Chapter 17
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Gamba abaana ba Isiraeri, obaggyeko emiggo, buli nnyumba ya bakitaabwe gumu, ku bakulu baabwe bonna ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, emiggo kkumi n'ebiri: wandiika erinnya lya buli muntu ku muggo gwe.
3 Era onoowandiika erinnya lya Alooni ku muggo gwa Leevi: kubanga buli mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe omuggo gunaaba gumu.
4 Era onoogitereka mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso g'obujulirwa, we nsisinkanira nammwe.
5 Kale olunaatuuka, omuntu gwe nnaalonda omuggo gwe gunaaloka: nange naamalawo gye ndi okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri, kwe babeemulugunyiza.
6 Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, abakulu baabwe bonna ne bamuwa emiggo, buli mukulu gumu, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, gy'emiggo kkumi n'ebiri: n'omuggo gwa Alooni gwali mu miggo gyabwe.
7 Musa n'atereka emiggo mu maaso ga Mukama mu weema ey'obujulirwa.
8 Awo olwatuuka enkya Musa n'ayingira mu weema ey'obujulirwa; era, laba, omuggo gwa Alooni ogw'omu nnyumba ya Leevi nga gumeze ne guloka ne gusansula ne gubala amaloozi amengevu.
9 Musa n'afulumya emiggo gyonna eri abaana ba Isiraeri bonna ng'agiggya mu maaso ga Mukama: ne balaba, ne baddira buli muntu omuggo gwe.
10 Mukama n'agamba Musa nti Zzaayo omuggo gwa Alooni mu manso g'obujulirwa, okukuumibwanga okuba akabonero eri abaana b'obujeemu; omalewo okwemulugunya kwabwe ku nze, baleme okufa.
11 Musa bwe yakola bw'atyo: nga Mukama bwe yamulagira, bwe yakola.
12 Abaana ba Isiraeri ne bagamba Musa nti Laba, tuzikirira, tufudde, fenna tufudde.
13 Buli anaasemberanga, anaasemberanga ku nnyumba ya Mukama, anaafanga: fenna tulizikirira.