Chapter 30
1 Musa n'agamba emitwe gy'ebika by'abaana ba Isiraeri nti Kino kye kigambo Mukama ky'alagidde.
2 Omusajja bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, oba bw'anaalayiranga ekirayiro okulagaanya obulamu bwe n'endagaano, tavumisanga kigambo kye; anaakolanga nga byonna bwe biri ebifuluma mu kamwa ke.
3 Era omukazi bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, ne yeeragaanya n'endagaano, ng'ali mu anyumba ya kitaawe, mu buto bwe;
4 kitaawe n'awulira obweyamo bwe n'endagaano gy'alagaanyizza obulamu bwe, kitaawe n'amusirikira: kale obweyamo bwe bwonna bunaanyweranga, na buli ndagaano gy'alagaanyizza obulamu bwe eneenyweranga.
5 Naye kitaawe bw'anaamugaananga ku lunaku lw'awulirirako; tewabangawo ku bweyamo bwe newakubadde ku ndagaano ze, ze yalagaanya obulamu bwe, eneenyweranga: era Mukama anaamusonyiwanga kubanga kitaawe yamugaana.
6 Era bw'anaabanga alina bba, obweyamo bwe nga buli ku ye, oba emimwa gye bye gyogera ng'ayanguyiriza, by'alagaanyizza obulamu bwe;
7 bba n'awulira n'amusirikira ku lunaku lw'akiwulirirako: kale obweyamo bwe bunaanyweranga, n'endagaano z'alagaanyizza obulamu bwe zinaayweranga.
8 Naye bba bw'anaamugaananga ku lunaku lw'akiwulirirako; kale anajjululanga obweyamo bwe obuli ku ye, n'emimwa gye bye gyogedde ng'ayanguyirizza, by'alagaanyizza obulamu bwe: era Mukama anaamusonyiwanga.
9 Naye obweyamo bwa nnamwandu oba bw'oyo eyagobebwa bba, buli kye yalagaanya obulamu bwe, kinaanyweranga ku ye.
10 Era oba nga yeeyamira obweyamo mu nnyumba ya bba, oba yalagaanya obulamu bwe n'endagaano ng'alayira,
11 bba n'akiwulira n'amusirikira n'atamugaana; kale obweyamo bwe bwonna bunaanyweranga, na buli ndagaano gye yalagaanya obulamu bwe eneenyweranga.
12 Naye bba oba nga yabidibya ku lunaku lwe yabiwulirirako; kale buli ekyafuluma mu mimwa gye mu bigambo by'obweyamo bwe oba mu bigambo by'endagaano y'obulamu bwe tekinyweranga: bba ng'abijjuludde; era Mukama anaamusonyiwanga.
13 Buli bweyamo na buli kirayiro eky'endagaano eky'okwebonereza obulamu bwe, bba ayinza okukinyweza, oba bba ayinza okukijjulula.
14 Naye bba bw'anaamusirikiriranga ddala bulijjo bulijjo; kale anaanywezanga obweyamo bwe bwonna, oba endagaano ze zonna eziri ku ye: ng'abinywezezza, kubanga yamusirikira ku lunaku lwe yabiwulirirako.
15 Naye bw'anaabidibyanga ng'amaze okubiwulira; kale ye anaabangako obutali butuukirivu bw'omukazi.
16 Ago ge mateeka Mukama ge yalagira Musa, wakati w'omusajja ne mukazi we, wakati wa kitaawe w'omuwala ne muwala we, ng'akyali mu buto bwe, mu nnyumba ya kitaawe.