Chapter 22
1 Abaana ba Isiraeri ne batambula ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu emitala wa Yoludaani e Yeriko.
2 Awo Balaki mutabani wa Zipoli n'alaba byonna Isiraeri bye yali akoze Abamoli.
3 Mowaabu n'atya nnyo abantu, kubanga bangi: Mowaabu n'akeŋŋentererwa olw'abaana ba Isiraeri.
4 Mowaabu n'agamba abakadde ba Midiyaani nti Kaakano ekibiina kino kigenda kukombera ddala byonna ebitwetoolodde, ng'ente bw'ekomba omuddo ogw'oku ttale. Era Balaki mutabani wa Zipoli ye yali kabaka wa Mowaabu mu biro ebyo.
5 N’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, e Pesoli, ekiri ku lubalama lw'Omugga, mu nsi y'abaana b'abantu be, okumuyita ng'ayogera nti Laba, waliwo abantu abaava mu Misiri: laba, basaanikidde ku maaso g'ensi, era batudde okunjolekera:
6 kale nno jjangu, nkwegayiridde, onkolimirire abantu bano: kubanga bannyinze amaanyi: mpozzi ndiwangula, tubatte, mbagobe mu nsi: kubanga mmanyi nga gw'osabira ggwe omukisa aweebwa omukisa, ne gw'okolimira akolimirwa.
7 Abakadde ba Mowaabu n'abakadde ba Midiyaani ne bagenda nga balina omukemba mu ngalo zaabwe; ne bajja eri Balamu, ne bamubuulira ebigambo bya Balaki.
8 N'abagamba nti Musule wano ekiro kino, nange ndibaddiza ebigambo nga Mukama bw'anaŋŋamba: abakulu ba Mowaabu ne babeera ewa Balamu.
9 Katonda n'ajja eri Balamu n'agamba nti Bantu ki bano abali naawe?
10 Balamu n'agamba Katonda nti Balaki mutabani wa Zipoli kabaka wa Mowaabu, yantumira ng'ayogera nti
11 Laba, abantu abaava mu Misiri basaanikidde ku maaso g'ensi: Jjangu nno, obankolimirire; mpozzi ndiyinza okulwana nabo, ne mbagoba.
12 Katonda n'agamba Balamu nti Togenda nabo; tokolimira bantu abo: kubanga baweereddwa omukisa.
13 Balamu n'agolokoka enkya, n'agamba abakulu ba Balaki nti Mwegendere mu nsi yammwe: kubanga Mukama agaanyi okundagira okugenda nammwe.
14 Abakulu ba Mowaabu ne bagolokoka, ne baddayo eri Balaki, ne bagamba nti Balamu agaanyi okujja naffe.
15 Balaki ne yeeyongera nate okutuma abakulu, abaasinga abo obungi era abaabasinga n'ekitiibwa.
16 Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti Waleme okubaawo ekintu, nkwegayiridde, ekinaakuziyiza okujja gye ndi:
17 kubanga ndikukuza n'obeera n'ekitiibwa kinene nnyo, na buli ky'oliŋŋamba ndikikola: kale jjangu, nkwegayiridde, onkolimirire abantu bano.
18 Balamu n’addamu n’agamba abaddu ba Balaki nti Balaki bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde effeeza ne zaabu, siyinza kuyita ku kigambo kya Mukama Katonda wange, okukendeezaako oba okusukkiriza.
19 Kale nno, mbeegayiridde nammwe musule wano ekiro kino, ndyoke mmanye Mukama ky'aneeyongera okumbuulira.
20 Katonda n’ajja eri Balamu ekiro, n'amugamba nti Abantu abo oba nga bazze okukuyita, golokoka ogende nabo; naye ekigambo kyokka kye nkubuulira ky'oba okola.
21 Balamu n'agolokoka enkya n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n'agenda n'abakulu ba Mowaabu.
22 Obusungu bwa Katonda ne bubuubuuka kubanga yagenda: malayika wa Mukama n'ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Era yali yeebagadde ku ndogoyi ye, n'abaddu be bombi baali naye.
23 Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze: endogoyi n'ekyama okuva mu kkubo, n'egenda ku nsiko: Balamu n'akuba endogoyi okugizza mu kkubo.
24 Malayika wa Mukama n'alyoka ayimirira mu kkubo ery'omu kiwonvu eriri wakati w'ensuku z'emizabbibu olukomera nga luli ku luuyi, n'olukomera ku luuyi.
25 Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, ne yeenyigiriza ku lukomera, n'ebetenta ekigere kya Balamu ku lukomera: n'agikuba nate.
26 Malayika wa Mukama ne yeeyongera okusembera eyo, n'ayimirira mu kkubo ery'akanyigo, awataali bbanga lya kukyukira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono.
27 Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, n'egalamira wansi wa Balamu: obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n'akuba endogoyi n'omuggo gwe.
28 Mukama n'ayasamya akamwa k'endogoyi, n'egamba Balamu nti Nkukoze ki ggwe okunkuba emirundi gino gyonsatule?
29 Balamu n'agamba endogoyi nti Kubanga onduulidde: singa mbadde n'ekitala mu ngalo zange, kaakano nandikusse.
30 Endogoyi n'egamba Balamu nti Siri ndogoyi yo, gye weebagalako obulamu bwo bwonna okutuusa leero? nali mpisizza okukukola bwe ntyo? N'agamba nti Nedda.
31 Awo Mukama n'alyoka azibula amaaso ga Balamu, n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze: n'akutama omutwe gwe, n'avuunama amaaso ge.
32 Malayika wa Mukama n'amugamba nti Okubidde ki endogoyi yo emirundi gino gyonsatule? laba, nfulumye okukuziyiza, kubanga okutambula kwo kukakanyavu mu maaso gange.
33 Endogoyi n'endaba n'ekyuka mu maaso gange emirundi gino gyonsatule: singa tekyuse mu maaso gange, kaakano sandiremye kukutta ggwe, nayo ne ngiwonya okufa.
34 Balamu n'agamba malayika wa Mukama nti Nnyonoonye; kubanga saamanye ng'oyimiridde mu kkubo okunziyiza: kale kaakano, oba nga kikunyiiza, naddayo nate.
35 Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti Genda n'abantu abo: naye ekigambo kyokka kye nnaakubuulira ky'oba oyogera. Awo Balamu n'agenda n'abakulu ba Balaki.
36 Awo Balaki bwe yawulira nga Balamu azze, n'afuluma okumusisinkana mu Kibuga kya Mowaabu, ekiri ku nsalo ya Alunoni, oguli ku nkomerero y'ensalo.
37 Balaki n'agamba Balamu nti Saakutumira okukuyita ne nkutayirira? ekyakulobera okujja gye ndi ki? siyinza ddala kukukuza n'obeera n'ekitiibwa?
38 Balamu n'agamba Balaki nti Laba, nzize gy'oli: kaakano nnina obuyinza bwonna okwogera ekigambo kyonna? ekigambo Katonda ky'anaateeka mu kamwa kange, ekyo kye nnaayogera.
39 Balamu n’agenda ne Balaki, ne bajja e Kiriasikuzosi.
40 Balaki n'awaayo ente n'endiga, n'atumiza Balamu n'abakulu abaali naye.
41 Awo olwatuuka enkya, Balaki n’atwala Balamu, n'amulinnyisa ku bifo ebigulumivu ebya Baali, n'ayima eyo okulengera enkomerero y'abantu.