Chapter 33
1 Bino bye biramago eby'abaana ba Isiraeri, bwe baava mu nsi y'e Misiri ng'eggye lyabwe bwe lyali wansi w'omukono gwa Musa ne Alooni.
2 Musa n'awandiika okusitula kwabwe ng'ebiramago byabwe bwe byali olw'ekiragiro kya Mukama: era bino bye biramago byabwe ng'okusitula kwabwe bwe kwali.
3 Ne basitula e Lamesesi mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'olubereberye; ku lw'enkya Okuyitako nga kuwedde abaana ba Isiraeri ne bavaayo n'omukono ogwagulumizibwa mu maaso g'Abamisiri bonna,
4 Abamisiri bwe baali nga bakyaziika ababereberye baabwe bonna Mukama be yakuba mu bo: ne ku bakatonda baabwe Mukama n'awalana emisango.
5 Abaana ba Isiraeri ne basitula e Lamesesi, ne basiisira e Sukkosi.
6 Ne basitula e Sukkosi, ne basiisira e Yesamu, ekiri ku mabbali g'eddungu.
7 Ne basitula e Yesamu ne badda ennyuma okntuuka e Pikakirosi, ekyolekera Baalizefoni: ne basiisira okwolekera Migudooli.
8 Ne basitula e Kakirosi, ne bayita wakati mu nnyanja ne bayingira mu ddungu: ne batambula olugendo olw'ennaku ssatu mu ddungu ery'e Yesamu, ne basiisira mu Mala.
9 Ne basitula e Mala ne batuuka e Erimu: era mu Erimu waaliwo ensulo z'amazzi kkumi na bbiri, n'enkindu nsanvu; ne basiisira eyo.
10 Ne basitula e Erimu, ne basiisira ku Nnyanja Emmyufu.
11 Ne basitula okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne basiisira mu ddungu Sini.
12 Ne basitula okuva mu ddungu Sini, ne basiisira e Dofuka.
13 Ne basitula e Dofuka, ne basiisira e Yalusi.
14 Ne basitula e Yalusi, ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywa.
15 Ne basitula e Lefidimu, ne basiisira mu ddungu lya Sinaayi.
16 Ne basitula okuva mu ddungu lya Sinaayi, ne basiisira e Kiberosukataava.
17 Ne basitula e Kiberosukataava, ne basiisira e Kazerosi.
18 Ne basitula e Kazerosi, ne basiisira e Lisuma.
19 Ne basitula e Lisuma, ne basiisira e Limoniperezi.
20 Ne basitula e Limoniperezi, ne basiisira e Libuna.
21 Ne basitula e Libuna, ne basiisira e Lisa.
22 Ne basitula e Lisa, ne basiisira e Kekerasa.
23 Ne basitula e Kekerasa, ne basiisira ku lusozi Seferi.
24 Ne basitula okuva ku lusozi Seferi, ne basiisira e Kalada.
25 Ne basitula e Kalada, ne basiisira e Makerosi.
26 Ne basitula e Makerosi, ne basiisira e Takasi.
27 Ne basitula e Takasi, ne basiisira e Tera.
28 Ne basitula e Tera, ne basiisira e Misuka.
29 Ne basitula e Misuka, ne basiisira e Kasumona.
30 Ne basitula e Kasumona, ne basiisira e Moserosi.
31 Ne basitula e Moserosi, ne basiisira e Beneyakani.
32 Ne basitula e Beneyakani, ne basiisira e Kolukagidugada.
33 Ne basitula e Kolukagidugada, ne basiirisa e Yorubasa.
34 Ne basitula e Yorubasa, ne basiisira e Yabulona.
35 Ne basitula e Yabulona, ne basiisira e Ezyonigeba.
36 Ne basitula e Ezyonigeba, ne basiisira mu ddungu Zini (ye Kadesi):
37 Ne basitula e Kadesi, ne basiisira ku lusozi Koola, ku mabbali g'ensi ya Edomu.
38 Alooni kabona n'alinnya ku lusozi Koola olw'ekiragiro kya Mukama, n'afiira okwo, abaana ba Isiraeri nga baakamaze emyaka ana okuva mu nsi y'e Misiri, mu mwezi ogw'okutaano, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi.
39 Era Alooni yali yaakamaze emyaka kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku lusozi Koola.
40 N'Omukanani, kabaka w'e Yaladi, eyatuulanga ebukiika obwa ddyo mu nsi ya Kanani, n'awulira abaana ba Isiraeri nga bajja.
41 Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.
42 Ne basitula e Zalumona, ne basiisira e Punoni.
43 Ne basitula e Punoni, ne basiisira e Yobosi.
44 Ne basitula e Yobosi, ne basiisira e Iyeabalimu, ku mabbali ga Mowaabu.
45 Ne basitula e Iyeabalimu, ne basiisira e Dibonugadi.
46 Ne basitula e Dibonugadi, ne basiisira e Yalumonudibulasaimu.
47 Ne basitula e Yalumonudibulasaimu, ne basiisira ku nsozi Abalimu, okwolekera Nebo.
48 Ne basitula okuva ku nsozi Abalimu, ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko.
49 Ne basiisira ku Yoludaani, okuva e Besuyesimosi okutuuka e Yaberisitimu mu nsenyi za Mowaabu.
50 Mukama n'agambira Musa mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko nti
51 Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani,
52 kale muligobamu bonna abatuula mu nsi mu maaso gammwe, ne muzikiriza amayinja gaabwe gonna agaliko ebifaananyi, ne muzikiriza ebifaananyi byabwe byonna ebifumbe, ne musuulasuula ebifo byabwe byonna ebigulumivu:
53 era mulirya ensi ne mutuula omwo: kubanga mmwe ngiwadde ensi okugirya.
54 Era mulisikira ensi n'obululu ng'enda zammwe bwe ziri; abayinga obungi mulibawa obusika okusukkiriza, n'abatono olibawa obusika okukendeezaako: wonna wonna akalulu we kaligwirira omuntu, kale we waliba awawe; ng'ebika bya bakitammwe bwe biri bwe mulisika bwe mutyo.
55 Naye bwe mutalikkiriza kugobamu abo abatuula mu nsi mu maaso gammwe; kale abo be mulisigaza ku bo banaabanga ng'ebifumita mu maaso gammwe era ng'amaggwa mu mbiriizi zammwe, era banaabateganyanga mu nsi gye mulituulamu.
56 Awo olulituuka, nga bwe nnali ndowooza okubakola bo, bwe ntyo bwe ndibakola mmwe.