Chapter 2
1 Bano be batabani ba Isiraeri; Lewubeeni, Simyoni, Leevi, ne Yuda, Isakaali ne Zebbulooni;
2 Ddaani, Yusufu ne Benyamini, Nafutaali, Gaadi ne Aseri.
3 Batabani ba Yuda; Eri, ne Onani, ne Seera: abo bonsatule baamuzaalirwa mu Basusuwa Omukanani. Ne Eri, omubereberye wa Yuda, yali mubi mu maaso ga Mukama; n'amutta,
4 Tamali muka mwana we n'amuzaalira Pereezi ne Zeera. Batabani ba Yuda bonna baali bataano.
5 Batabani ba Pereezi; Kezulooni ne Kamuli.
6 Ne batabani ba Zeera; Zimuli, ne Esani, ne Kemani, ne Kalukoli, ne Dala: bonna bataano.
7 Ne batabani ba Kalumi; Akali, omuteganya wa Isiraeri, eyayonoona mu ekyo ekyawongebwa.
8 Ne batabani ba Esani: Azaliya.
9 Era batabani ba Kezulooni, abaamuzaalirwa; Yerameeri, ne Laamu, ne Kerubayi.
10 Laamu n'azaala Amminadaabu; Amminadaabu n'azaala Nakusoni, omukulu w'abaana ba Yuda;
11 Nakusoni n'azaala Saluma, Saluma n'azaala Bowaazi;
12 Bowaazi n'azaala Obedi, Obedi n'azaala Yese;
13 Yese n'azaala omubereberye we Eriyaabu, ne Abinadaabu, ye w'okubiri, ne Simeeya ye w'okusatu;
14 Nesaneeri, ye w'okuna, Laddayi, ye w'okutaano;
15 Ozemu, ye w'omukaaga, Dawudi ye w'omusanvu:
16 ne bannyinnaabwe be bano; Zeruyiya ne Abbigayiri. Ne batabani ba Zeruyiya; Abisaayi, ne Yowaabu, ne Asakeri, basatu.
17 Abbigayiri n'azaala Amasa: ne kitaawe wa Amasa yali Yeseri Omuisimaeri.
18 Kalebu mutabani wa Kezulooni n'azaala abaana mu Azuba mukazi we, ne mu Yeriyoosi: ne bano be baali batabani be; Yeseri ne Sobabu, ne Aludoni.
19 Azuba bwe yafa, Kalebu n'afumbirwa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.
20 Kuuli n'azaala Uli, Uli n'azaala Bezaleeri.
21 Oluvannyuma Kezulooni n'ayingira eri muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi; gwe yafumbirwa nga yaakamaze emyaka nkaaga; n'amuzaalira Segubu.
22 Segubu n'azaala Yayiri, eyalina ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ya Gireyaadi.
23 Gesuli ne Alamu ne babaggyako ebibuga bya Yayiri, ne Kenasi n'ebyalo byako, ebibuga nkaaga. Abo bonna be baali batabani ba Makiri kitaawe wa Gireyaadi.
24 Awo Kezulooni ng'amaze okufa mu Kalebu-efulaasa, Abiya muka Kezulooni n'amuzaalira Asukuli kitaawe wa Tekowa.
25 Ne batabani ba Yerameeri omubereberye wa Kezulooni be bano; Laamu omubereberye, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu, Akiya.
26 Era Yerameeri yalina n'omukazi ow'okubiri erinnya lye Atala; oyo ye yali nnyina Onamu.
27 Ne batabani ba Laamu omubereberye wa Yerameeri ye Maazi, ne Yamini, ne Ekeri.
28 Ne batabani ba Onamu ye Sammayi, ne Yada: ne batabani ba Sammayi; Nadabu, ne Abisuli.
29 Ne muka Abisuli erinnya lye yali Abikayiri; n'amuzaalira Abani, ne Molidi.
30 Ne batabani ba Nadabu; Seredi, ne Appayimu: naye Seredi n'afa nga talina baana.
31 Ne batabani ba Appayimu; Isi. Ne batabani ba Isi; Sesani. Ne batabani ba Sesani; Alayi.
32 Ne batabani ba Yada, muganda wa Sammayi; Yeseri, ne Yonasaani: Yeseri n'afa nga talina baana.
33 Ne batabani ba Yonasaani; Peresi, ne Zaza. Abo be baali batabani ba Yerameeri.
34 Awo Sesani teyalina baana ba bulenzi wabula ab'obuwala. Sesani n'aba n'omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala.
35 Sesani n'awa Yala omuddu we muwala we okumufumbirwa; n'amuzaalira Attayi.
36 Attayi n'azaala Nasani, Nasani n'azaala Zabadi;
37 Zabadi n'azaala Efulali, Efulali n'azaala Obedi;
38 Obedi n'azaala Yeeku, Yeeku n'azaala Azaliya;
39 Azaliya n'azaala Kerezi, Kerezi n'azaala Ereyaasa;
40 Ereyaasa n'azaala Sisumaayi; Sisumaayi n'azaala Sallumu;
41 Sallumu n'azaala Yekamiya, Yekamiya n'azaala Erisaama.
42 Ne batabani ba Kalebu muganda wa Yerameeri ye Mesa omubereberye we, ye yali kitaawe wa Zifu; ne batabani ba Malesa kitaawe wa Kebbulooni:
43 Ne batabani ba Kebbulooni; Koola, ne Tappuwa, ne Lekemu, ne Seema.
44 Seema n'azaala Lakamu, kitaawe wa Yolukeyaamu; Lekemu n'azaala Sammayi.
45 Ne mutabani wa Sammayi yali Mawoni; era Mawoni yali kitaawe wa Besuzuli.
46 Efa muzaana wa Kalebu n'azaala Kalani, ne Moza, ne Gazezi: Kalani n'azaala Gazezi.
47 Ne batabani ba Yadayi; Legemu, ne Yosamu; ne Gesani, ne Pereti, ne Efa, ne Saafu.
48 Maaka omuzaana wa Kalebu n'azaala Seberi ne Tirukaana.
49 Era n'azaala ne Saafu kitaawe wa Madumanna, Seva kitaawe wa Makubena, era kitaawe wa Uibeya; ne muwala wa Kalebu yali Akusa.
50 Abo be baali batabani ba Kalebu; mutabani wa Kuuli, omubereberye wa Efulaasa, Sobali kitaawe wa Kiriyasuyalimu;
51 Saluma kitaawe wa Besirekemu, Kalefu kitaawe wa Besugaderi.
52 Ne Sobali kitaawe wa Kiriyasuyalimu yalina abaana; Kalowe, ekitundu ky'Abamenukosi.
53 N'enda za Kiriyasuyalimu; Abayisuli, n'Abapusi, n'Abasumasi, n'Abamisulayi; ku abo kwe kwava Abazolasi n'Abayesutawooli.
54 Batabani ba Saluma; Besirekemu, n'Abanetofa, Atulosubesuyowabu, n'ekitundu ky'Abamanakasi, Abazooli.
55 N'enda ez'abawandiisi abaabeeranga e Yabezi; Abatirasi, Abasimeyasi, Abasukasi. Abo be Bakeeni abaava ku Kammasi kitaawe w'ekika kya Lekabu.