Chapter 36
1 Awo abantu ab'omu nsi ne baddira Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe mu Yerusaalemi.
2 Yekoyakaazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri nu esatu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaaemi.
3 Kabaka w'e Misiri n'amugoba ku ntebe e Yerusaalemi, n'aweesa ensi talanta eza ffeeza kikumi ne talanta eya zaabu.
4 Kabaka w'e Misiri n'afuula Eriyakimu muganda we kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n'awaanyisa erinnya lye n'alifuula Yekoyakimu. Neeko n'atwala Yekoyakaazi muganda we n'amutwala e Misiri.
5 Yekoyakimu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerumalemi: n'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi.
6 Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'amutabaala, n'amusiba mu masamba okumutwala e Babulooni.
7 Era Nebukadduneeza n'atwala ku bintu eby'omu myumba ya Mukama e Babulooni, n'abiteeka mu yeekaalu ye e Babulooni.
8 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu n'emizizo gye gye yakolanga n'ebyo ebyalabika mu ye, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda: Yekoyakini mutabani we n'amuddira mu bigere.
9 Yekoyakini yali yaakamaze emyaka munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu ko ennaku kkumi mu Yerusaalemi: n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
10 Awo omwaka bwe gwadda kabaka Nebukadduneeza n'atuma n'amuleeta e Babulooni wamu n'ebintu ebirungi eby'omu nnyumba ya Mukama, n'afuula Zeddekiya muganda we kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.
11 Zeddekiya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu gumu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi:
12 n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi; teyeetoowaza mu maaso ga Yeremiya nnabbi ng'ayogera ebiva mu kamwa ka Mukama.
13 Era n'ajeemera kabaka Nebukadduneeza eyali amulayizza Katonda: naye n'akakanyaza ensingo ye n'akalubya omutima gwe obutakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri.
14 Era nate abakulu bonna aba bakabona n'abantu ne basobya nnyo okugobereranga emizizo gyonna egy'ab'amawanga; ne bagwagwawaza ennyumba ya Mukama gye yatukuza mu Yerusaalemi.
15 Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'abatumiranga mu babaka be, ng'agolokoka mu makya n'atuma; kubanga yasaasira abantu be n'ekifo mw'abeera:
16 naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda ne banyoomanga ebigambo bye ne basekereranga bannabbi be okutuusa obusungu bwa Mukama lwe bwabaawo eri abantu be, ne watabaawo kuwona.
17 Kyeyava abaleetako kabaka w'Abakaludaaya, n'attira abalenzi baabwe n'ekitala mu nnyumba ey'ekigwa kyabwe, ne batasaasira mulenzi newakubadde omuwala, omukadde newakubadde akootakoota: bonna yabagabula mu mukono gwe.
18 N'ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Katonda, ebikulu n'ebito, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga bya kabaka n'eby'abakulu be; ebyo byonna n'abireeta e Babulooni.
19 Ne bookya ennyumba ya Katonda ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya omuliro amayumba gaamu gonna, ne bazikiriza ebintu byamu byonna ebirungi.
20 N'abo abaali bawonye ekitala n'abatwala e Babulooni; ne baba baddu eri ye n'eri batabani be okutuusa ku kufuga kw'obwakabaka bw'Obuperusi:
21 okutuukiriza ekigambo kya Mukama mu kamwa ka Yeremiya okutuusa ensi lwe yasanyukira ssabbiiti zaayo: kubanga ennaku zonna ze yazikira yakwata ssabbiiti; okuweza emyaka nsanvu.
22 Awo mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, ekigambo kya Mukama mu kamwa ka Yeremiya kituukirire, Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, n'okulangira n'alangira okubuna obwakabaka bwe bwonna, n'okuwandiika n'abiwandiika ng'ayogera nti
23 Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katanda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Mukama Katonda we abeere naye, ayambuke.