Chapter 26
1 Olw'empalo z'abaggazi: ku Bakola; Meseremiya mutabani wa Kole, ku batabani ba Asafu.
2 Era Meseremiya yalina abaana ab'obulenzi; Zekkaliya omubereberye, Yediyayeri ow'okubiri, Zebadiya ow'okusatu, Yasuniyeri ow'okuna;
3 Eramu ow'okutaano, Yekokanani ow'omukaaga, Eriwenayi ow'omusanvu.
4 Era Obededomu yalina abaana ab'obulenzi; Semaaya omubereberye, Yekozabadi ow'okubiri, Yowa ow'okusatu, ne Sakali ow'okuna, ne Nesaneeri ow'okutaano;
5 Ammiyeri ow'omukaaga, Isakaali ow'omusanvu, Pewulesayi ow'omunaana: kubanga Katonda n'amuwa omukisa.
6 Era Semaaya mutabani we n'azaalirwa abaana ab'obulenzi, abaafuga ennyumba ya kitaabwe: kubanga baali basajja ba maanyi abazira.
7 Batabani ba Semaaya; Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi, ne Eruzabadi, baganda baabwe basajja bazira, Eriku, ne Semakiya.
8 Abo bonna baali ba ku baana ba Obededomu: bo ne batabani baabwe ne baganda baabwe; abasajja ab'amaanyi abaamala okuweereza okwo; amakumi asatu mu babiri ab'oku Obededomu.
9 Era Meseremiya yalina abaana n'ab'oluganda, abasajja abazira, kkumi na munaana.
10 Era Kosa ow'oku baana ba Merali yalina abaana; Simuli omukulu, (kubanga kitaawe yamufuula omukulu newakubadde nga si ye mubereberye;)
11 Kirukiya ow'okubiri, Tebaliya ow'okusatu, Zekkaliya ow'okuna: batabani ba Kosa bonna ne baganda be baali kkumi na basatu.
12 Empalo z'abaggazi zaali z'abo, za basajja bakulu, nga baliko bye bateresebwa nga baganda baabwe, okuweererezanga mu nnyumba ya Mukama.
13 Ne bakuba obululu, abato era n'abakulu, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali olwa buli mulyango.
14 Akalulu ak'ebuvanjuba ne kamugwako Seremiya. Awo ne bakubira obululu Zekkaliya mutabani we, omuteesa ow'amagezi; akalulu ke ne kamugwako ku bukiika obwa kkono.
15 Obededomu ku bukiika obwa ddyo; ne batabani be (ne baweebwa) eggwanika.
16 Suppimu ne Kosa ebugwanjuba, awaali omulyango Salekesi awaali olutindo oluyambuka, abakuumi nga boolekera bakuumi bannaabwe.
17 Abaleevi mukaaga baali ku luuyi olw'ebuvanjuba, ku bukiika obwa kkono buli lunaku bana, ku bukiika obwa ddyo buli lunaku bana, n'ab'eggwanika babiri babiri.
18 Aba Palubali ku luuyi olw'ebugwanjuba, awaali olutindo bana, ne ku Palubali babiri.
19 Ezo ze zaali empalo z'abaggazi; ku batabani b'Abakola ne ku batabani ba Merali.
20 Ne ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w'amawanika g'ennyumba ya Katonda, era w'amawanika g'ebintu ebyawongebwa.
21 Batabani ba Ladani; batabani b'Abagerusoni aba Ladani, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Ladani Omugerusoni; Yekyeri.
22 Batabani ba Yekyeri; Zesamu, ne Yoweeri muganda we, abakulu b'amawanika g'ennyumba ya Mukama.
23 Ku Baamulamu, ku Bayizukali, ku Bakebbulooni, ku Bawuziyeeri:
24 ne Sebweri mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye yali omukulu w'amawanika.
25 Ne baganda be; ku Eryeza ne kuva Lekabiya mutabani we, ne Yesaya mutabani we, ne Yolaamu mutabani we, ne Zikuli mutabani we, ne Seromosi mutabani we.
26 Seromosi oyo ne baganda be be baali abakulu b'amawanika gonna ag'ebintu ebyawongebwa, Dawudi kabaka n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, abaami b'enkumi n'ebikumi, n'abaami b'eggye, bye baawonga.
27 Ku munyago gwe baanyaga mu ntalo kwe baggya okuwonga okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
28 Ne byonna Samwiri nabbi ne Sawulo mutabani wa Kiisi ne Abuneeri mutabani wa Neeri ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya bye baawonga; buli muntu yenna eyawonga ekintu kyonna, kyabanga wansi w'omukono gwa Seromosi ne baganda be.
29 Ku Bayizukali, Kenaniya ne batabani be baafuganga Isiraeri olw'omulimu ogw'ebweru, okuba abaami n'abalamuzi.
30 Ku Bakebbulooni, Kasabiya ne baganda be, abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, be baalabiriranga Isiraeri emitala wa Yoludaani ebugwanjuba; olw'omulimu gwonna ogwa Mukama n'olw'okuweereza kabaka.
31 Yeriya yali mukulu ku Bakebbulooni, ku Bakebbulooni kwe yali, ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali mu (nnyumba) za bakitaabwe. Mu mwaka ogw'ana Dawudi kasookedde alya obwakabaka ne banoonyezebwa, ne mulabika mu bo abasajja ab'amaanyi abazira e Yazeri eky'e Gireyaadi.
32 Ne baganda be abasajja abazira baali enkumi bbiri mu lusanvu, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, kabaka Dawudi be yafuula abalabirizi b'Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika eky'Abamanase, olwa buli kigambo kya Katonda, n'olw'ebigambo bya kabaka.