Chapter 13
1 Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yerobowaamu Abiya n'atanula okufuga Yuda.
2 N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: n'erinnya lya nnyina lyali Mikaaya muwala wa Uliyeeri ow'e Gibeya. Ne wabanga entalo eri Abiya ne Yerobowaamu.
3 Abiya n'alumba ng'alina eggye ery'abasajja abazira abalwanyi, abasajja abalonde obusiriivu buna: Yerobowaamu n'asimba ennyiriri okulwana naye ng'alina abasajja abalonde obusiriivu munaana ab'amaanyi abazira.
4 Abiya n'ayimirira ku lusozi Zemalayimu oluli mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'ayogera nti Mumpulire, mmwe Yerobowaamu ne Isiraeri yenna;
5 temwagwana kumanya nga Mukama Katonda wa Isiraeri yawa Dawudi obwakabaka bwa Isiraeri okumala emirembe gyo, ye ne batabaai be n'endagaano ey'omunnyo?
6 Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi n'agolokoka n'ajeemera mukama we.
7 Ne wakuŋŋaana gy'ali abasajja abataliiko kye bagasa, abaana ba Beriali, abeenyweza eri Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu ng'akyali muto n'omutima gwe nga mugonvu, so nga tayinza kubaziyiza.
8 Awo kaakano mulowooza okuziyiza obwakabaka bwa Mukama mu mukono gwe batabani ba Dawudi; era muli kibiina kinene, era waliwo nammwe ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda.
9 Temwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni n'Abaleevi, ne mwerondera bakabona ng'empisa bw'eri ey'amawanga ag'omu nsi endala? kale buli ajja okwetukuza ng'alina ente ento n'endiga ennume musanvu, oyo ayinza okuba kaboa w'abo abatali bakatonda.
10 Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, naffe tetumuvangako; era (tulina) bakabona abaweereza Mukama, batabani ba Alooni n'Abaleevi, mu mulimu gwabwe:
11 era bookya eri Mukama buli nkya na buli kawungeezi ebiweebwayo ebyokebwa n'obubaane obuwoomerevu: n'emigaati egy'okulaga nagyo bagiteekateeka ku mmeeza ennongoofu: n'ekikondo ekya zaabu n'ettabaaza zaakyo, okwakanga buli kawungeezi: kubanga ffe tukwata ebyo Mukama Katonda waffe bye yakuutira; naye mmwe mwamuvaako.
12 Era, laba, Katonda ali naffe, atukulembedde, ne bakabona be nga balina amakondeere agalawa, okugalaya okulwana nammwe. Ai abaana ba Isiraeri, temulwana ne Mukama Katonda wa bajjajjammwe; kubanga temuulabe mukisa.
13 Naye Yerobowaamu n'abafulumya ennyuma abateezi: awo ne baba mu maaso ga Yuda, abateezi ne baba ennyuma waabwe.
14 Awo Yuda bwe baakebuka, laba, olutalo nga lubafulumye mu maaso n'ennyuma: ne bakaabira Mukama, bakabona ne bafuuwa amakondeere.
15 Awo abasajja ba Yuda ne boogerera waggulu: awo abasajja ba Yuda nga boogerera waggulu, olwatuuka Katonda n'akuba Yerobowaamu ne Isiraeri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda.
16 Abaana ba Isiraeri ne badduka mu maaso ga Yuda: Katonda n'abagabula mu mukono gwabwe.
17 Abiya n'abantu be ne babatta olutta olunene: n'okugwa ne kugwa ku Isiraeri nga battiddwa abasajja abalonde obusiriivu butaano.
18 Bwe batyo abaana ba Isiraeri ne bawangulwa mu biro ebyo, abaana ba Yuda ne basinga, kubanga beesiga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
19 Abiya n'ayigganya Yerobowaamu, n'amuggyako ebibuga, Beseri n'ebibuga byako, ne Yesana n'ebibuga byako, ne Efulooni n'ebibuga byako.
20 So Yerobowaamu teyafuna nate amaanyi ku mirembe gya Abiya: Mukama n'amulwaza n'afa.
21 Naye Abiya n'afuuka ow'amaanyi, n'awasa abakazi kkumi na bana n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu babiri n'ab'obuwala kkumi na mukaaga.
22 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Abiya n'amakubo ge n'ebigambo bye byawandiikibwa mu bitegeeza bya nnabbi Iddo.