1 Ebyomumirembe

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29


Chapter 23

1 Awo Dawudi yali ng'akaddiye era ng'awangadde ennaku nnyingi; n'afuula Sulemaani mutabani we kabaka wa Isiraeri.
2 N'akuŋŋaanya abakulu bonna aba Isiraeri ne bakabona n'Abaleevi.
3 Abaleevi ne babalibwa okuva ku myaka amakumi asatu n'okukirawo: n'omuwendo gwabwe ng'emitwe bwe gyali buli muntu kinnoomu gwali obukumi busatu mu kanaana.
4 Ku abo obukumi bubiri mu enkumi nnya ba kulabirira mulimu gwa mu nnyumba ya Mukama; n'akakaaga baami n'abaasalanga emisango:
5 n'enkumi nnya baggazi; era nate enkumi nnya baatenderezanga Mukama n'ebintu bye nnakola, bwe yayogera Dawudi, okutenderezanga nabyo.
6 Dawudi n'abasalamu empalo ng'abaana ba Leevi bwe baali; Gerusoni, Kokasi, ne Merali.
7 Ku Bagerusoni; Ladani ne Simeeyi.
8 Batabani ba Ladani; Yekyeri omukulu, ne Zesamu, ne Yoweeri, basatu.
9 Batabani ba Simeeyi; Seromosi, ne Kaziyeri, ne Kalani, basatu. Abo be baali emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Ladani.
10 Ne batabani ba Simeeyi: Yakasi, Zina, ne Yewusi, ne Beriya. Abo abana baali batabani ba Simeeyi.
11 Ne Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali ow'okubiri: naye Yewusi ne Beriya tebaalina baana bangi; kyebaava babalirwa awamu okuba ennyumba ya bakitaabwe.
12 Batabani ba Kokasi; Amulaamu, Izukali, Kebbulooni, ne Wuziyeeri, bana.
13 Batabani ba Amulaamu; Alooni ne Musa: Alooni n'ayawulibwa atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, ye ne batabani be emirembe gyonna, okwoterezanga obubaane mu maaso ga Mukama, okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna.
14 Naye Musa omusajja wa Katonda; batabani be baayatulwa mu kika kya Leevi.
15 Batabani ba Musa; Gerusomu ne Eryeza.
16 Batabani ba Gerusomu; Sebweri omukulu.
17 Ne batabani ba Eryeza be bano, Lekabiya omukulu. Eryeza n'ataba na baana balala ba bulenzi; naye batabani ba Lekabiya ne baba bangi nnyo.
18 Batabani ba Izukali; Seromisi omukulu
19 Batabani ba Kebbulooni; Yeriya omukulu, Amaliya ow'okubiri, Yakaziyeri ow'okusatu, ne Yekameyamu ow'okuna.
20 Batabani ba Wuziyeeri; Mikka omukulu, ne Issiya ow'okubiri.
21 Batabani ba Merali; Makuli ne Musi. Batabani ba Makuli; Eriyazaali ne Kiisi.
22 Eriyazaali n'afa, nga talina baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala beereere: baganda baabwe batabani ba Kiisi ne babafumbirwa.
23 Batabani ba Musi; Makuli ne Ederi, ne Yeremosi, basatu.
24 Abo be baali batabani ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, gye mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'abo abaabalibwa ku bo mu muwendo gw'amannya ng'emitwe gyabwe bwe gyali, abaakola omulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, abaakamaze emyaka amakumi abiri n'okukirawo.
25 Kubanga Dawudi yayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri awadde abantu be emirembe; era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna:
26 era Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema n'ebintu byonna ebyako olw'okuweerezanga kwayo.
27 Kubanga olw'ebigambo bya Dawudi eby'enkomerero abaana ba Leevi kyebaava babalibwa, abaakamaze emyaka amakumi abiri n'okukirawo.
28 Kubanga omulimu gwabwe kuweerezanga batabani ba Alooni olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, gwe mulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda;
29 era n'olw'emigaati egy'okulaga n'olw'obutta obulungi obw'ekiweebwayo eky'obutta, oba migaati gya mpewere egitazimbulukuswa oba ekyo ekisiikibwa ku kikalango, oba ekyo ekinnyikibwa, n'olw'engeri zonna ekigero bwe kyenkana n'obunene bwe bwenkana;
30 n'okuyimiriranga buli nkya okwebazanga n'okutenderezanga Mukama, era bwe batyo akawungeezi;
31 n'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa byonna eri Mukama, ku ssabbiiti, n'emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo, omuwendo gwabyo ng'ekiragiro kyabyo bwe kiri, obutayosanga mu maaso ga Mukama:
32 era bakuumenga eweema ey'okusisinkanirangamu gye baateresebwa, n'ekifo ekitukuvu kye baateresebwa, n'ebyo batabani ba Alooni baganda baabwe bye baateresebwa, olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama.