2 Ebyomumirembe

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36


Chapter 7

1 Awo Sulemaani bwe yamala okwogera omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka; ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba.
2 Bakabona ne batayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kijjudde ennyumba ya Mukama.
3 Abaana ba Isiraeri bonna ne batunuulira, omuliro bwe gwaka, ekitiibwa kya Mukama ne kiba ku nnyumba; ne bavuunama amaaso gaabwe ku mayinja amaaliire, ne basinza, ne beebaza Mukama nga boogera nti Kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 Awo kabaka n'abantu bonna ne baweerayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama.
5 Kabaka Sulemaani n'awaayo ssaddaaka ey'ente obukumi bubiri mu enkumi bbiri, n'endiga kasiriivu mu obukumi bubiri. Awo kabaka n'abantu bonna ne bawonga ennyumba ya Katonda.
6 Bakabona ne bayimirira ng'emirimu gyabwe bwe gyali; era n'Abaleevi nga balina ebintu ebivuga ebya Mukama, Dawudi kabaka bye yakola okwebaza Mukama, kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna, Dawudi bwe yatenderezanga olw'okuweereza kwabwe: bakabona ne bafuuwa amakondeere mu maaso gaabwe; Isiraeri yenna ne bayimirira.
7 Era Sulemaani n'atukuza oluggya wakati olwali mu maaso g'ennyumba ya Mukama; kubanga yaweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe: kubanga ekyoto eky'ekikomo Sulemaani kye yakola tekyayinza kugyako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu.
8 Awo Sulemaani n'afumba embaga mu biro ebyo ey'ennaku musanvu, ne Isiraeri yenna wamu naye, ekibiina ekinene ennyo, okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak'e Misiri.
9 Awo ku lunaku olw'omunaana ne bakuŋŋaanya okukuŋŋaana okutukuvu: kubanga embaga ey'okuwonga ekyoto baagikwatira ennaku musanvu, n'embaga ennaku musanvu.
10 Awo ku lunaku olw'amakumi abiri mu ssatu olw'omwezi ogw'omusanvu n'asindika abantu mu weema zaabwe, nga basanyuse era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi, ne Sulemaani, ne Isiraeri abantu be.
11 Bw'atyo Sulemaani bwe yamala ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka: ne byonna ebyayingira mu mutima gwa Sulemaani okukola mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ye n'abituusa bulungi.
12 Mukama n'alabikira Sulemaani kiro n'amugamba nti Mpulidde okusaba kwo ne nneeroboza gye ndi ekifo kino okuba ennyumba ey'okuweerangamu ssaddaaka.
13 Bwe nnaggalangawo eggulu waleme okuba enkuba, oba bwe nnaalagiranga enzige okulya ensi, oba bwe nnaaweerezanga kawumpuli mu bantu bange;
14 abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetoowazanga ne basaba ne banoonya amaaso gange ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amabi; kale naawuliranga nga nnyima mu ggulu ne nsonyiwa okwonoona kwabwe ne mponya ensi yaabwe.
15 Kale amaaso gange ganaazibukanga n'amatu gange ganaawuliranga okusaba okunaasabibwanga mu kifo kino.
16 Kubanga kaakano nneerobozezza ennyumba eno ne ngitukuza, erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna: n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeeranga eyo obutayosa.
17 Naawe, bw'onootambuliranga mu maaso gange, nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga, n'okola nga byonna bwe biri bye nnakulagira, n'okwata amateeka gange n'emisango gyange;
18 kale naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo nga bwe nnalagaana ne Dawudi kitaawo nga njogera nti Tewaakubulenga musajja okuba afuga mu Isiraeri.
19 Naye bwe munaakyukanga ne muleka amateeka gange n'ebiragiro byange bye ntadde mu maaso gammwe, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mubasinza:
20 awo ndibasigulira ddala ne mbaggya mu nsi yange gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'erinnya lyange ndigisuula okuva mu maaso gange, era ndigifuula olugero n'ekigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna.
21 N'ennyumba eno empanvu eyenkanidde awo buli anaagiyitangako aneewuunyanga era anaayogeranga nti Kiki ekikozezza bwe kityo Mukama ensi eno n'ennyumba eno?
22 Kale banaddangamu nti Kubanga baaleka Mukama Katonda wa bajjajja baabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bakwata bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza: kyeyava abaleetako obubi buno bwonna.