1 Ebyomumirembe

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29


Chapter 21

1 Awo Setaani n'ayimirira okulwana ne Isiraeri, n'asendasenda Dawudi okubala Isiraeri.
2 Dawudi n'agamba Yowaabu n'abakulu b'abantu nti Mugende mubale Isiraeri okuva e Beeruseba okutuusa e Ddaani; munzirize ebigambo ntegeere omuwendo gwabwe.
3 Yowaabu n'ayogera nti Mukama ayongere abantu be okusinga omuwendo gwabwe oguliwo kaakano emirundi kikumi: naye, mukama wange kabaka, bonna si baddu ba mukama wange? mukama wange kiki ekimulagizza ekigambo kino? kiki ekimwagaza okuba ensonga y'omusango eri Isiraeri?
4 Era naye ekigambo kya kabaka ne kisinga Yowaabu: Yowaabu kyeyava agenda n'abuna Isiraeri yonna, n'ajja e Yerusaalemi.
5 Yowaabu n'aleetera Dawudi omuwendo ogw'abantu gwe baabalibwa. Abantu bonna aba Isiraeri baali kakadde mu kasiriivu abasajja abaasowolanga ebitala: ne Yuda baali abasajja obusiriivu buna mu obukumi musanvu abaasowolanga ebitala.
6 Naye teyassaako Leevi ne Benyamini: kubanga ekigambo kya kabaka kyamutama Yowaabu.
7 Katonda n'anyiigira ekigambo ekyo; kyeyava abonyaabonya Isiraeri.
8 Dawudi n'agamba Katonda nti Nnyonoonye nnyo, kubanga nakola ekigambo ekyo: naye kaakano, nkwegayiridde, ggyawo obutali butuukirivu bwa muddu wo; kubanga nakola eky'obusirusiru bungi.
9 Mukama n'agamba Gaadi nabbi wa Dawudi nti
10 Genda ogambe Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti nkuteekeddewo ebigambo bisatu: weerobozeeko ekimu, nkukikole.
11 Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi, n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Weerobozeeko ky'onooyagala;
12 oba emyaka esatu egy'enjala; oba emyezi esatu okumalirwawo mu maaso g'abalabe bo, ekitala ky'abalabe bo nga kikutuukako; oba ekitala kya Mukama ennaku ssatu, kawumpuli ng'ali mu nsi; ne malayika wa Mukama ng'azikiriza mu nsalo zonna eza Isiraeri. Kale nno, lowooza bwe mba mmuddamu oyo antumye.
13 Dawudi n'agamba Gaadi nti Nsobeddwa nnyo: ngwe nno mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi nnyo: nneme okugwa mu mukono gw'abantu.
14 Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri: awo ku Isiraeri ne kufa abasajja obukumi musanvu.
15 Katonda n'atuma malayika e Yerusaalemi okukizikiriza: awo ng'anaatera okuzikiriza, Mukama n'atunula, ne yejjusa akabi, n'agamba malayika azikiriza nti Kinaamala; zzaayo kaakano omukono gwo. Malayika wa Mukama n'ayimirira awali egguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
16 Dawudi n'ayimusa amaaso ge n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde wakati w'ensi n'eggulu, ng'akutte ekitala ekisowoddwa mu ngalo ze, ekigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n'abakadde, nga bambadde ebibukutu, ne balyoka bavuunama amaaso gaabwe.
17 Dawudi n'agamba Katonda nti Si nze nalagira okubala abantu? Nze nnyonoonye ne nkola eby'ekyejo kingi; naye endiga zino bakoze ki bo? nkwegayiridde, ai Mukama Katonda wange, omukono gwo gube ku nze ne ku nnyumba ya kitange; naye guleme okuba ku bantu bo babe ne kawumpuli.
18 Awo malayika wa Mukama n'alagira Gaadi okugamba Dawudi, Dawudi ayambuke, azimbire ekyoto eri Mukama mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
19 Dawudi n'ayambuka olw'ekigambo kya Gaadi, kye yayogera mu linnya lya Mukama.
20 Olunaani n'akyuka n'alaba malayika; ne batabani be abana abaali naye ne beekweka. Era Olunaani yali ng'awuula eŋŋaano.
21 Awo Dawudi bwe yajja eri Olunaani, Olunaani n'atunula n'alaba Dawudi, n'ava mu gguuliro, n'avuunamira Dawudi amaaso ge.
22 Awo Dawudi n'agamba Olunaani nti Mpa ekibanja eky'egguuliro lino, nzimbewo ekyoto eri Mukama; onoogulana nange n'ebintu ng'omuwendo gwalyo gwennyini bwe guli obutaseera: kawumpuli aziyizibwe mu bantu.
23 Awo Olunaani n’agamba Dawudi nti Lyetwalire, mukama wange kabaka akole ekyo ky'anaasiima: laba, nkuwadde ente okuba ebiweebwayo ebyokebwa n'ebintu ebiwuula okuba enku n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky'obutta; byonna mbiwa buwa.
24 Kabaka Dawudi n'agamba Olunaani nti Nedda; naye mazima naaligula n'ebintu obutaseera: kubanga siitoole bibyo okuwa Mukama, so siiweeyo ekiweebwayo ekyokebwa ekitanzitidde byange.
25 Awo Dawudi n'awa Olunaani okugula ekibanja sekeri eza zaabu ezipimibwa lukaaga.
26 Dawudi n'azimba eyo ekyoto eri Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asaba Mukama; n'amuddamu n'omuliro ng'ayima mu ggulu ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa.
27 Mukama n'alagira malayika; n'azza ekitala kye mu kiraato kyakyo.
28 Mu biro ebyo Dawudi bwe yalaba nga Mukama amuzzeemu mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, n'aweerayo eyo ssaddaaka.
29 Kubanga eweema ya Mukama, Musa gye yakola mu ddungu, n'ekyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa, mu biro ebyo nga biri mu kifo ekigulumivu e Gibyoni.
30 Naye Dawudi n'atayinza kujja mu maaso gaayo okubuuza Katonda; kubanga yali atidde ekitala kya malayika wa Mukama.