Chapter 19
1 Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n'akomawo mu nnyumba ye mirembe e Yerusaalemi.
2 Yeeku mutabani wa Kanani omulabi n'afuluma okumusisinkana n'agamba kabaka Yekosafaati nti Kirungi ggwe okuyamba ababi n'obaagala abo abakyawa Mukama? olw'ekigambo ekyo obusungu bukuliko obuva mu maaso ga Mukama.
3 Naye mu ggwe mulabise ebirungi, kubanga waggyawo Baaserosi mu nsi, n'okakasa omutima gwo okunoonya Katonda.
4 Awo Yekosafaati n'abeeranga e Yerusaalemi: n'afuluma nate mu bantu okuva e Beeruseba okutuuka mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, n'abakomyawo eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
5 N'assaawo abalamuzi mu nsi okubuna ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, buli kibuga kinnakimu,
6 n'agamba abalamuzi nti Mulowooze bye mukola: kubanga temulamulira bantu wabula Mukama; era ye ali wamu nammwe mu kusala emisango.
7 Kale nno entiisa ya Mukama ebeere ku mmwe; mwekuume mukole bwe mutyo: kubanga tewali butali butuukirivu eri Mukama Katonda waffe newakubadde okusosola mu bantu newakubadde okulya enguzi.
8 Era mu Yerusaalemi Yekosafaati mwe yassa ku Baleevi ne bakabona ne ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri olw'okulamula kwa Mukama n'olw'empaka. Ne bakomawo e Yerusaalemi.
9 Awo n'abakuutira ng'ayogera nti Bwe mutyo bwe muba mukola mu ntiisa ya Mukama n'obwesigwa era n'omutima ogwatuukirira.
10 Era baganda bammwe abali mu bibuga byabwe bwe banaaleetanga gye muli okukaayana kwonna, eruuyi omusaayi n'eruuyi omusaayi, eruuyi etteeka n'eruuyi ekiragiro, eruuyi ebyakuutirwa n'eruuyi emisango, munaabalabulanga baleme okuzza omusango eri Mukama, obusungu ne bujja bwe butyo ku mmwe ne ku baganda bammwe: mukolenga bwe mutyo obutabaako musango.
11 Era, laba, Amaliya kabona omukulu yabafuga mu bigambo byonna ebya Mukama; ne Zebadiya mutabani wa Isimaeri, omukulu w'ennyumba ya Yuda, mu bigambo byonna ebya kabaka: era n'Abaleevi banaabanga baami mu maaso gammwe. Mube n'amaanyi mukole, era Mukama ayambenga abakozi b'obulungi.