2 Ebyomumirembe

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36


Chapter 10

1 Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Isiraeri yenna baali bazze e Sekemu okumufuula kabaka.
2 Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakiwulira, (kubanga yali mu Misiri gye yali addukidde okuva eri kabaka Sulemaani,) Yerobowaamu n'ava mu Misiri n'akomawo.
3 Ne batuma, ne bamuyita; awo Yerobowaamu ne Isiraeri yenna ne bajja ne boogera ne Lekobowaamu nti
4 Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito: kale nno wewula, ggwe okuweereza okuzibu okwa kitaawo n'ekikoligo kye ekizito kye yatuteekako, naffe tunaakuweerezanga.
5 N'abagamba nti Mumale ennaku ssatu, mulyoke mujje gye ndi nate. Abantu ne bagenda.
6 Kabaka Lekobowaamu n'ateesa ebigambo n'abakadde abaayimiriranga mu maaso ga Sulemaani kitaawe bwe yali ng'akyali mulamu ng'ayogera nti Magezi ki ge mumpa okubaddamu abantu bonna?
7 Ne bamugamba nti Bw'onookola eby'ekisa abantu bano n'obasanyusa n'obagamba ebigambo ebirungi, kale bo banaabanga abaddu bo ennaku zonna.
8 Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, n'ateesa n'abalenzi abaakulira awamu naye abaayimirira mu maaso ge.
9 N'abagamba nti Magezi ki ge mumpa mmwe tubaddemu bano abaŋŋambye nti Wewula ekikoligo kitaawo kye yatuteekako?
10 Awo abalenzi abaakulira awamu naye ne bamugamba nti Bw'otyo bw'oba ogamba abantu bano abakugambye nti Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito, naye ggwe kiwewule gye tuli; bw'otyo bw'oba obagamba nti Nasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange.
11 Era nno kubanga kitange yababinikanga ekikoligo ekizito, nze naayongeranga ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze naabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.
12 Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Lekobowaamu ku lunaku olw'okusatu, nga kabaka bwe yalagira, ng'ayogera nti Mujjanga gye ndi nate ku lunaku olw'okusatu.
13 Awo kabaka n'abaddamu n'ebboggo, kabaka Lekobowaamu n'aleka okuteesa kw'abakadde;
14 n'abagamba ng'okuteesa kw'abalenzi bwe kwali ng'ayogera nti Kitange yafuulanga ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze naayongerangako: kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze naabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.
15 Awo kabaka n'atawulira bantu; kubanga kyali kigambo Katonda kye yaleeta, Mukama anyweze ekigambo kye kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati mu mukono gwa Akiya Omusiiro.
16 Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nti Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? so tetulina busika mu mutabani wa Yese: buli muntu mudde mu weema zammwe, ai Isiraeri: labirira nno ennyumba yo ggwe, Dawudi. Awo Isiraeri yenna ne baddayo mu weema zaabwe.
17 Naye abaana ba Isiraeri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga.
18 Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Kadolaamu eyali omukulu w'omusolo; abaana ba Isiraeri ne bamukasuukirira amayinja n'okufa n'afa. Kabaka Lekobowaamu n'ayanguwa okulinnya mu ggaali lye okuddukira mu Yerusaalemi.
19 Bwe batyo Isiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi ne leero.