Chapter 5
1 Ne batabani ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri, (kubanga ye yali omubereberye; naye kubanga yayonoona ekiriri kya kitaawe, eby'okuzaalibwa kwe okw'olubereberye batabani ba Yusufu mutabani wa Isiraeri kyebaava babiweebwa; so taviibwako okubala amannya ng'okuzaalibwa okw'olubereberye bwe kwali.
2 Kubanga Yuda yasinga baganda be, era mu ye mwe mwava omulangira; naye eby'okuzaalibwa okw'olubereberye byali bya Yusufu:)
3 batabani ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri; Kanoki, ne Palu, Kezulooni, ne Kalumi.
4 Batabani ba Yoweeri; Semaaya mutabani we, Gogi mutabani we, Simeeyi mutabani we;
5 Mikka mutabani we, Leyaya mutabani we, Baali mutabani we;
6 Beera mutabani we, Tirugasupiruneseri kabaka w'e Bwasuli gwe yatwala nga musibe: ye yali omukulu w'Abalewubeeni.
7 Ne baganda be ng'enda zaabwe bwe zaali, okuzaalibwa kwabwe bwe kwabalibwa; omukulu Yeyeri, ne Zekkaliya,
8 ne Bera mutabani wa Azazi, mutabani wa Sema, mutabani wa Yoweeri eyabeeranga mu Aloweri, okutuusa e Nebo ne Baalumyoni:
9 n'ebuvanjuba yabeeranga okutuuka awayingirirwa mu ddungu okuva ku mugga Fulaati: kubanga ebisibo byabwe nga byeyongedde mu nsi ya Gireyaadi.
10 Awo ku mirembe gya Sawulo ne balwana n’abakaguli, ne battibwa n'omukono gwabwe ne babeeranga mu weema zaabwe okubuna ensi yonna eri ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Gireyaadi.
11 Awo batabani ba Gaadi ne babeeranga okuboolekera mu nsi y'e Basani okutuusa ku Saleka:
12 Yoweeri omukulu, ne Safamu ow'okubiri, ne Yanayi, ne Safati mu Basani:
13 ne baganda baabwe ab'omu nda za bajjajjaabwe; Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, musanvu.
14 Abo be baali batabani ba Abikayiri mutabani wa Kuuli, mutabani wa Yalowa, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Yesisayi, mutabani wa Yakudo, mutabani wa Buzi; Abo be baali batabani ba Abikayiri mutabani wa Kuuli, mutabani wa Yalowa, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Yesisayi, mutabani wa Yakudo, mutabani wa Buzi;
15 Aki mutabani wa Abudyeri, mutabani wa Guni, abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe.
16 Ne babeeranga mu Gireyaadi mu Basani, ne mu bibuga byako, ne mu byaIo byonna ebiriraanye Saloni, okutuuka ku nsalo zaabyo.
17 Abo bonna baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali ku mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne ku mirembe gya Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri.
18 Batabani ba Lewubeeni, n'aba Gaadi, n'ekitundu ky'ekika kya Manase, eky'abasajja abazira, abasajja abaayinza okukwata engabo n'ekitala, n'okulasa n'emitego, era ab'amagezi okulwana, baali obukumi buna mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, abaayinza okutabaala.
19 Ne balwana n'Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi, ne Nodabu.
20 Ne bayambwa nga balwana nabo, Abakaguli ne bagabulwa mu mukono gwabwe ne bonna abaali nabo: kubanga baakaabirira Katonda mu lutalo, n'akkiriza okwegayirira kwabwe; kubanga baamwesiga.
21 Ne banyaga ebisibo byabwe; ku ŋŋamira zaabwe obukumi butaano, ne ku ndiga obusiriivu bubiri mu obukumi butaano, ne ku ndogoyi enkumi bbiri, ne ku bantu kasiriivu.
22 Kubanga bangi abaagwa nga battiddwa kubanga olutalo lwava eri Katonda. Ne babeeranga mu kifo kyabwe okutuuka ku kutwalibwa.
23 Awo abaana b'ekitundu ky'ekika kya Manase ne babeeranga mu nsi: ne bayala okuva ku Basani ne batuuka ku Baalukerumooni ne Seniri n'olusozi Kerumooni.
24 Era bano be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe; Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja ab'amaanyi abazira, abaatiikirivu, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe.
25 Ne basobya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagenda nga benda okugoberera bakatonda b'amawanga ag'omu nsi, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe.
26 Awo Katonda wa Isiraeri n'akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w'e Bwasuli n'omwoyo gwa Tirugasupiruneseri kabaka w’e Bwasuli, n'abatwala n'abaggyayo, Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase n'abaleeta e Kala ne Kaboli, ne Kaala, n'eri omugga Gozani, ne leero.