Chapter 8
1 Ne Benyamini n'azaala Bera omubereberye we, Asuberi ow'okubiri, ne Akala ow'okusatu;
2 Noka ow'okuna, ne Lafa ow'okutaano.
3 Ne Bera yalina batabani be, Addali, ne Gera, ne Abikudi;
4 ne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa;
5 ne Gera, ne Sefufani, ne Kulamu
6 Era bano be batabani ba Ekudi: gino gye mitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'abo abaali mu Geba, ne babatwala e Manakasi nga basibe:
7 ne Naamani ne Akiya ne Gera n'abatwala nga basibe; n'azaala Uzza ne Akikudi.
8 Sakalayimu n'azaala abaana mu nnimiro ya Mowaabu bwe yamala okubasindika; Kusimu ne Baala be baali bakazi be.
9 N'azaala mu Kodesi mukazi we Yobabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu;
10 ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma. Abo be baali batabani be, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe.
11 N'azaala mu Kusimu Abitubu ne Erupaali.
12 Ne batabani ba Erupaali; Eberi ne Misamu ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi, wamu n'ebibuga byako:
13 ne Beriya ne Sema, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'abo abaabeeranga e Ayalooni, abaagoba abo abaali e Gaasi;
14 ne Akiyo, Sasaki, ne Yeremosi;
15 ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi;
16 ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka, batabani ba Beriya;
17 ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi;
18 ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu, batabani ba Erupaali;
19 ne Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi;
20 ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri;
21 ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi, batabani ba Simeeyi;
22 ne Isupani, ne Eberi, ne Eryeri;
23 ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani;
24 ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya;
25 ne Ifudeya, ne Penueri, batabani ba Sasaki;
26 ne Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya;
27 ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli, batabani ba Yerokamu.
28 Abo be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe! okubuna emirembe gyabwe, abasajja abakulu: abo baabeeranga mu Yerusaalemi.
29 Era kitaawe wa Gibyoni n'abeeranga mu Gibyoni, Yeyeri, mukazi we erinnya lye Maaka:
30 ne mutabani we omubereberye Abudoni, ne Zuuli, ne Kiisi, ne Baali, ne Nadabu;
31 ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri.
32 Mikuloosi n'azaala Simeeya. Era nabo baabeeranga ne baganda baabwe e Yerusaalemi, okwolekera baganda baabwe.
33 Neeri n'azaala Kiisi; Kiisi n'azaala Sawulo; Sawulo n'azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu, ne Esubaali.
34 Era Meribubaali ye yali mutabani wa Yonasaani; Meribubaali n'azaala Mikka.
35 Ne batabani ba Mikka; Pisoni, ne Mereki, ne Taleya, ne Akazi.
36 Akazi n'azaala Yekoyaada; Yekoyaada n'azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli; Zimuli n'azaala Moza:
37 ne Moza n'azaala Bineya; Lafa ye yali mutabani we, Ereyasa mutabani we, Azeri mutabani we:
38 Azeri n'azaala batabani be mukaaga, amannya gaabwe gaagano; Azulikamu, Bokeru, ne Isimaeri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani. Abo bonna baali batabani ba Azeri.
39 Ne batabani ba Eseki muganda we; Ulamu omubereberye we, Yewusi ow'okubiri, ne Erifereti ow'okusatu.
40 Ne batabani ba Ulamu ne baba basajja ab'amaanyi abazira, abalasi, era baalina batabani baabwe bangi, n'abazzukulu, kikumi mu ataano. Abo bonna baali ku batabani ba Benyamini.