Chapter 26
1 Awo abantu bonna aba Yuda ne baddira Uzziya eyali yaakamaze emyaka ekkumi n'omukaaga ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya.
2 N'azimba Erosi, n'akizzaayo eri Yuda, kabaka ng'amaze okwebakira awamu ne bajjajjaabe.
3 Uzziya yali yaakamaze emyaka kkumi na mukaaga bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekkiriya ow'e Yerusaalemi.
4 N'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Amaziya bye yakola.
5 Ne yeesimba okunoonya Katonda mu nnaku za Zekkaliya eyalina okutegeera mu kwolesebwa kwa Katonda: era ebiro byonna lwe yanoonyanga Mukama, Katonda n'amulabyanga omukisa.
6 Awo n'atabaala n'alwana n'Abafirisuuti n'amenyera ddala bbugwe wa Gaasi ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi; n'azimba ebibuga mu nsi ya Asudodi ne mu Bafirisuuti.
7 Katonda n'amuyambanga ng'alwana n'Abafirisuuti n'Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali n'Abamewunimu.
8 Abamoni ne bawanga Uzziya ebirabo: erinnya lye ne lyatiikirira n'okutuusa awayingirirwa e Misiri; kubanga yaba n'amaanyi mangi nnyo nnyini.
9 Era nate Uzziya n'azimba ebigo mu Yerusaalemi ku luggi olw'oku nsonda ne ku luggi olw'omu kiwonvu ne bbugwe w'akyukira, n'abinyweza.
10 N'azimba ebigo mu ddungu n'abajja ebidiba bingi, kubanga yalina ebisibo bingi; ne mu biwonvu ne mu lusenyi: era yalina abalimi n'abalongoosa emizabbibu ku nsozi ne mu nnimiro engimu; kubanga yayagala nnyo okulima.
11 Era nate Uzziya yalina eggye ery'abasajja abalwanyi, abaatabaalanga ebibiina n'ebibiina, ng'omuwendo gw'okubalibwa kwabwe bwe gwali Yeyeri omuwandiisi gwe yabala, ne Maaseya omwami wansi w'omukono gwa Kananiya omu ku baami ba kabaka.
12 Omuwendo gwonna ogw'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, gwali enkumi bbiri mu lukaaga.
13 Era wansi w'omukono gwabwe ne waba eggye eryayigirizibwa, obusiriivu busatu mu kasanvu mu bitaano, abaalwananga n'obuyinza bungi nnyo, okuyambanga kabaka eri abalabe.
14 Uzziya n'abategekera eggye lyonna engabo n'amafumu n'enkuufiira n'ebizibawo eby'ebyuma n'emitego n'amayinja ag'okuvuumuula.
15 N'akolera mu Yerusaalemi ebyuma ebyagunjibwa abasajja ab'amagezi okubanga ku bigo ne ku nkomera eby'okulasa obusaale n'amayinja amanene. Erinnya lye ne lyatiikirira wala; kubanga yayambwanga kitalo okutuusa lwe yafuna amaanyi.
16 Naye lwe yafuna amaanyi omutima gwe ne gugulumizibwa n'okukola n'akola eby'obukyamu n’ayonoona Mukama Katonda we; kubanga yayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky'obubaane.
17 Azaliya kabona n'ayingira ng'amuvaako ennyuma, era wamu naye bakabona ba Mukama kinaana abasajja abazira:
18 ne baziyiza Uzziya kabaka, ne bamugamba nti Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane wabula gwa bakabona batabani ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane: va mu kigwa; kubanga oyonoonye; so tekiriba kya kitiibwa kyo okuva eri Mukama Katonda.
19 Awo Uzziya n'asunguwala; era yali alina ekyoterezo mu mukono gwe okwoteza obubaane; awo ng'asunguwalidde bakabona ebigenge ne bifuutuuka mu kyenyi kye mu maaso ga bakabona mu nnyumba ya Mukama ku mabbali g'ekyoto eky'obubaane.
20 Awo Azaliya kabona omukulu ne bakabona bonna ne bamutunuulira, era, laba, ebigenge nga bimukutte mu kyenyi, ne banguwa okumusindiikiriza okuvaamu; weewaawo, ye yennyini n'ayanguwa okuvaamu kubanga Mukama amulwazizza.
21 Uzziya kabaka n'abanga omugenge okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'abeeranga mu nnyumba eyayawulibwa nga mugenge; kubanga yaggibwa mu nnyumba ya Mukama: Yosamu mutabani we n'abanga mukulu w'ennyumba ya kabaka, ng'alamula abantu ab'omu nsi.
22 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Uzziya, ebyasooka n'ebyamalirwako, Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi yabiwandiika.
23 Awo Uzziya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibanja eky'okuziikangamu ekya bassekabaka; kubanga baayogera nti Mugenge: Yosamu mutabani we n'amuddira mu bigere.