Chapter 5
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Lagira abaana ba Isiraeri, baggye mu lusiisira buli mugenge, na buli muziku, na buli atali mulongoofu olw'omufu:
3 abasajja era n'abakazi munaabaggyangamu, munaabafulumyanga ebweru w'olusiisira; balemenga okwonoona olusiisira lwabwe, lwe ntuulamu wakati.
4 Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne babafulumya ebweru w'olusiisira: nga Mukama bwe yagamba Musa, abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo.
5 Mukama n'agamba Musa nti
6 Gamba abaana ba Isiraeri nti Omusajja oba omukazi bw'anaakolanga ekibi kyonna abantu kye bakola, okusobya Mukama, omuntu oyo n'abaako omusango;
7 kale banaayatulanga ekibi kye bakoze: era anaaliyiranga ddala byonna olw'omusango gwe, n'assaako n'ekitundu kyabyo eky'okutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango.
8 Naye omuntu oyo bw'aba nga talina muganda we gwe bayinza okuliyira olw'omusango, ebyo bye baliwa olw'omusango bye baliyira Mukama binaabanga bya kabona; era n'endiga ennume ey'okutangirira, gye banaamutangirizanga.
9 Na buli kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu byonna ebitukuw eby'abaana ba Isiraeri, bye baleetera kabona, kinaabanga kikye.
10 N'ebintu ebya buli muntu ebitukuzibwa, binaabanga bibye: ekintu kyonna omuntu yenna ky'anaawanga kabona, kinaabanga kikye.
11 Mukama n'ayogera ne Musa nti
12 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omukazi w'omuntu yenna bw'anaakyamanga, n'amusobyako,
13 omusajja n'asula naye, ne kikwekebwa amaaso ga bbaawe, ne kikisibwa, ye n'ayonooneka, ne wataba mujulirwa amulumiriza, era nga tebamusisinkanirizza;
14 omwoyo ogw'obuggya ne gumujjira, n'akwatirwa mukazi we obuggya, naye ng'ayonoonese: oba omwoyo ogw'obuggya bwe gunaamujjiranga, n'akwatirwa mukazi we obuggya, so naye nga tayonoonese:
15 kale omusajja anaaleetanga mukazi we eri kabona, n'amuleetera ekitone kye, ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obwa sayiri; tafukangako mafuta gonna, so tateekangako mugavu; kubanga kye kiweebwayo eky'obutta olw'obuggya, ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza, ekijjukiza obutali butuukirivu.
16 Awo kabona anaamusembezanga, n'amuteeka mu maaso ga Mukama:
17 kabona n'addira amazzi amatukuvu mu kintu eky'ebbumba; ne ku nfuufu eri wansi mu weema kabona anaatolangako, n'agiteeka mu mazzi:
18 kabona n'ateeka omukazi mu maaso ga Mukama n'abikkula ku nviiri ez'oku mutwe gw'omukazi, n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza, kye kiweebwayo eky'obutta eky'obuggya: era kabona anaakwatanga mu mukono gwe amazti agakaawa agaleeta ekikolimo:
19 awo kabona anaamulayizanga, n'agamba omukazi nti Oba nga tewali musajja eyasula naawe, so tokyamanga eri obutali bulongoofu, ng'ofugibwa balo, amazzi gano agakaawa agaleeta ekikolimo tegakubeerako:
20 naye oba nga wakyama, ng'ofugibwa balo, era ng'oyonoonese, era omusajja omulala oba nga yasula naawe atali balo:
21 awo kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky'okukolima, kabona n'agamba omukazi nti Mukama akufuule ekikolimo n'ekirayiro mu bantu bo, Mukama bw'akoozimbyanga ekisambi kyo, n'atumbiiza olubuto lwo;
22 n'amazzi gano agaleeta ekikolimo ganaagenda mu byenda byo, ne gatumbiiza olubuto lwo, ne gakoozimbya ekisambi kyo; omukazi n'ayogera nti Amina, Amina.
23 Awo kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo mu kitabo, n'abyozaako n'amazzi agakaawa:
24 n’anywesa omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo: amazzi agaleeta ekikolimo ne gayingira mu ye ne gakaawa.
25 Awo kabona anaggyanga ekiweebwayo eky'obutta eky'obuggya mu mukono gw'omukazi, n'awuuba ekiweebwayo eky'obutta mu maaso ga Mukama, n'akireeta eri ekyoto:
26 kabona n'addira olubatu olw'obutta obuweebwayo, okuba ekijjukizo kyabwo, n'abwokera ku kyoto, oluvannyuma n'anywesa omukazi amazzi ago.
27 Awo bw'anaamalanga okumunywesa amazzi, kale olunaatuukanga, bw'anaabanga ayonoonese, era ng'asobezza ku bbaawe, amazzi agaleeta ekikolimo ganaayingirangamu ye ne gakaawa, n'olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikoozimba: n'omukazi anaabanga kikolimo mu bantu be.
28 Era omukazi bw'anaabanga tayonoonese, naye nga mulongoofu; kale taabengako kigambo, n'okuba aliba lubuto.
29 Eryo lye tteeka ery'obuggya, omukazi ng'afugibwa bbaawe bw'anaakyamanga n'ayonooneka:
30 oba omwoyo ogw'obuggya bwe gunajjiranga omusajja, n'akwatirwa mukazi we obuggya; awo anaateekanga omukazi mu maaso ga Mukama, ne kabona anaamukoleranga etteeka eryo lyonna:
31 Omusajja n'atabaako butali butuukirivu, n'omukazi oyo anaabangako obutali butuukirivu bwe.