Chapter 12
1 Awo Miryamu ne Alooni ne boogera obubi ku Musa olw'omukazi Omukuusi gwe yali awasizza: kubanga yali awasizza omukazi Omukuusi.
2 Ne boogera nti Mazima Mukama yayogera ne Musa yekka? era teyayogera naffe? Mukama n'abiwulira.
3 Era omusajja Musa yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna.
4 Mukama n'ayogera mangu ago ne Musa ne Alooni ne Miryamu nti Mufulume mwensatule mujje ku weema ey'okusisinkanirangamu. Abo bonsatule ne bafuluma.
5 Mukama n'akkira mu mpagi ey'ekire, n'ayimirira ku mulyango gw'Eweema, n'ayita Alooni ne Miryamu: bombi ne bafuluma.
6 N'ayogera nti Muwulire nno ebigambo byange: oba nga munaabanga mu mmwe nabbi, nze Mukama neetegeezanga gy'ali mu kwolesebwa, naayogerereranga naye mu kirooto.
7 Omuddu wange Musa si bw'ali bw'atyo; oyo mwesigwa mu nnyumba yange yonna:
8 oyo naayogeranga naye akamwa n'akamwa, mu lwatu, so si mu bigambo bya ngero; n'okufaanana kwa Mukama anaakulabanga: kale ekyabalobera ki okutya okwogera obubi ku muddu wange, ku Musa?
9 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bo; ne yeeviirawo.
10 Ekire ne kiva waggulu ku Weema; era laba, Miryamu n'abaako ebigenge, ng'omuzira: Alooni n'atunuulira Miryamu, era, laba, ng'aliko ebigenge.
11 Alooni n'agamba Musa nti Ai mukama wange, nkwegayiridde, totuteekako kibi, kubanga tukoze eby'obusirusiru era nga tukoze ekibi.
12 Nkwegayiridde aleme okuba ng'omufu, omubiri gwe nga gwonooneseeko ekitundu ng'ava mu lubuto lwa nnyina.
13 Musa n'akaabira Mukama ng'ayogera nti Muwonye, ai Katonda, nkwegayiridde.
14 Mukama n'agamba Musa nti Kitaawe singa amuwandidde amalusu obulusu mu maaso, ensonyi tezandimukwatidde ennaku musanvu? asibirwe ebweru w'olusiisira ennaku musanvu, kale oluvannyuma alyoke ayingizibwe nate.
15 Miryamu n'asibirwa ebweru w'olusiisira ennaku musanvu: abantu ne batatambula okutuusa Miryamu lwe yayingizibwa nate.
16 Awo oluvannyuma abantu ne basitula e Kazerosi ne batambula ne basiisira mu ddungu lya Palani.