Chapter 23
1 Balamu n'agamba Balaki nti Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n'endiga ennume musanvu.
2 Balaki n'akola nga Balamu bwe yayogera; Balaki ne Balamu ne baweerayo ku buli kyoto ente n'endiga ennume.
3 Balamu n'agamba Balaki nti Yimirira awali ekyokebwa kw'owaayo nange naagenda; mpozzi Mukama anajja okusisinkana nange: era buli ky'anandaga naakikubuulira. N'agenda ku lusozi aweeru.
4 Katonda n'asisinkana ne Balamu: n’amugamba nti Ntegese ebyoto omusanvu, era mpeereddeyo ente n'endiga ennume ku buli kyoto.
5 Mukama n'ateeka ekigambo mu kamwa ka Balamu, n'agamba nti Ddayo eri Balaki, era bw'otyo bw'onooyogera.
6 N'addayo eri ye, era yali ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo, ye n'abakulu bonna aba Mowaabu.
7 N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Balaki yanziya mu Alamu, Kabaka wa Mowaabu yanziya mu nsozi ez'Ebuvanjuba: Jjangu okolimirire Yakobo, Era jjangu osoomoze Isiraeri.
8 Naakolimira ntya oyo Katonda gw'atakolimiranga? Naasoomoza ntya oyo Katonda gw'atasoomozanga?
9 Kubanga nnyima ku ntikko y'amayinja okumulaba, Ne ku nsozi okumulengera: Laba, be bantu ababeera bokka, So tebalibalibwa mu mawanga.
10 Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo, Oba okubala ekitundu eky'okuna ekya Isiraeri? Nfe ng'omutuukirivu bw'afa, N’enkomerero yange ey'oluvannyuma ebe ng'eyiye!
11 Balaki n'agamba Balamu nti Onkoze ki? Nkututte okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa.
12 N'addamu n'agamba nti Tekiŋŋwanira kwekuuma kwogera ekyo Mukama kyateeka kamwa kange?
13 Balaki n'amugamba nti Jjangu nange, nkwegayiridde, mu kifo ekirala, w’oyinza okuyima okubalengera; onoolaba ekitundu kyabwe eky’enkomerero kyokka, n'otolaba bonna: n’oyima awo okubakolimira.
14 N'amutwala mu ttale lya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n'azimba ebyoto musanvu, n’aweerayo ente n'endiga ennune ku buli Kyoto.
15 N'agamba Balaki nti Yimirira wano awali ekyokebwa ky'owaayo, nze nga bwe nnaasisinkana ne Mukama eyo.
16 Mukama n'asisinkana ne Balamu, n'ateeka ekigambo mu kamwa ke, n'agamba nti Ddayo eri Balaki, era bw'onooyogera bw'otyo.
17 N'ajja gy'ali, era, laba, yali ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo, n'abakulu ba Mowaabu wamu naye. Balaki n'amugamba nti Mukama ayogedde ki?
18 N'agera olugero lwe n'ayogera nti Golokoka, Balaki, owulire; Ntegera okutu, ggwe mutabani wa Zipoli:
19 Katonda si muntu, okulimba; So si mwana wa muntu, okwejjusa: Ayogedde, n'okukola talikikola? Oba agambye, n'okutuusa talikituusa?
20 Laba, ndagiddwa okuwa omukisa: Naye awadde omukisa, nange siyinza kugujjulula.
21 Talabye butali butuukirivu ku Yakobo, So talabye bubambaavu ku Isiraeri: Mukama Katonda we ali naye, N'okwogerera waggulu okwa kabaka kuli mu bo.
22 Katonda abaggya mu Misiri; Alina amaanyi ng'ag'embogo.
23 Mazima tewali ddogo awali Yakobo, So tewali bulaguzi awali Isiraeri: Kaakano kinaayogerwanga ku Yakobo ne ku Isiraeri, Nti Katonda ng'akoze!
24 Laba, abantu bagolokoka ng'empologoma enkazi, Era beeyimusa ng'empologoma ennume: Taagalamire okutuusa lw'anaalya ku muyiggo, N'anywa omusaayi gw'abo abattiddwa.
25 Awo Balaki n'agamba Balamu nti Tobakolimiranga n'akatono, so n'omukisa tobasabiranga mukisa n'akatono.
26 Naye Balamu n'addamu n'agamba Balaki nti Saakubuulira nti Byonna Mukama by'ayogera, ebyo kiŋŋwanira okubikola?
27 Balaki n'agamba Balamu nti Jjangu nno, naakutwala awalala; mpozzi Katonda anaasiima ggwe okuyima eyo okubankolimirira.
28 Awo Balaki n'alinnyisa Balamu ku ntikko ya Peoli, kw'oyima okulengera eddungu.
29 Balamu n'agamba Balaki nti Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n'endiga ennume musanvu.
30 Balaki n'akola nga Balamu bwe yayogera, n’aweerayo ku buli kyoto ente n'endiga ennume.