Chapter 21
1 N'Omukanani, kabaka w’e Yaladi, eyatuulanga mu bukiika obwa ddyo, n'awulira nga Isiraeri ajja mu kkubo lya Asalimu; n'alwana ne Isiraeri n'awamba abamu ku bo.
2 Isiraeri ne yeeyama obweyamo eri Mukama, n'agamba nti Bw'onoogabulira ddala abantu bano mu mukono gwange, ndizikiririza ddala ebibuga byabwe.
3 Mukama n'awulira eddoboozi lya Isiraeri, n'agabula Abakanani; ne babazikiririza ddala bo n'ebibuga byabwe: ekifo ne kituumibwa erinnya lyakyo Koluma.
4 Ne basitula okuva ku lusozi Koola ne bagenda mu kkubo ery'Ennyanja Emmyufu, okwetooloola ensi ya Edomu: obulamu bw'abantu ne bukeŋŋentererwa nnyo olw'olugendo.
5 Abantu ne boogera bubi ku Katonda ne ku Musa, nti Mwatuggira ki mu Misiri okutulinnyisa okufiira mu ddungu? kubanga tewali kyakulya, so tewali mazzi; n'obulamu bwaffe butamiddwa ekyokulya kino ekyangu.
6 Mukama n'asindikira abantu emisota egy'omuliro, ne giruma abantu; abantu bangi ne bafa ku Isiraeri.
7 Abantu ne bajja eri Musa ne bagamba nti Twonoonye kubanga twayogera obubi ku Mukama ne ku ggwe; saba Mukama atuggyeko emisota. Musa n'asabira abantu.
8 Mukama n'agamba Musa nti Weekolere omusota ogw'omuliro, oguteeke ku mulongooti: awo olunaatuuka, buli alumiddwa bw'anaagulaba, anaaba mulamu.
9 Musa n'akola omusota ogw'ekikomo, n'aguteeka ku mulongooti: awo olwatuuka amusota bwe gwabanga gulumye omuntu yenna, bwe yatunuulira omusota ogw'ekikomo, n'aba mulamu.
10 Abaana ba Isiraeri ne batambula ne basiisira mu Obosi.
11 Ne basitula e Obosi ne batambula ne basiisira mu Iyeabalimu, mu ddungu eryolekera Mowaabu, ku luuyi olw'ebuvanjuba.
12 Ne bavaayo, ne batambula, ne basiisira mu kiwonvu kya Zeredi.
13 Ne bavaayo ne batambula ne basiisira emitala wa Alunoni, oguli mu ddungu, ogusibuka mu nsalo y'Abamooli: kubanga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, wakati wa Mowaabu n'Abamooli.
14 Kyekyava kyogerwa mu kitabo eky'Entalo za Mukama nti Vakebu mu Sufa N'ebiwonvu bya Alunoni,
15 N'ebikko eby'ebiwonvu Ebiserengetera eri ennyumba za Ali, Era ebyesigama ku nsalo ya Mowaabu.
16 Ne bavaayo ne batambula ne bagenda e Beeri: olwo lwe luzzi Mukama lwe yabuulirako Musa nti Kuŋŋaanya abantu, nange nnaabawa amazzi.
17 Isiraeri n'alyoka ayimba oluyimba luno: Weesere, ggwe oluzzi; muluyimbire;
18 Oluzzi abakulu lwe baasima, Abakungu b'abantu lwe baayerula, N'omuggo ogw'obwakabaka, n'emiggo gyabwe. Ne bava mu ddungu ne batambula ne bagenda e Matana:
19 ne basitula e Matana ne bagenda e Nakalieri: ne basitula e Nakalieri ne bagenda e Bamosi:
20 ne basitula e Bamosi ne bagenda mu kiwonvu ekiri ku ttale lya Mowaabu, ku ntikko ya Pisuga, kw'oyima okulengera eddungu.
21 Isiraeri n'atuma ababaka eri Sikoni kabaka w'Abamoli ng'ayogera nti
22 Ka mpite mu nsi yo: tetulikyamira mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu; tetulinywa ku mazzi ga nzizi: tulitambulira mu luguudo lwa kabaka, okutuusa lwe tuliyita mu nsalo yo.
23 Sikoni n'ataganya Isiraeri kuyita mu nsalo ye naye Sikoni n'akuŋŋaanya abantu be bonna, n'atabaala Isiraeri mu ddungu, n'atuuka e Yakazi: n'alwana ne Isiraeri.
24 Isiraeri n'amukuba n'obwogi bw'ekitala, n'alya ensi ye okuva ku Alunoni okutuuka ku Yaboki, okutuuka ku baana ba Amotu: kubanga ensalo ey'abaana ba Amoni yali ya maanyi.
25 Isiraeri n'alya ebibuga ebyo byonna: Isiraeri n'atuula mu bibuga byonna eby'Abamoli, mu Kesuboni ne mu bibuga byakyo byonna.
26 Kubanga Kesuboni kyali kibuga kya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyalwana ne kabaka wa Mowaabu eyasooka, n'aggya mu mukono gwe ensi yonna, okutuuka ku Alunoni.
27 Aboogerera mu ngero kyebaava boogera nti Mujje e Kesuboni, Ekibuga kya Sikono kizimbibwe kinywezebwe:
28 Kubanga omuliro gufulumye mu Kesuboni, Ennimi z'omuliro mu kibuga kya Sikoni: Gwokezza Ali ekya Mowaabu, Abakungu ab'ebifo ebigulumivu ebya Alunoni.
29 Zikusanze, Mowaabu! Mufudde, mmwe abantu ba Kemosi : Agabudde batabani be okuba abadduse, Ne bawala be okuba abasibe, Eri Sikoni kabaka w'Abamoli.
30 Twabasimbako; Kesuboni kyazikirira okutuuka ku Diboni, Era twazisa okutuuka ku Nofa, Ekituuka ku Medeba.
31 Isiraeri n'atuula bw'atyo mu nsi y'Abamoli.
32 Musa n'atuma okuketta Yazeri, ne balya ebibuga byayo, ne bagobamu Abamoli abaali eyo.
33 Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo ly'e Basani: Ogi kabaka We Basani n'abatabaala, ye n'abantu be bonna okulwanira nabo e Derei.
34 Mukama n'agamba Musa nti Tomutya: kubanga mmugabudde mu mukono gwo, n'abantu be bonna, n'ensi ye; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga e Kesuboni.
35 Awo ne bamutta ne batabani be, n'abantu be bonna, ne watamusigalirawo n'omu: ne balya ensi ye.