Chapter 34
1 Yosiya yali yaakamaze emyaka munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi.
2 N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi n'atambuliranga mu maknbo ga Dawudi kitaawe n'atakyukira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.
3 Kubanga mu mwaka ogw'omunaana ogw'okufuga kwe, ng'akyali muto, n'atanula okunoonya Katonda wa Dawudi kitaawe: ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri mwe yatanulira okulongoosa Yuda ne Yerusaalemi okumalamu ebifo ebigulumivu ne Baasera n'ebifaananyi ebyole n'ebifaananyi ebisaanuuse.
4 Ne bamenyaamenyera ebyoto bya Babaali mu maaso ge; n'ebifaananyi by'enjuba ebyali waggulu ku byo n'abitemaatema; ne Baasera n'ebifaananyi ebyole n'ebifaananyi ebisaanuuse n'abimenyaamenya n'abifuula enfuufu n'agimansira ku malaalo g'abo abaabiwongeranga.
5 Era n'ayokera amagumba ga bakabona ku byoto byabwe, n'alongoosa Yuda ne Yerusaalemi.
6 Era bw'atyo bwe yakola ne mu bibuga bya Manase ne Efulayimu ne Simyoni okutuuka ku Nafutaali mu matongo gaabyo enjuyi zonna.
7 N'amenyaamenya ebyoto, n'asekula Baasera n'ebifaananyi ebyole n'abifuula enfuufu, n'atemaatema ebifaananyi byonna eby'enjuba okubuna ensi yonna eya Isiraeri, n'akomawo e Yerusaalemi.
8 Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'okufuga kwe bwe yamala okulongoosa ensi n'ennyumba, n'atuma Safani mutabani wa Azaliya ne Maaseya eyafuga ekibuga ne Yowa mutabani wa Yowakazi omujjukiza okuddaabiriza ennyumba ya Mukama Katonda we.
9 Ne bajja eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bawaayo effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Katonda, Abaleevi abaggazi gye baali basoloozezza mu mukono gwa Manase ne Efulayimu ne ku kitundu kyonna ekya Isiraeri ekifisseewo ne ku Yuda yenna ne Benyamini ne ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi.
10 Ne bagiwaayo mu mukono gw'abakozi abaalabiriranga ennyumba ya Mukama; abakozi abaakola omulimu mu nnyumba ya Mukama ne bagiwa okulongoosa n'okuddaabiriza ennyumba;
11 baagiwa ababazzi n'abazimbi, okugula amayinja amabajje n'emiti egy'okuyunga n'okubajja emiti egy'ennyumba bassekabaka ba Yuda ze baazikirizanga.
12 Abasajja ne bakola omulimu n'obwesigwa: abalabirizi baabwe be bano, Yakasi ne Obadiya, Abaleevi ab'oku batabani ba Merali; ne Zekkaliya ne Mesullamu, ab'oku batabani b'Abakokasi, okugikoza: n'abalala ku Baleevi, bonna abalina amagezi ag'ebintu ebivuga.
13 Era baalabirira abeetissi b'emigugu, ne bakoza bonna abaakola omulimu mu kuweereza okw'engeri zonna: ne ku Baleevi kwaliko abawandiisi n'abaami n'abaggazi.
14 Awo bwe baggyamu effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Mukama, Kirukiya kabona n'alaba ekitabo eky'amateeka ga Mukama agaaweerwa mu mukono gwa Musa.
15 Awo Kirukiya n'addamu n'agamba Safani omuwandiisi nti Nzudde ekitabo eky'amateeka mu nnyumba ya Mukama. Kirukiya n'awa Safani ekitabo.
16 Awo Safani n'atwala ekitabo eri kabaka, era n'addiza kabaka ebigambo nti Byonna abaddu bo bye baalagirwa babikola.
17 Era baggyeemu effeeza ezaasangibwa mu nnyumba ya Mukama ne baziwa mu mukono gw'abalabirizi ne mu mukono gw'abakozi.
18 Awo Safani omuwandiisi n'abuulira kabaka nti Kirukiya kabona ampadde ekitabo. Safani n'asoma omwo mu maaso ga kabaka.
19 Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo eby'amateeka n'ayuza ebyambalo bye.
20 Awo kabaka n'alagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani ne Abudoni mutabani wa Mikka ne Safani omuwandiisi ne Asaya omuddu wa kabaka ng'ayogera nti
21 Mugende mumbuulirize Mukama nze n'abo abasigadde mu Isiraeri ne mu Yuda, eby'ebigambo eby'ekitabo kino ekizuuliddwa: kubanga obusungu bwa Mukama obufukiddwa ku ffe bungi kubanga bajjajjaffe tebaakwatanga kigambo kya Mukama okukola nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo kino.
22 Awo Kirukiya n'abo kabaka be yali alagidde ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi muka Sallumu mutabani wa Tokasi mutabani wa Kasula omuwanika w'ebyambalo; (oyo yabeeranga mu Yerusaalemi ku luuyi olw'okubiri;) ne bateesa naye bwe batyo.
23 Awo n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Mugambe omusajja abatumye gye ndi nti
24 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kye basomye mu maaso ga kabaka lwa Yuda:
25 kubanga banvuddeko ne bookera obubaane bakatonda abalala, bansuguwaze n'emirimu gyonna egy'engalo zaabwe; obusungu bwange kyebuvudde bufukibwa ku kifo kino so tebulizikira.
26 Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama, bwe mutyo bwe muba mumugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Olw'ebigambo by'owulidde,
27 kubanga omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda bw'owulidde ebigambo bye ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo n'okaabira amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde, bw'ayogera Mukama.
28 Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo n'okuŋŋaanyizibwa mu ntaana yo mirembe, so n'amaaso go tegaliraba bubi bwonna bwe ndireeta ku kifo kino ne ku abo abakirimu. Ne baddiza kabaka ebigambo.
29 Awo kabaka n'atuma, n'akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n'ab'e Yerusaalemi.
30 Kabaka n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi ne bakabona n'Abaleevi n'abantu bonna, abakulu n'abato: n'asomera mu matu gaabwe ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekizuuliddwa mu nnyumba ya Mukama.
31 Kabaka n'ayimirira mu kifo kye, n'alagaanira endagaano mu maaso ga Mukama okutambulanga okugobereranga Mukama n'okukwatanga amateeka ge n'ebyo bye yategeeza n'ebiragiro bye n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna, okutuukiriza ebigambo by'endagaano ebyawandiikibwa mu kitabo kino.
32 Awo n'awaliriza bonna abaalabika mu Yerusaalemi ne Benyamini okugyesibira. Abo abaali mu Yerusaalemi ne bakola ng'endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe, bwe yali.
33 Yosiya n'aggya emizizo gyonna mu nsi zonna ez'abaana ba Isiraeri, n'aweerezesa bonna abaalabika mu Isiraeri, okuweereza Mukama Katonda waabwe. Ennaku ze zonna tebaalekanga kugoberera Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.