Chapter 14
1 Awo Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye: ku mirembe gye ensi n'etereerera emyaka kkumi.
2 Asa n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era eby'ensonga:
3 kubanga yaggyawo ebyoto ebya bannaggwanga n'ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n’atemaatema ba Asera;
4 n'alagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'okukwata amateeka n'ekiragiro.
5 Era n'aggyawo mu bibuga byonna ebya Yuda ebifo ebigulumivu n'ebifaananyi by'enjuba: obwakabaka ne butereera mu maaso ge.
6 N'azimba ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: kubanga ensi yali eteredde so teyalina ntalo mu myaka egyo; kubanga Mukama yamuwa okuwummula.
7 Kubanga yagamba Yuda nti Tuzimbe ebibuga bino, tubikoleko bbugwe n'ebigo, enzigi n'ebisiba; ensi ekyali mu maaso gaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, naye atuwadde okuwummula enjuyi zonna. Awo ne bazimba ne balaba omukisa.
8 Era Asa yalina eggye abaakwatanga engabo n'amafumu, abaava mu Yuda obusiriivu busatu; n'abaava mu Benyamini abaakwatanga engabo ne banaanuula emitego, obusiriivu bubiri mu obukumi munaana: abo bonna basajja ba maanyi abazira.
9 Zeera Omwesiyopya n'abatabaala ng'alina eggye kakadde n'amagaaii ebikumi bisatu; n'ajja e Malesa.
10 Awo Asa n'afuluma okumusisinkana, ne basimba ennyiriri mu kiwonvu Zefasa e Malesa.
11 Asa n'akaabira Mukama Katonda we n'ayogera nti Mukama, tewali muyambi akwenkana ggwe wakati w'abalina (abalwanyi) abangi, n'abo abatalina maanyi: tuyambe, ai Mukama Katonda waffe; kubanga tukwesiga, ne mu linnya lyo mwe tutabaalidde ekibiina kino. Ai Mukama, ggwe Katonda waffe; omuntu aleme okukusinga.
12 Awo Mukama n'akuba Abaesiyopya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda; Abaesiyopya ne badduka.
13 Asa n'abantu be abaali naye ne babacocca ne babatuusa e Gerali: ne kugwa ku Baesiyopya bangi bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kuddamu amaanyi; kubanga baazikirizibwa mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'eggye lye; ne banyaga omunyago mungi nnyo.
14 Ne bakuba ebibuga byonna ebyetoolodde Gerali; kubanga entiisa ya Mukama yabatuukako: ne banyaga ebibuga byonna: kubanga byalimu omunyago mungi.
15 Era ne bakuba eweema ez'ente, ne banyaga endiga nnyingi nnyo n'eŋŋamira, ne baddayo e Yerusaalemi.