Chapter 10
1 Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri: abasajja ba Isiraeri ne badduka Abafirisuuti ne bagwa nga battiddwa ku lusozi Girubowa.
2 Abafirisuuti ne bacocca Sawulo ne batabani be; Abafirisuuti ne batta Yonasaani, ne Abinadaabu, ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo.
3 Awo olutalo Sawulo ne lumugendera bubi, abalasi ne bamutuukako; neyeeraliikirira olw'abalasi.
4 Awo Sawulo n'agamba oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumitire ddala nakyo; abatali bakomole abo baleme okujja ne banswaza. Naye eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako.
5 Awo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afa.
6 Sawulo n'afa bw'atyo ne batabani be bonsatule; n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bafiira wamu.
7 Awo abasajja bonna aba Isiraeri abaali mu kiwonvu bwe baalaba nga badduse, era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
8 Awo olwatuuka olw'okubiri, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abattiddwa, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bagudde ku lusozi Girubowa.
9 Ne bamwambula, ne baddira omutwe gwe n'ebyokulwanyisa bye, ne batuma mu nsi y'Abafirisuuti enjuyi zonna, okutwala ebigambo ebyo eri ebifaananyi byabwe, n'eri abantu.
10 Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu ssabo lya bakatonda baabwe, ne basimba omutwe gwe mu ssabo lya Dagoni.
11 Awo ab'e Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye bakoze Sawulo,
12 abazira bonna ne bagolokoka ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be, ne bagireeta e Yabesi, ne baziika amagumba gaabwe wansi w'omwera e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu.
13 Bw'atyo Sawulo n'afa olw'okusobya kwe kwe yasobya Mukama, olw'ekigambo kya Mukama ky'ataakwata; era kubanga yalagulwa eri eyaliko omuzimu, okumubuulizaamu,
14 n'atalagulwa eri Mukama: kyeyava amutta, n'akyusa obwakabaka eri Dawudi mutabani wa Yese.