Chapter 17
1 Awo olwatuuka Dawudi bwe yabeera mu nnyumba ye, Dawudi n'agamba Nasani nabbi nti Laba, nze mbeera mu nnyumba ey'emivule, naye essanduuko ey'endagaano ya Mukama ebeera wansi w'ebitimbe.
2 Nasani n'agamba Dawudi nti Kola byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Katonda ali wamu naawe.
3 Awo olwatuuka mu kiro ekyo ekigambo kya Katonda ne kimujjira Nasani nti
4 Genda ogambe Dawudi omuddu wange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Tonzimbira nnyumba ya kubeeramu:
5 kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe nnalinnyisa Isiraeri ne leero; naye navanga mu weema ne mbeera mu weema, era navanga mu nsiisira ne mbeera mu nsiisira endala.
6 Mu bifo byonna gye nnaakatambula ne Isiraeri yenna nali njogedde ekigambo n'omulamuzi yenna ku balamuzi ba Isiraeri, be nnalagira okuliisa abantu bange, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule?
7 Kale nno bw'otyo bw'onoogamba omuddu wange Dawudi, nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nakuggya ku kisibo ky'endiga, okugoberera endiga, obeere omulangira w'abantu bange Isiraeri:
8 era nabeeranga naawe buli gye wagendanga, ne mmalawo abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya okufaanana erinnya ly'abakulu abali mu nsi.
9 Era ndibateekerawo ekifo abantu bange Isiraeri, era ndibasimba babeere mu kifo kyabwe bo, baleme okujjulukuka nate; so n'abaana b'obubi tebaabazikirizenga nate, ng'olubereberye,
10 era (nga bwe kyali) okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange Isiraeri; era ndiwangula abalabe bo bonna. Era nkugamba nga Mukama alikuzimbira ennyumba.
11 Awo olulituuka, ennaku zo bwe zirituukirira, n'ogwana okugenda okubeera awamu ne bajjajja bo, ne ndyoka nnyimiriza ezzadde lyo eririddawo oluvannyuma lwo, eririva mu batabani bo; era ndinyweza obwakabaka bwe:
12 Oyo ye alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ye emirembe gyonna.
13 Nze naaberanga kitaawe, naye anaabanga mwana wange; so siimuggyengako kusaasira kwange, nga bwe nnakuggya ku oyo ayakusooka:
14 naye naamutuuzanga mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe gyonna: n'entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna.
15 Ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali era ng'okwolesebwa okwo kwonna bwe kwali, bw'atyo Nasani bwe yagamba Dawudi.
16 Awo Dawudi kabaka n'ayingira n'atuula mu maaso ga Mukama; n'ayogera nti Nze ani, ai Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa ne wano?
17 era ekigambo kino kyali kitono mu maaso go, ai Katonda; naye oyogedde ku nnyumba y'omuddu wo olw'ebiro bingi ebigenda okujja, era onkuzizza nnyo ng'obukulu bw'omusajja ow'ekitiibwa ekinene bwe buli, ai Mukama Katonda.
18 Kiki Dawudi ky'ayinza okweyongera nate okugamba olw'ekitiibwa omuddu wo ky'assibwamu? kubanga ggwe omanyi omuddu wo.
19 Ai Mukama, ku lw'omuddu wo era ng'omutima gwo ggwe bwe guli, bw'otyo bw'oleese obukulu buno bwonna, okumanyisa ebikulu (bino) byonna.
20 Ai Mukama, tewali akufaanana, so tewali Katonda wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twawulira n'amatu gaffe.
21 Era ggwanga ki erimu eriri mu nsi erifaanana abantu bo Isiraeri, Katonda be yagenda okwenunulira okuba eggwanga, okwefunira erinnya n'ebigambo ebikulu eby'entiisa, ng'ogoba amawanga mu maaso g'abantu bo, be wanunula okubaggya mu Misiri?
22 Kubanga abantu bo Isiraeri wabafuula abantu bo ggwe emirembe gyonna: naawe, Mukama, wafuuka Katonda waabwe.
23 Kale nno, ai Mukama, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinywezebwenga emirembe gyonna, era okolonga nga bw'oyogedde.
24 N'erinnya lyo, linywezebwenga ligulumizibwenga emirembe gyonna, nga boogera nti Mukama ow'eggye ye Katonda wa Isiraeri, Katonda eri Isiraeri: era ennyumba ya Dawudi omuddu wo enywezebwa mu maaso go.
25 Kubanga ggwe, ai Katonda wange, obikkulidde omuddu wo ng'olimuzimbira ennyumba: omuddu wo kyavudde alaba okusaba mu maaso go.
26 Era nno, ai Mukama, ggwe Katonda, era osuubizizza omuddu wo ekigambo ekyo ekirungi:
27 era kaakano osiimye okuwa omukisa ennyumba y'omuddu wo, ebeerere mu maaso go emirembe gyonna: kubanga ggwe, ai Mukama, owadde omukisa, era eweereddwa omukisa emirembe gyonna.