Chapter 15
1 Awo Dawudi ne yeezimbira ennyumba mu kibuga kya Dawudi: n'ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n'agikubira eweema.
2 Awo Dawudi n'ayogera nti Si kirungi omuntu yenna okusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi: kubanga abo Mukama be yalonda okusitulanga essanduuko ya Katonda, n'okumuweerezanga ennaku zonna.
3 Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ya Mukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde.
4 Dawudi n'akuŋŋaanya batabani ba Alooni n'Abaleevi:
5 ku batabani ba Kokasi; Uliyeri omukulu, ne baganda be kikumi mu abiri:
6 ku batabani ba Merali; Asaya omukulu, ne baganda be ebikumi bibiri mu abiri;
7 ku batabani ba Gerusomu: Yoweeri omukulu, ne baganda be kikumi mu asatu:
8 ku batabani ba Erizafani; Semaaya omukulu, ne baganda be ebikumi bibiri:
9 ku batabani ba Kebbulooni; Eryeri omukulu, ne baganda be kinaana:
10 ku batabani ba Wuziyeeri; Amminadaabu omukulu, ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri.
11 Dawudi n'ayita Zadoki ne Abiyasaali bakabona, n'Abaleevi, Uliyeri ne Asaya ne Yoweeri, Semaaya ne Eryeri ne Amminadaabu,
12 n'abagamba nti Mmwe muli mitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi: mwetukuze, mmwe era ne baganda bammwe, mulyoke mulinnyise essanduuko ya Mukama Katonda wa Isiraeri mu kifo kye ngitegekedde.
13 Kubanga temwasooka kugisitula, Mukama Katonda waffe kyeyava atuwamatukira, kubanga tetwamunoonya neekiragiro bwe kyali.
14 Awo bakabona n'Abaleevi ne beetukuza okulinnyisa essanduuko ya Mukama Katonda wa Isiraeri.
15 Abaana b'Abaleevi ne basitulira essanduuko ya Katonda ku bibegabega byabwe n'emisituliro gyako nga Musa bwe yalagira ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
16 Dawudi n'agamba Abaleevi abakulu okulonda baganda baabwe abayimbi, nga balina ebivuga, entongooli n'ennanga n'ebitaasa, nga babikuba era nga bayimusa eddoboozi n'essanyu,
17 Awo Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri; ne ku baganda be, Asafu mutabani wa Berekiya; ne ku batabani ba Merali baganda baabwe, Esani mutabani wa Kusaya;
18 era wamu nabo baganda baabwe ab'omutindo ogw'okubiri, Zekkaliya, Beni, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, Eriyaabu, ne Benaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, abaggazi.
19 Awo abayimbi, Kemani, Asafu, ne Esani, ne balondebwa, nga balina ebitaasa eby'ebikomo okuvuga;
20 Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya, ne Benaya, nga balina entongooli ez'ekyalamosi;
21 ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, ne Azaziya, nga balina ennanga ez'ekiseminisi, ez'okuleeterezanga.
22 Ne Kenaniya omukulu w'Abaleevi ye yalabiriranga okuyimba: ye yayigirizanga eby'okuyimba kubanga mutegeevu.
23 Ne Berekiya ne Erukaana be baali abaggazi ab'oku ssanduuko.
24 Ne Sebaniya ne Yosafaati ne Nesaneri ne Amasayi ne Zekkaliya ne Benaya ne Eryeza bakabona be baafuuwanga amakondeere mu maaso g'essanduuko ya Katonda: ne Obededomu ne Yekiya be baali abaggazi ab'oku ssanduuko.
25 Awo Dawudi n'abakadde ba Isiraeri n'abaami b'enkumi ne bagenda okulinuyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu n'essanyu:
26 awo olwatuuka Katonda bwe yayamba Abaleevi abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama, ne bawaayo ente musanvu n'embuzi ennume musanvu.
27 Dawudi n'ayambala omunagiro ogwa bafuta ennungi, n'Abaleevi bonna abaasitula essanduuko n'abayimbi ne Kenaniya omukulu w'okuyimba wamu n'abayimbi: era Dawudi yali ayambadde ekkanzu eya bafuta,
28 Bwe batyo Isiraeri yenna ne balinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'okwogerera waggulu n'eddoboozi ery'eŋŋombe n'amakondeere n'ebisaala nga bakuba nnyo entongooli n'ennanga.
29 Awo olwatuuka essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yali ng'ejja mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'azina era ng'azannya; n'amunyooma mu mutima gwe.