Chapter 8
1 Mukama n'ayogera ne Musa nti
2 Yogera ne Alooni omugambe nti Bw'onookoleezanga ettabaaza, ettabaaza omusavu zinaayakiranga mu maaso g'ekikondo.
3 Alooni n'akola bw'atyo; yakoleeza ettabaaza zaakyo okwakiranga mu maaso g'ekikondo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
4 Era guno gwe gwali omulimu ogw'ekikondo, mulimu gwa zaabu mpeese; okutuuka ku ntobo yaakyo, n'okutuuka ku bimuli byakyo, kyali mulimu muweese: ng'ekyokulabirako bwe kyali Mukama kye yalaga Musa, bw'atyo bwe yakola.
5 Mukama n'agamba Musa nti
6 Yawula Abaleevi mu baana ba Isiraeri, obalongoose.
7 Era bw'onoobakola bw'oti okubalongoosa: mansira ku bo amazzi ag'okutangirira, era akamwano bakayise ku mubiri gwabwe gwonna, booze engoye zaabwe, beerongoose.
8 Kale batwale ente envubuka, n'ekiweebwayo kyako eky'obutta, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, n'ente envubuka ey'okubiri gitwale okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
9 Awo onooyanjula Abaleevi mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: n'okuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri:
10 n'oyanjula Abaleevi mu maaso ga Mukama: abaana ba Isiraeri ne balyoka bateeka emikono gyabwe ku Baleevi:
11 Alooni n'awaayo Abaleevi mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, ku bw'abaana ba Isiraeri, babeerenga ab'okukola okuweereza kwa Mukama.
12 Abaleevi ne bateeka emikono gyabwe ku mitwe gy'ente; naawe oweeyo emu okuba ekiweebwayo, olw'ekibi, n'ey'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, eri Mukama, okutangirira Abaleevi.
13 N'oteeka Abaleevi mu maaso ga Alooni ne mu maaso ga batabani be, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa eri Mukama.
14 Bw'otyo bw'onooyawula Abaleevi mu baana ba Isiraeri: n'Abaleevi banaabanga bange.
15 Oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okukolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; naawe onoobalongoosa, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa.
16 Kubanga baweereddwayo ddala gye ndi mu baana ba Isiraeri; naabeetwalira mu kifo ky'abo bonna abaggula nda, be babereberye ku baana ba Isiraeri bonna.
17 Kubanga ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri bange, oba nga muntu oba nga nsolo: ku lunaku kwe nnakubira ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri nabeetukuliza.
18 Era ntutte Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri.
19 Era mpadde Abaleevi okuba ekirabo eri Alooni n'eri batabani be nga mbaggya mu baana ba Isiraeri, okukolanga okuweereza kw'abaana ba Isiraeri mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'okutangiriranga abaana ba Isiraeri: walemenga okuba ekibonyoobonyo kyonna mu baana ba Isiraeri, abaana ba Isiraeri nga basembera mu watukuvu.
20 Bw'atyo Musa bwe yakola Abaleevi ne Alooni, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa ku Baleevi, bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baabakola.
21 Abaleevi ne beerongoosa mu kibi, ne booza engoye zaabwe; Alooni n'abawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; Alooni n'abatangirira okubalongoosa.
22 Awo oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okukolanga okuweereza kwabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Alooni, ne mu maaso ga batabani be: nga Mukama bwe yali alagidde Musa ku Baleevi, bwe batyo bwe baabakola.
23 Mukama n'agamba Musa nti
24 Bino bye by'Abaleevi: abaakamaze emyaka abiri mu etaano n'okukirawo banaayingiranga okulwanira olutalo mu mulimu ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu:
25 era bwe banaawezanga emyaka ataano, banaalekeranga awo okulwanira mu mulimu, nga tebakyaweereza;
26 naye banaakoleranga wamu ne baganda baabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu, okukuuma bye baateresebwa, nga tebaweereza kuweereza kwonna. Bw'otyo bw'onookola Abaleevi mu ebyo bye baateresebwa.