Chapter 13
1 Awo Dawudi n'ateesa n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, buli mukulu.
2 Dawudi n'agamba ekkuŋŋaaniro lyonna erya Isiraeri nti Oba nga musiima bwe mutyo, era oba nga kivudde eri Mukama Katonda waffe, tutume wonna wonna eri baganda baffe abasigaddewo mu nsi yonna eya Isiraeri, bakabona n'Abaleevi be bali nabo mu bibuga byabwe, ebiriko ebyalo, bakuŋŋaanire gye tuli;
3 tukomyewo gye tuli essanduuko ya Katonda waffe: kubanga tetwagyebuuzangako kigambo mu mirembe gya Sawulo.
4 Ekkuŋŋaaniro lyonna ne boogera nga banaakola bwe batyo: kubanga ekigambo kyali kirungi mu maaso g'abantu bonna.
5 Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna, okuva ku Sikoli akagga ak'e Misiri okutuuka awayingirirwa e Kamasi, okuleeta essanduuko ya Katonda nga bagiggya e Kiriyasuyalimu.
6 Dawudi n'ayambuka ne Isiraeri yenna e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda, okukimayo essanduuko ya Katonda, Mukama atuula ku bakerubi, ayitibwa Erinnya lye nnyini.
7 Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya, ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu; Uzza ne Akiyo ne bagoba eggaali.
8 Dawudi ne Isiraeri yenna ne bazannyira mu maaso ga Katonda n'amaanyi gaabwe gonna; nga bayimba era nga bakuba ennanga n'entongooli, n'ebitaasa n'ebisaala, n'amakondeere.
9 Awo bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, Uzza n'agolola omukono gwe okukwata essanduuko; kubanga ente zeesitadde.
10 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n'amutta, kubanga yagolola omukono gwe ku ssanduuko: n'afiira eyo mu maaso ga Katonda.
11 Dawudi n'anyiiga kubanga Mukama ng'awamatukidde Uzza: n'ayita ekifo ekyo Perezuzza, ne leero.
12 Dawudi n'atya Katonda ku lunaku olwo, ng'ayogera nti Naakomyawo ntya essanduuko ya Katonda eka ewange?
13 Awo Dawudi n'ataleeta ssanduuko okugireeta gy'ali mu kibuga kya Dawudi, naye n'agikyamya mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
14 Essanduuko ya Katonda n'emala emyezi esatu ng'eri n'aba Obededomu mu nnyumba ye: Mukama n'awa omukisa ennyumba ya Obededomu ne byonna bye yalina.