Chapter 23
1 Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada ne yeenyweza n'alagaanya abaami b'ebikumi, Azaliya mutabani wa Yerokamu ne Isimaeri mutabani wa Yekokanani ne Azaliya mutabani wa Obedi ne Maaseya mutabani wa Adaya ne Erisafaati mutabani wa Zikuli.
2 Awo ne batambulatambula mu Yuda ne bakuŋŋaanya Abaleevi okuva mu bibuga byonna ebya Yuda, n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri, ne bajja e Yerusaalemi.
3 Ekibiina kyonna ne balagaana endagaano ne kabaka mu nnyumba ya Katonda. Awo n'abagamba nti Laba, mutabani wa kabaka anaafuga, nga Mukama bwe yayogera ebya batabani ba Dawudi.
4 Ekigambo kino kye muba mukola: ekitundu kyammwe eky'okusatu abayingira ku ssabbiiti, ku bakabona ne ku Baleevi, banaabanga baggazi ba nzigi;
5 n'ekitundu eky'okusatu banaabanga ku nnyumba ya kabaka; n'ekitundu eky'okusatu banaabanga ku mulyango ogw'omusingi: n'abantu bonna banaabanga mu mpya ez'ennyumba ya Mukama.
6 Naye walemenga okubaawo anaayingira mu nnyumba ya Mukama wabula bakabona n'abo ab'oku Baleevi abaweereza; abo banaayingiranga, kubanga batukuvu: naye abantu bonna banaakwatanga okukuuma kwa Mukama.
7 Era Abaleevi baneetooloolanga kabaka enjuyi zonna, buli muntu ng'akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe; n'oyo anaayingiranga mu nnyumba attibwe: era mubenga ne kabaka bw'anaafulumanga era bw'anaayingiranga.
8 Awo Abaleevi ne Yuda yenna ne bakola nga bwe biri Yekoyaada kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku ssabbiiti; kubanga Yekoyaada kabona teyasiibula mpalo.
9 Awo Yekoyaada kabona n'awa abaami b'ebikumi amafumu n'obugabo n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Katonda.
10 Awo n'assaawo abantu bonna, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe, okuva ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo okutuuka ku luuyi lw'ennyumba olwa kkono, okuliraana ekyoto n’ennyumba awali kabaka enjuyi zonna.
11 Awo ne bafulumya omwana wa kabaka ne bamutikkira engule ey'obwakabaka ne bamuwa obujulirwa; ne bamufuula kabaka, Yekoyaada ne batabani be ne bamufukako amafuta; ne boogera nti Kabaka abe mulamu.
12 Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu, nga baddukana era nga batendereza kabaka, n'ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama:
13 n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ye awayingirirwa, n'abaami n'amakondeere nga baliraanye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi eyo ne basanyuka ne bafuuwa amakondeere; era n'abayimbi nabo ne bakuba ebintu ebivuga ne baleetereza oluyimba olw'okutendereza. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogera nti Bujeemu, bujeemu.
14 Awo Yekoyaada kabona n'afulumya abaami b'ebikumi abaateekebwawo ku ggye, n'abagamba nti Mumufulumye wakati w'ennyiriri; n'oyo anaamugoberera attibwe n'ekitala; kubanga kabona yayogera nti Temumuttira mu nnyumba ya Mukama.
15 Awo ne bamusegulira; n'agenda awayingirirwa mu mulyango ogw'embalaasi mu nnyumba ya kabaka: ne bamuttira eyo.
16 Awo Yekoyaada n'alagaana endagaano naye yennyini n'abantu bonna ne kabaka, babeerenga abantu ba Mukama.
17 Awo abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali, ne balimenyamenya; ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g'ebyoto.
18 Awo Yekoyaada n'assaawo obwami obw'oku nnyumba ya Mukama wansi w'omukono gwa bakabona Abaleevi, Dawudi be yateekateeka mu nnyumba ya Mukama okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga basanyuka era nga bayimba, nga Dawudi bwe yateekateeka.
19 N'assaawo abaggazi ku nzigi z'ennyumba ya Mukama, walemenga okuyingira omuntu yenna atali mulongoofu olw'ekigambo kyonna.
20 N'atwala abaami b'ebikumi n'abakungu n'abakulu b'abantu n'abantu bonna ab'omu nsi; n'aserengesa kabaka nga bamuggya mu nnyumba ya Mukama: ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'engulu eri ennyumba ya kabaka, ne batuuza kabaka ku ntebe y'obwakabaka.
21 Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera: ne batta Asaliya n'ekitala.