Chapter 7
1 Awo olwatuuka ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba ennyumba, era ng'amaze okugifukako amafuta n'okugitukuza, n'ebintu byayo byonna, n'ekyoto n'ebintu byakyo byonna, era ng'amaze okubifukako amafuta n'okubitukuza;
2 awo abakulu ba Isiraeri, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, ne bawaayo; abo be baali abakulu b'ebika, abo be baafuganga abo abaabalibwa:
3 ne baleeta ekitone kyabwe mu maaso ga Mukama, amagaali amabikkeko mukaaga, n'ente kkumi na bbiri; eggaali erimu lya bakulu kinnababirye era kinoomu ente: ne babyanjula mu maaso g'ennyumba.
4 Mukama n'agamba Musa nti
5 Kitoole gye bali, bibeerenga bya kukola omulimu ogw'okuweereza ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; era onoobiwa Abaleevi, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kuli.
6 Musa n'atoola amagaali n'ente, n'abiwa Abaleevi.
7 Amagaali abiri n'ente nnya bye yawa batabani ba Gerusoni, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali:
8 n'amagaali ana n'ente munaana bye yawa batabani ba Merali, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali, wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
9 Naye batabani ba Kokasi teyabawaako: kubanga okuweereza okw'omu watukuvu kwali kwabwe; baakusituliranga ku bibegabega byabwe.
10 Awo abakulu ne bawaayo olw'okuwonga ekyoto ku lunaku lwe kyafukirwako amafuta, abakulu ne bawaayo ekirabo kyabwe mu maaso g'ekyoto.
11 Mukama n'agamba Musa nti Banaawangayo ekitone kyabwe, buli mukulu ku lunaku lwe, olw'okutukuza ekyoto.
12 N'oyo eyawaayo ekitone kye ku lunaku olw'olubereberye yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ow'omu kika kya Yuda:
13 n'ekitone kye kyali ssowaani emu ya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
14 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
15 ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
16 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
17 era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu:
18 Ku lunaku olw'okubiri Nesaneri mutabani wa Zuwaali, omukulu wa Isakaali, n'awaayo:
19 yawaayo okuba ekitone kye essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
20 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
21 ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
22 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
23 era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Nesaneri mutabani wa Zuwaali.
24 Ku lunaku olw'okusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulu w'abaana ba Zebbulooni n'awaayo:
25 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
26 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
27 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
28 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
29 era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Eriyaabu mutabani wa Keroni.
30 Ku lunaku olw'okuna Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulu w'abaana ba Lewubeeni, n'awaayo:
31 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
32 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
33 ente evubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
34 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
35 era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Erizuuli mutabaani wa Sedewuli.
36 Ku lunaku olw'okutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulu w'abaana ba Simyoni n'awaayo:
37 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsavu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
38 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
39 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
40 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
41 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
42 Ku lunaku olw'omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulu w'abaana ba Gaadi, n'awaayo:
43 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsavu, nga sekeri eyomu watukuvu bw'eri; byombi, nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
44 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
45 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
46 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
47 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
48 Ku lunaku olw'omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi omukulu w'abaana ba Efulayimu, n'awaayo;
49 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
50 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi ekijjudde obubaane;
51 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
52 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
53 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Erisaama mutabani wa Ammikudi.
54 Ku lunaku olw'omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulu w'abaana ba Manase, n'awaayo:
55 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
56 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
57 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyakebwa;
58 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
59 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Gamalyeri, mutabani wa Pedazuuli.
60 Ku lunaku olw'omwenda Abidaani mutabani wa Gidiyooni, omukulu w'abaana ba Benyamini, n'awaayo:
61 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsavu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
62 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
63 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
64 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
65 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu; ekyo kye kyali ekitone kya Abidaani mutabani wa Gidiyooni.
66 Ku lunaku olw'ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulu w'abaana ba Ddaani, n'awaayo:
67 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
68 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
69 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
70 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
71 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
72 Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulu w'abaana ba Aseri, n'awaayo:
73 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsavu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
74 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
75 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
76 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
77 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Pagiyeeri mutabani wa Okulaani.
78 Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulu w'abaana ba Nafutaali, n'awaayo:
79 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta;
80 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi ekijjudde obubaane;
81 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
82 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
83 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Akira mutabani wa Enani.
84 Kuno kwe kwali okutukuza ekyoto, ku lunaku kwe kyafukirwako amafuta mu mikono gy'abakulu ba Isiraeri: essowaani kkumi na bbiri eza ffeeza, ebibya kkumi na bibiri ebya ffeeza, ebijiiko kkumi na bibiri ebya zaabu:
85 buli ssowaani eya ffeeza sekeri kikumi mu asatu, na buli kibya sekeri nsanvu: effeeza yonna ey'ebintu sekeri enkumi bbiri mu bina, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri;
86 ebijiiko ebya zaabu kkumi na bibiri, ebijjudde obubaane, buli kijiiko sekeri kkumi, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: zaabu yonna ey'omu bijiiko sekeri kikumi mu abiri:
87 ente zonna okuba ekiweebwayo ekyokebwa kkumi na bibiri, endiga ennume kkumi na bbiri, abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu kkumi na babiri, n'obutta bwabyo obuweebwayo: n'embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi kkumi na bbiri:
88 n'ente zonna okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ente abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga, abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu nkaaga. Okwo kwe kwali okutukuza ekyoto, bwe kyamala okufukibwako amafuta.
89 Awo Musa bwe yayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu okwogera naye, n'alyoka awulira Eddoboozi eryo nga lyogera naye nga liyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira eyali ku sanduuko ey'obujulirwa, wakati wa bakerubi bombi: n'ayogera naye.