Chapter 6
1 Awo Sulemaani n'alyoka ayogera nti Mukama ayogedde ng'anaatuulanga mu kizikiza ekikutte.
2 Naye nze nkuzimbidde ennyumba ey'okubeeramu, n'ekifo ky'onoobeerangamu emirembe gyonna.
3 Awo kabaka n'akyusa amaaso ge, n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa: ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bayimirira.
4 N'ayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe, eyayogera n'akamwa ke ne Dawudi kitange, era akituukirizza n'emikono gye, ng'ayogera nti
5 Okuva ku lunaku lwe nnaggya abantu bange mu nsi y'e Misiri, seerobozanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri okuzimbira omwo ennyumba, erinnya lyange libeere omwo; so seerobozanga muntu yenna okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri:
6 naye neerobozezza Yerusaalemi, erinnya lyange libeere omwo; era neerobozezza Dawudi okufuga abantu bange Isiraeri.
7 Kale kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba.
8 Naye Mukama yagamba Dawudi kitange nti Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange ennyumba, wakola bulungi kubanga kyali mu mutima gwo:
9 era naye ggwe tozimbanga nnyumba; naye mutabani wo aliva mu ntumbwe zo, oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba.
10 Era Mukama atuukirizza ekigambo kye kye yayogera; kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katcnda wa Isiraeri ennyumba.
11 Era ntadde omwo essanduuko, omuli endagaano ya Mukama, gye yalagaana n'abaana ba Isiraeri.
12 N'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama, ekibiina kyonna ekya Isiraeri nga weebali n'ayanjuluza engalo ze:
13 (kubanga Sulemaani yali akoze ekituuti eky'ebikomo, obuwanvu bwakyo emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu, n'akiteeka wakati mu luggya; n'ayimirira okwo, n'afukamira ku maviivi ge mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri, n'ayanjuluza engalo ze eri eggulu:)
14 n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, tewali Katonda akufaanana, mu ggulu newakubadde mu nsi; akwata endagaano n'okusaasira eri abaddu bo abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna:
15 eyanyweza eri omuddu wo Dawudi kitange ekyo kye wamusuubiza: weewaawo, wayogera n'akamwa ko, era okituukirizza n'omukono gwo, nga bwe luri leero.
16 Kale nno, ai Mukama Katonda wa Isiraeri, nyweza eri omuddu wo Dawudi kitange ekyo kye wamusuubiza ng'oyogera nti Tewaakubulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kyokka abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu mateeka gange nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange.
17 Kale nno, ai Mukama Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe; kye wagamba omuddu wo Dawudi.
18 Naye Katonda alituula mazima ddala n'abantu ku ttaka? laba, eggulu n'eggulu erya waggulu toligyamu; kale ennyumba eno gye nzimbye eyinza etya ggwe okugigyamu?
19 Naye lowooza okusaba kw'omuddu wo n'okwegayirira kwe, ai Mukama Katonda wange, okuwulira okukaaba n'okusaba omuddu wo kw'asabye mu maaso go:
20 amaaso go gazibukenga eri ennyumba eno emisana n'ekiro, eri ekifo kye wayogerako ng'oliteeka omwo erinnya lyo; okuwulira okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'atunuulira ekifo kino.
21 Era owuliranga okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino: weewaawo, wuliranga ggwe ng'oyima mu kifo kyo ky'obeeramu, ng'oyima mu ggulu; era bw'onoowuliranga, osonyiwanga.
22 Omuntu bw'anaayonoonanga munne, ne bamulayiza ekirayiro ky'aba alayira, n'ajja n'alayira ng'ayima mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno:
23 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, okolanga, osaliranga abaddu bo omusango, ng'osasula ababi, okumuleetako ekkubo lye; era ng'oweesa obutuukirivu omutuukirivu, okumuwa ng'obutuukirivu bwe bwe buli.
24 Era abantu bo Isiraeri bwe banaakubibwanga wansi mu maaso g'abalabe, kubanga bakwonoonye; ne bakyuka nate ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu nnyumba eno:
25 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga okwonoona kw'abantu bo Isiraeri, obakomyangawo nate mu nsi gye wawa bo ne bajjajja baabwe.
26 Eggulu bwe linaggalwangawo, so nga tewali nkuba, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, bw'obabonyaabonyanga:
27 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga ekibi ky'abaddu bo n'abantu bo Isiraeri, bw'onoobayigirizanga ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; oweerezanga enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika.
28 Bwe wanaabanga mu nsi enjala, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala oba bukuku, enzige oba kawuka; abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu nsi ey'ebibuga byabwe; kawumpuli bw'anafaanananga atya, n'endwadde bw'eneefaanananga etya;
29 kyonna kyonna omuntu yenna ky'anaasabanga era kyonna ky'aneegayiriranga, oba abantu bo bonna Isiraeri, abanaamanyanga buli muntu endwadde ye n'obuyinike bwe ye, n'ayanjuluza engalo ze eri ennyumba eno:
30 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu, osonyiwanga osasulanga buli muntu ng'amakubo ge gonna bwe gali, gw'omanyiiko omutima gwe; (kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abaana b'abantu;)
31 balyoke bakutye okutambuliranga mu makubo go ennaku zonna ze balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
32 Era eby'omunnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala olw'erinnya lyo ekkulu n'engalo zo ez'amaanyi n'omukono gwo ogwagololwa; bwe banajjanga ne basaba nga batunuulira ennyumba eno;
33 owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu okole nga byonna bwe biri omunnaggwanga by'akukaabira; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, okukutya ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa erinnya lyo.
34 Abantu bo bwe banaatabalanga abalabe baabwe mu kkubo lyonna ly'onoobatumanga ne bakusabanga nga batunuulira ekibuga kino kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo:
35 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe owozanga ensonga yaabwe.
36 Bwe banaakwonoonanga (kubanga tewali muntu atayonoonanga) n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi oba wala oba kumpi;
37 naye bwe banajjuukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayirira mu nsi ey'okusibibwa kwabwe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo;
38 bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey'okusibibwa kwabwe gye baabatwala nga basibe, ne bakusaba nga batunuulira ensi yaabwe gye wawa bajjajja baabwe, n'ekibuga kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo;
39 kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu owozanga ensonga yaabwe; osonyiwanga abantu bo abakwonoonye.
40 Kale, ai Katonda wange, nkwegayiridde amaaso go gazibukenga n'amatu go gawulirenga okusaba okunaasabirwanga mu kifo kino.
41 Kale nno golokoka, ai Mukama Katonda, oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu, ggwe n'essanduuko ey'amaanyi go: bakabona bo, ai Mukama Katonda, bambale obulokozi, n'abatukuvu bo basanyukire obulungi.
42 Ai Mukama Katonda, tokyusanga maaso g'oyo gwe wafukako amafuta: jjukira okusaasirwa kwa Dawudi omuddu wo.