Chapter 33
1 Manase yali yaakamaze emyaka kkumi n'ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi.
2 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'eby'emizizo bwe biri eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
3 Kubanga yazimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yamenyaamenya; n'asimbira Baali ebyoto n'akola Baasera n'asinza eggye lyonna ery'omu ggulu n'aliweereza.
4 N'azimba ebyoto mu nnyumba ya Mukama, Mukama gye yagambako nti Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.
5 Era n'azimbira eggye lyonna ery'omu ggulu ebyoto mu mpya ebbiri ez'ennyumba ya Mukama.
6 Era n'ayisa mu muliro abaana be mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n'alaguza ebire n'aba n'eby'obulogo n'eby'obuganga: n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo: n'akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza.
7 N'asimba ekifaananyi ekyole eky'esanamu kye yakola mu nnyumba ya Katonda, Katonda gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneerobozezza mu bika byonna ebya Isiraeri we nnaateekanga erinnya lyange emirembe gyonna:
8 so sijjululenga nate kigere kya Isiraeri okuva mu nsi gye nnateekerawo bajjajjammwe; bwe baneekuumanga okukola byonna bye mbalagidde, amateeka gonna n'ebiragiro n'obulombolombo mu mukono gwa Musa.
9 Manase n'awabya Yuda n'abali mu Yerusaalemi ne bakola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga, Mukama ge yazikiririza mu maaso g'abaanai ba Isiraeri.
10 Mukama n'ayogerako ne Manase n'abantu be: naye ne batawulira.
11 Mukama kyeyava abaleetako abaami b'eggye lya kabaka w'e Bwasuli, ne batwalira Manase mu njegere, ne bamusiba n'amasamba, ne bamutwala e Babulooni.
12 Awo bwe yalaba ennaku, ne yeegayirira Mukama Katonda we ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe.
13 N'amusaba; ne yeegayirirwa ye n'awulira okwegayirira kwe n'amukomyawo e Yerusaalemi mu bwakabaka bwe. Awo Manase n'amanya Mukama nga ye Katonda.
14 Awo oluvannyuma lw'ebyo n'azimba bbugwe ow'ebweru ku kibuga kya Dawudi ku luuyi lwa Gikoni olw'ebugwanjuba mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu mulyango ogw'ebyennyanja; ne yeetoolooza Oferi n'akigulumiza waggulu nnyo nnyini: n'ateeka abaami abazira mu bibuga byonna ebya Yuda ebyaliko enkomera.
15 N'aggyawo bakatonda ab'amawanga n'ekifaananyi mu nnyuniba ya Mukama n'ebyoto byonna bye yali azimbye ku lusozi olw'ennyumba ya Mukama ne mu Yerusaalemi, n'abisuula ebweru w'ekibuga.
16 N'azimba obuggya ekyoto kya Mukama n'aweerayo okwo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe n'ez'okwebaza, n'alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isiraeri.
17 Naye abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, naye eri Mukama Katonda waabwe yekka.
18 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Manase n'okusaba kwe yasaba Katonda we n'ebigambo by'abalabi abaayogereranga naye mu linnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri, laba, byawandiikibwa mu bikolwa bya bassekabaka ba Isiraeri.
19 N'okusaba kwe era Katonda bwe yeegayirirwa ye n'okwonoona kwe kwonna n'okusobya kwe n'ebifo mwe yazimbira ebifo ebigulumivu n'asimba Baasera n'ebifaananyi ebyole nga tannaba kwetoowaza: laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Kozayi.
20 Awo Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu nnyumba ye ye: Amoni mutabani we n'amuddira mu bigere.
21 Amoni yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi.
22 N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga Manase kitaawe bwe yakolanga: Amoni n'awangayo ssaddaaka eri ebifaananyi ebyole byonna Manase kitaawe bye yakola n'abiweerezanga.
23 N'ateetoowaza mu maaso ga Mukama nga Manase kitaawe bwe yeetoowaza; naye Amoni oyo ne yeeyongerayongeranga okusobya.
24 Abaddu be ne bamwekobaana ne bamuttira mu nnyumba ye ye.
25 Naye abantu ab'omu nsi ne batta bonna abeekobaana kabaka Amoni; abantu ab'omu nsi ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka mu kifo kye.