Chapter 5
1 Bwe gutyo omulimu gwonna Sulemaani gwe yakola olw'ennyumba ya Mukama ne guggwaawo. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga; effeeza ne zaabu n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Katonda.
2 Awo Sulemaani n'alyoka akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyonna egy'ebika, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri, e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu kibuga kya Dawudi, ye Sayuuni.
3 Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira eri kabaka ku mbaga, eyabaawo mu mwezi ogw'omusanvu.
4 Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, Abaleevi ne basitula essanduuko.
5 Ne balinnyisa essanduuko n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu Weema; ebyo bakabona Abaleevi ne babirinnyisa.
6 Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali ne baba mu maaso g'essanduuko, nga bawaayo endiga n'ente, ezitagattika newakubadde okubalika obungi.
7 Awo bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, awayimibwa okwogera mu nnyumba, mu kifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwawaatiro bya bakerubi.
8 Kubanga bakerubi bayanjala ebiwawaatiro byabwe ku kifo ky'essanduuko, bakerubi ne babikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo waggulu.
9 N'emisituliro gyali miwanvu bwe gityo emisa gy'emisituliro n'okulaba n'agiraba ayima awali essanduuko mu maaso g'awayimibwa okwogera; naye n'atagiraba ayima ebweru: era ekyali eyo ne leero.
10 Temwali kintu mu ssanduuko wabula ebipande byombi Musa bye yateeka omwo ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, we baava mu Misiri.
11 Awo olwatuuka bakabona bwe baamala okuva mu kifo ekitukuvu, (kubanga bakabona bonna abaali eyo baali beetukuzizza, so tebaakwata mpalo zaabwe;
12 era n'Abaleevi abayimbi, bonna, Asafu, Kemani, Yedusuni, ne batabani baabwe ne baganda baabwe, nga bambadde bafuta ennungi, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ne bayimirira ku nkomerero y'ekyoto ey'ebuvanjuba, era wamu nabo bakabona kikumi mu abiri nga bafuuwa amakondeere:)
13 awo olwatuuka abaafuuwa n'abayimbi nga bafaanana omu, okuwuliza eddoboozi erimu nga batendereza nga beebaza Mukama, era bwe baayimusa eddoboozi lyabwe n'amakondeere n'ebitaasa n'ebintu ebivuga, ne batendereza Mukama, nga boogera nti Kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna: awo ennyumba n'eryoka ejjula ekire, ennyumba ya Mukama,
14 bakabona n'okuyinza ne batayinza kuyimirira okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula ennyumba ya Katonda.