Chapter 4
1 Era yakola n'ekyoto eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugazi bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugulumivu bwakyo emikono kkumi.
2 Era n'akola n'ennyanja ensaanuuse ey'emikono kkumi okuva ku mugo okutuuka ku mugo, nneekulungirivu n'obugulumivu bwali emikono etaano; n'omugwa ogw'emikono amakumi asatu ne gugyetooloola.
3 Era wansi waayo waaliwo ekifaananyi ky'ente, ekigyetooloolera emikono kkumi, nga kigyetooloola ennyanja enjuyi zonna. Ente zaali embu bbiri, ezaasaanuusibwa yo bwe yasaanuusibwa.
4 Yatuula ku nte kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiika obwa kkono, n'essatu nga zitunuulira ebugwanjuba, n'essatu nga zitunuulira obukiika obwa ddyo, n'essatu nga zitunuulira ebuvanjuba: n'ennyanja ng'eteekeddwa ku zo waggulu, amatako gaazo zonna nga gali munda.
5 N'obugazi bwayo luta; n'omugo gwayo gwakolebwa ng'omugo gw'ekibya, ng'ekimuli ky'amalanga: ensuwa enkumi ssatu ezaayingiramu ne zigyamu.
6 Era n'akola eby'okwolezaamu kkumi, n'ateeka ebitaano ku mukono ogwa ddyo, n'ebitaano ku gwa kkono, okubyolezangamu; ebintu eby'ekiweebwayo ekyokebwa baabyolezanga omwo, naye ennyanja yali ya bakabona okunaabirangamu.
7 N'akola ebikondo kkumi bya zaabu ng'ekiragiro kyabyo bwe kyali; n'abiteeka mu yeekaalu, ku mukono ogwa ddyo bitaano, ne ku gwa kkono bitaano.
8 Era n'akola n'emmeeza kkumi, n'aziteeka mu yeekaalu, ku luuyi olwa ddyo ttaano, ne ku lwa kkono ttaano. N'akola ebibya kikumi bya zaabu.
9 Era nate n'akola oluggya lwa bakabona, n'oluggya olunene, n'enzigi z'oluggya, enzigi zaazo n'azibikkako ebikomo.
10 N'ateeka ennyanja ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo ebuvanjuba, okutunuulira obukiika obwa ddyo.
11 Kulamu n'akola entamu n'ebisena n'ebibya. Awo Kulamu n'amala okukola omulimu gwe yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Katonda:
12 empagi zombi n'embuto, n'emitwe gyombi egyali ku ntikko z'empagi; n'ebitimba byombi eby'okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku ntikko z'empagi;
13 n'amakomamawanga ebikumi bina ag'oku bitimba byombi; embu bbiri ez'amakomamawanga za ku buli kitimba, okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku mpagi.
14 Era n'akola n'entebe, n'ebyolezebwamu n'abikola ku ntebe:
15 ennyanja emu n'ente kkumi na bbiri wansi waayo.
16 Era n'entamu n'ebisena n'amakato agakwasa ennyama n'ebintu byonna ebyako Kulamu kitaawe n'abikolera kabaka Sulemaani olw'ennyumba ya Mukama, bya bikomo bizigule.
17 Mu lusenyi lwa Yoludaani kabaka gye yabisaanuusiza, awali ettaka ery'ebbumba wakati wa Sukkosi ne Zereda.
18 Bw'atyo Sulemaani bwe yakola ebintu byonna bingi nnyo nnyini: kubanga ebikomo obuzito bwabyo tebwategeerekeka.
19 Sulemaani n'akola ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya Katonda, era n'ekyoto ekya zaabu, n'emmeeza okwabanga emigaati egy'okulaga;
20 n'ebikondo n'ettabaaza zaabyo, zaakirenga mu maaso g'awayimibwa okwogera ng'ekiragiro bwe kyali, bya zaabu nnungi nnongoofu;
21 n'ebimuli ne ttabaaza ne makaasi, bya zaabu, zaabu ntuukirivu;
22 n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'ebijiiko n'emmumbiro, bya zaabu nnongoofu: n'omulyango gw'ennyumba, enzigi zaayo ez'omunda ez'omu kifo ekitukuvu ennyo n'enzigi z'ennyumba, ye yeekaalu, zaali za zaabu.