Chapter 26
1 Awo olwatuuka kawumpuli ng'awedde, Mukama n'agamba Musa ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona nti
2 Bala omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri.
3 Musa ne Eriyazaali kabona ne babagambira mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko nti
4 Mubale omuwendo gw'abantu, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo; nga Mukama bwe yalagira Musa n'abaana ba Isiraeri, abaava mu nsi y'e Misiri.
5 Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri: batabani ba Lewubeeai; okuva ku Kanoki, enda ey'Abakanoki: okuva ku Palu, enda eya Abapalu:
6 okuva ku Kezulooni, enda eya Bakezulooni: okuva ku Kalumi, enda eya Bakalumi.
7 Ezo ze nda eza Balewubeeni: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu.
8 Ne batabani ba Palu; Eriyaabu.
9 Ne batabani ba Eriyaabu; Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Abo be Dasani ne Abiraamu abo, abaalondebwa ekibiina, abaawakana ne Musa ne Alooni mu kibiina kya Koola, bwe baawakana ne Mukama:
10 ensi n'eyasama akamwa kaayo, n'ebamira wamu ne Koola, ekibiina ekyo bwe kyafa; mu biro ebyo omuliro bwe gwayokya abasajja ebikumi bibiri mu ataano, ne bafuuka kabonero.
11 Naye batabani ba Koola tebaafa.
12 Batabani ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Nemweri, enda eya Banemweri: okuva ku Yamini, enda eya Bayamini: okuva ku Yakini, enda eya Bayakini:
13 okuva ku Zeera, enda eya Bazeera: okuva ku Sawuli, enda eya Basawuli.
14 Ezo ze nda eza Basimyoni, obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu bibiri.
15 Batabani ba Gaadi ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Zefoni, enda eya Bazefoni: okuva ku Kagi, enda eya Bakagi: okuva ku Suni, enda eya Basuni:
16 okuva ku Ozeni, enda eya Baozeni: okuva ku Eri, enda eya Baeri:
17 okuva ku Alodi, enda eya Baalodi: okuva ku Aleri, enda eya Baaleri:
18 ezo ze nda eza batabani ba Gaadi ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi buna mu bitaano.
19 Batabani ba Yuda, Eri ne Onani: Eri ne Onani ne bafiira mu nsi ya Kanani.
20 Ne batabani ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali bano; okuva ku Seera, enda eya Baseera: okuva ku Pereezi, enda eya Bapereezi: okuva ku Zeera, enda eya Bazeera.
21 Ne batabani ba Pereezi bano; okuva ku Kezulooni, enda eya Bakezulooni okuva ku Kamuli, enda eya Bakamuli.
22 Ezo ze nda za Yuda ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi musanvu mu kakaaga mu bitaano.
23 Batabani ba Isakaali ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Tola, enda eya Batola: okuva ku Puva, enda eya Bapuva:
24 okuva ku Yasubu, enda eya Bayasubu: okuva ku Simuloni, enda eya Basimuloni.
25 Ezo ze nda za Isakaali ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi mukaaga mu enkumi nnya mu bisatu.
26 Batabani ba Zebbulooni ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Seredi, enda eya Baseredi: okuva ku Eroni, enda eya Baeroni: okuva ku Yaleeri, enda eya Bayaleeri.
27 Ezo ze nda eza Bazebbulooni ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi mukaaga mu bitaano.
28 Batabani ba Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali: Manase ne Efulayimu
29 Batabani ba Manase: okuva ku Makiri, enda eya Bamakiri: Makiri n'azaala Gireyaadi: okuva ku Gireyasdi, enda eya Bagireyaadi.
30 Bano be batabani ba Gireyaadi: okuva ku Yezeeri, enda eya Bayezeeri: okuva ku Kereki, enda eya Bakereki:
31 n'okuva ku Asuliyeri, enda eya Basuliyeri: n'okuva ku Sekemu, enda eya Basekemu:
32 n'okuva ku Semida, enda eya Basemida: n'okuva ku Keferi, enda eya Bakeferi.
33 Ne Zerofekadi mutabani wa Keferi teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala: ne bawala ba Zerofekadi amannya gaabwe Maala ne Toowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza.
34 Ezo ze nda za Manase: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi butaano mu enkumi bbiri mu lusanvu.
35 Bano be batabani ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Susera, enda eya Basusera: okuva ku Bekeri, enda eya Babekeri: okuva ku Takani, enda eya Batakani.
36 Ne bano be batabani ba Susera: okuva ku Erani, enda eya Baerani.
37 Ezo ze nda za batabani ba Efulayimu ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi busatu mu enkumi bbiri mu bitaano. Abo be batabani ba Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali.
38 Batabani ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Bera, enda eya Babera: okuva ku Asuberi, enda eya Basuberi: okuva ku Akiramu, enda eya Bakiramu:
39 okuva ku Sufamu, enda eya Basufamu: okuva ku Kufamu, enda eya Bakufamu.
40 Ne batabani ba Bera baali Aluda ne Naamani: okuva ku Aluda, enda eya Baluda: okuva ku Naamani, enda eya Banaamani.
41 Abo be batabani ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu enkumi ttaano mu lukaaga.
42 Bano be batabani ba Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Sukamu, enda eya Basukamu. Ezo ze nda za Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali.
43 Enda zonna eza Basukamu, ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, baali obukumi mukaaga mu enkumi nnya mu bina.
44 Batabani ba Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Imuna, enda eya Baimuna: okuva ku Isuvi, enda eya Baisuvi: okuva ku Beriya, enda eya Baberiya.
45 Okuva ku batabani ba Beriya: okuva ku Keberi, enda eya Bakeberi: okuva ku Malukiyeeri, enda eya Bamalukiyeeri.
46 Ne muwala wa Aseri erinnya lye Seera.
47 Ezo ze nda eza batabani ba Aseri ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi butaano mu enkumi ssatu mu bina.
48 Batabani ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Yazeeri, enda eya Bayazeeri: okuva ku Guni, enda eya Baguni:
49 okuva ku Yezeeri, enda eya Bayezeeri: okuva ku Siremu, enda eya Basiremu.
50 Ezo ze nda za Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu enkumi ttaano mu bina.
51 Abo be baabalibwa ku baana ba Isiraeri, obusiriivu mukaaga mu lukumi mu lusanvu mu asatu.
52 Mukama n'agamba Musa nti
53 nti Abo be baligabirwa ensi okuba obusika ng'omuwendo gw'amannya bwe guli.
54 Abayinga obungi olibawa obusika okusukkiriza, n’abatono olibawa obusika okukendeezaako: buli muntu ng'abo abaabalibwa ku ye bwe baali, bw'aliweebwa bw'atyo obusika bwe.
55 Era naye ensi erigabibwa na bululu: ng'amannya g'ebika bya bakitaabwe bwe gali bwe balisika.
56 Ng'obululu bwe buliba obusika bwabwe bwe buligabirwa abo abayinga obungi n'abatono.
57 Ne bano be baabalibwa ku Baleevi ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Gerusoni, enda eya Bagerusoni: okuva ku Kokasi, enda eya Bakokasi: okuva ku Merali, enda eya Bamerali.
58 Zino ze nda za Leevi: enda eya Balibuni, enda eya Bakebbulooni, enda eya Bamakuli, enda eya Bamusi, enda eya Bakoola. Kokasi n'azaala Amulaamu.
59 Ne mukazi wa Amulaamu erinnya lye Yokebedi, muwala wa Leevi, eyazaalirwa Leevi mu Misiri: n'azaalira Amulaamu Alooni ne Musa ne Miryamu mwannyinaabwe.
60 Alooni n'azaalirwa Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
61 Nadabu ne Abiku ne bafa, bwe baawaayo omuliro omulala mu maaso ga Mukama.
62 N'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi bubiri mu enkumi ssatu, buli musajja eyaakamala omwezi ogumu n'okukirawo: kubanga tebaabalibwa mu baana ba Isiraeri, kubanga tebaaweebwa busika mu baana ba Isiraeri.
63 Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona; abaabalira abaana ba Isiraeri mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko.
64 Naye mu abo temwali n'omu ku abo abaabalibwa Musa ne Alooni kabona; abaabalira abaana ba Isiraeri mu ddungu lya Sinaayi.
65 Kubanga Mukama yali ayogedde ku bo nti Tebalirema kufiira mu ddungu. So tewaasigalawo ku bo n'omu wabula Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuni.