Chapter 16
1 Awo mu mwaka ogw'asatu mu mukaaga ogw'okufuga kwa Asa, Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'azimba Laama obutaganya muntu kufuluma newakubadde okuyingira eri Asa kabaka wa Yuda.
2 Awo Asa n'aggya effeeza n'ezaabu mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka, n'atumira Benikadadi kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti
3 Waliwo endagaano eri nze naawe, nga bwe yali eri kitange ne kitaawo: laba, nkuweerezza ffeeza n'ezaabu: genda omenye endagaano yo eri Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.
4 Awo Benikadadi n'awulira kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri; ne bakuba Iyoni ne Ddaani ne Aberumayimu n'ebibuga byonna eby'okuterekeramu ebya Nafutaali.
5 Awo lolwatuuka Baasa bwe yakiwulira n'aleka okuzimba Laama n'akomya omulimu gwe.
6 Awo kabaka Asa n'amenya Yuda yenna; ne baggyawo amayinja ag'e Laama n'emiti gyakyo. Baasa bye yazimbya; n'abizimbya Geba ne Mizupa.
7 Era mu biro ebyo Kanani omulabi n'ajja eri Asa kabaka wa Yuda n'amugamba nti Kubanga weesiga kabaka w'e Busuuli n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka w'e Busuuli kye livudde liwona mu mukono gwo.
8 Abaesiyopya n'Abalubimu tebaali ggye ddene kitalo, nga baalina amagaali n'abeebagala embalaasi bangi nnyo nnyini? naye kubanga weesiga Mukama, yabagabula mu mukono gwo.
9 Kubanga amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw'ali ow'amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy'ali. Mu kino okoze eky'obusirusiru; olw'ekyo okuva leero ojja kubanga n'entalo.
10 Awo Asa n'alyoka asunguwalira omulabi, n'amuteeka mu nju ey'ekkomera; kubanga yali amuliko ekiruyi olw'ekigambo ekyo. Asa n'ajooga abamu ku bantu mu biro ebyo.
11 Era, laba, ebikolwa bya Asa ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
12 Ne mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogw'okufuga kwe Asa n'alwala ebigere; endwadde ye n'enyiikira nnyo: naye bwe yalwala n'atagenda eri Mukama naye eri abasawo.
13 Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'afiira mu mwaka ogw'ana mu gumu ogw'okufuga kwe.
14 Ne bamuziika mu ntaana ze ye ze yeebajjira mu kibuga kya Dawudi, ne bamuteeka ku kitanda ekyajjula eby'akaloosa ebiwoomerevu n'envumbo ez'engeri nnyingi, ebyalongoosebwa n'amagezi g'abafumbi ba kalifuwa: ne bamunyookereza bingi nnyo nnyini.