Chapter 1
1 Awo Mukama n'ayogerera ne Musa mu ddungu lya Sinaayi, mu weema ey'okusisinkanirangamu, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okubiri, mu mwaka ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, ng'ayogera nti
2 Mubale omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'omuwendo gw'amannya bwe guli, buli musajja, ng'emitwe gyabwe bwe giri;
3 abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri, ggwe ne Alooni mulibabala ng'eggye lyabwe bwe liri.
4 Era waliba wamu nammwe omusajja ow'omu buli kika; buli muntu omutwe gw'ennyumba ya bakitaawe.
5 Era gano ge mannya g'abasajja abaliyimirira awamu nammwe: ku Lewubeeni; Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
6 Ku Simyoni; Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
7 Ku Yuda; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
8 Ku Isakaali; Nesaneri mutabani wa Zuwaali.
9 Ku Zebbulooni; Eriyaabu mutabani wa Keroni.
10 Ku baana ba Yusufu: ku Efulayimu; Erisaama mutabani wa Ammikudi: ku Manase; Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
11 Ku Benyamini: Abidaani mutabani wa Gidiyooni.
12 Ku Ddaani; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
13 Ku Aseri; Pagiyeeri mutabaai wa Okulaani.
14 Ku Gaadi; Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
15 Ku Nafutaali; Akira mutabani wa Enani.
16 Abo be baayitibwa ku kibiina, abakulu b'ebika bya bakitaabwe; gye gyali emitwe gy'enkumi za Isiraeri.
17 Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya:
18 ne bakuŋŋaanya ekibiina kyonna ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okubiri, ne baatula okuzaalibwa kwabwe ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, ng'emitwe gyabwe bwe gyali.
19 Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo bwe yababalira mu ddungu lya Sinaayi.
20 N'abaana ba Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
21 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Lewubeeni, baali obukumi buna mu kakaaga mu bitaano.
22 Ku baana ba Simyoni, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abaabalibwa ku bo, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
23 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Simyoni, baali obukumi butaano mu kenda mu bisatu.
24 Ku baana ba Gaadi, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
25 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Gaadi, baali obukumi buna mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano.
26 Ku baana ba Yuda, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
27 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Yuda, baali obukumi musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga.
28 Ku baana ba Isakaali, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyalca abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
29 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Isakaali, baali obukumi butaano mu enkumi nnya mu bina.
30 Ku baana ba Zebbulooni, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
31 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Zebbulooni, baali obukumi butaano mu kasanvu mu bina.
32 Ku baana ba Yusufu, ku baana ba Efulayimu, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
33 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Efulayimu, baali obukumi buna mu bitaano.
34 Ku baana ba Manase, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
35 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Manase, baali obukumi busatu mu enkumi bbiri mu bibiri.
36 Ku baana ba Benyamini, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
37 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Benyamini, baali obukumi busatu mu enkumi ttaano mu bina.
38 Ku baana ba Ddaani, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
39 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Ddaani, baali obukumi mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu.
40 Ku baana ba Aseri, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
41 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Aseri, baali obukumi buna mu lukumi mu bitaano.
42 Ku baana ba Nafutaali, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
43 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Nafutaali, baali obukumi butaano mu enkumi ssatu mu bina.
44 Abo be baabalibwa, Musa ne Alooni be baabala, n'abakulu ba Isiraeri, abasajja kkumi na babiri: buli muntu wa mu nnyumba ya bakitaabwe.
45 Bwe batyo bonna abaabalibwa ku baana ba Isiraeri; ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala mu Isiraeri;
46 bonna abaabalibwa baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
47 Naye Abaleevi ng'ekika kya bakitaabwe bwe kyali tebaabalibwa mu bo.
48 Kubanga Mukama yagamba Musa
49 nti Kyokka ekika kya Leevi tolikibala, so tolinoonya muwendo gwabwe mu baana ba Isiraeri:
50 naye Abaleevi obafuule abakulu b'ennyumba ey'obujulirwa, era ab'ebintu byayo byonna, era ab'ebintu byonna ebigenderako: banaasitulanga ennyumba, n'ebintu byayo byonna; era banaagiweerezanga, era baanasiisiranga okwetooloola ennyumba.
51 Era ennyumba bw'eneebanga etambula, Abaleevi be banaagisimbulanga: era ennyumba bw'eneebanga esimbibwa, Abaleevi be banaagisimbanga: era munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga.
52 Era abaana ba Isiraeri banaasimbanga eweema zaabwe; buli muntu okuliraana n'olusiisira lwe ye, era buli muntu okuliraana n'ebendera ye ye, ng'eggye lyabwe bwe liri.
53 Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola ennyumba ey'obujulirwa, walemenga okuba obusungu ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri: era Abaleevi banaabanga n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ey'obujulirwa.
54 Bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri; nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, ne bakola bwe batyo.