be yazaalira e Yerusaalemi; Sammuwa ne Sobabu, Nasani ne Sulemaani;
5 ne Ibukali ne Eriswa ne Erupereti;
6 ne Noga ne Nefegi ne Yafiya;
7 ne Erisaama ne Beeriyadda ne Erifereti.
8 Awo Abafirisuuti bwe baawulira Dawudi ng'afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri yenna, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi: Dawudi n'akiwulira, n'abatabaala.
9 Era Abafirisuuti baali bazze ne bazinda ekiwonvu Lefayimu.
10 Dawudi n'abuuza Katonda ng'ayogera nti Ntabaale Abafirisuuti? era onoobagabula mu mukono gwange? Mukama n'amugamba nti Tabaala; kubanga ndibagabula mu mukono gwo.
11 Awo ne batabaala e Baaluperazimu, Dawudi n'abakubira eyo; Dawudi n'ayogera nti Katonda amenye abalabe bange n'omukono gwange, ng'amazzi bwe gamenyeka. Ekifo ekyo kyebaava bakituuma erinnya Baaluperazimu.
12 Ne baleka eyo bakatonda baabwe; Dawudi n'alagira ne babookya omuliro.
13 Abafirisuuti ne bazinda ekiwonvu nate olw'okubiri.
14 Dawudi n'abuuza nate Katonda; Katonda n'amugamba nti Totabaala okubagoberera: kyuka obaveeko, obatuukeko ng'abafuluma mu maaso g'emitugunda.
15 Awo olunaatuuka bw'onoowulira eddoboozi ery'okutambula ku masanso g'emitugunda, n'olyoka otabaala: kubanga Katonda atabadde okukukulembera okukuba eggye ery'Abafirisuuti.
16 Dawudi n'akola nga Katonda bwe yamulagira: ne bakuba eggye ery'Abafirisuuti okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.
17 Ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna; Mukama n'aleeta entiisa ye ku mawanga gonna.