Chapter 3
1 Era kuno kwe kuzaala kwa Alooni ne Musa ku lunaku Mukama lwe yayogereramu ne Musa ku lusozi Sinaayi.
2 Era gano ge mannya g'abaana ba Alooni; Nadabu, omubereberye, ne Abiku, Eriyazaali, ne Isamaali.
3 Ago ge mannya g'abaana ba Alooni, bakabona abaafukibwako amafuta, be yayawula okuweererezanga mu bwakabona.
4 Era Nadabu ne Abiku ne bafiira mu maaso ga Mukama, bwe baawaayo omuliro ogutali gugwe mu maaso ga Mukama, mu ddungu lya Sinaayi, ne bataba na baana: awo Eriyazaali ne Isamaali ne baweererezanga mu bwakabona mu maaso ga Alooni kitaabwe.
5 Mukama n'agamba Musa nti
6 Sembeza ekika kya Leevi, obateeke mu maaso ga Alooni kabona, bamuweerezenga.
7 Era banaakuumanga ebyo ye bye yalagirwa, n'ebyo ekibiina kyonna bye kyalagirwa, mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukolanga okuweereza okw'omu nnyumba.
8 Era banaakuumanga ebintu byonna eby'omu weema ey'okusisinkanirangamu, n'ebyo abaana ba Isiraeri bye baalagirwa, okukolanga okuweereza okw'omu nnyumba.
9 Era onoowa Alooni n'abaana be Abaleevi: baweereddwa ddala ye ku bw'abaana ba Isiraeri.
10 Era onossaawo Alooni n'abaana be, era banaakuumanga obwakabona bwabwe: ne munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga.
11 Awo Mukama n'agamba Musa nti
12 Nange, laba, nze nziye Abaleevi mu baana ba Isiraeri mu kifo ky'ababereberye abaggulanda mu baana ba Isiraeri; n'Abaleevi banaabanga bange:
13 kubanga ababereberye bonna bange; ku lunaku lwe nnattiramu ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri nneetukuliza ababereberye bonna mu Isiraeri, abantu era n'ensolo: banaabanga bange; nze ndi Mukama.
14 Awo Mukama n'agambira Musa mu ddungu lya Sinaayi nti
15 bala abaana ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri: buli mwana mulenzi eyaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo onoobabala.
16 Musa n'ababala ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga bwe yalagirwa.
17 Era bano be baana ba Leevi ng'amannya gaabwe bwe gali; Gerusoni ne Kokasi ne Merali.
18 Era gano ge mannya g'abaana ba Gerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali; Libuni ne Simeeyi.
19 N'abaana ba Kokasi ng'enda zaabwe bwe zaali; Amulaamu ne Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri.
20 N'abaana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali; Makuli ne Musi. Ezo ze nda z'Abaleevi ng'enayumba za bakitaabwe bwe zaali.
21 Mu Gerusoni mwe mwava enda y'Abalibuni, n'enda y'Abasimeeyi: ezo ze nda z'Abagerusoni.
22 Abo abaabalibwa ku bo ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, abo abaabalibwa ku bo baali kasanvu mu bitaano.
23 Enda z'Abagerusoni banaassiisiranga nnyuma w'ennyumba ku luuyi olw'ebugwanjuba.
24 N'omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe ey'Abagerusoni anaabanga Eriyasaafu mutabani wa Laeri.
25 Era abaana ba Gerusoni kye baalagirwa mu weema ey'okusisinkanirangamu kinaabanga ennyumba n'Eweema, ekigibikkako, n'eggigi ery'omulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu,
26 n'ezitimbibwa ez'oluggya, n'eggigi ery'omulyango gw'oluggya oluli ku nnyumba era olwetooloola ekyoto, n'emigwa gyalwo olw'okuweereza kwalwo kwonna.
27 Ne mu Kokasi mwe mwava enda y'Abamulaamu, n'enda y'Abaizukaali, n'enda y'Abakebbulooni, n'enda y'Abawuziyeeri: ezo ze nda z'Abakokasi.
28 Ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo baali kanaana mu lukaaga abaakuumanga awatukuvu we baalagirwa.
29 Enda z'abaana ba Kokasi banaasiisiranga ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa ddyo.
30 Era omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe ey'Abakokasi anaabanga Erizafani mutabaani wa Wuziyeeri.
31 Era kye balagirwa kinaabanga sanduuko, n'emmeeza, n'ekikondo, n'ebyoto, n'ebintu eby'omu watukuvu bye baweerezesa, n'eggigi n'okuweereza kwalyo kwonna.
32 Ne Eriyazaali mutabaani wa Alooni kabona ye anaabanga omukulu w'abakulu b'Abaleevi, ng'alabirira abo abakuuma awatukuvu we balagirwa.
33 Mu Merali mwe mwava enda y'Abamakuli, n'enda y'Abamusi: ezo ze nda za Merali.
34 Era abo abaabalibwa ku bo, ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, baali kakaaga mu bibiri.
35 Era omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe ey'enda za Merali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri: abo banaasiisiranga ku luuyi lw'ennyumba olw'obukiika obwa kkono.
36 N'omulimu ogulagirwa ogw'abaana ba Merali gunaabanga embaawo ez'ennyumba, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo, n'ebintu byayo byonna, n'okuweereza kwayo kwonna;
37 n'empagi ez'oluggya olwetooloola, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emigwa gyazo.
38 N'abo abanaasiisiranga mu maaso g'ennyumba ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu okwolekera enjuba ng'evaayo, banaabanga Musa, ne Alooni ne batabani be, nga bakuuma awatukuvu we balagirwa, olw'okulagirwa kw'abaana ba Isiraeri; ne munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga.
39 Bonna abaabalibwa ku Baleevi, Musa ne Alooni be baabala olw'ekiragiro kya Mukama ng'enda zaabwe bwe zaali, abasajja bonna abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, baali obukumi bubiri mu enkumi bbiri.
40 Mukama n'agamba Musa nti Bala abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, otwale omuwendo gw'amannya gaabwe.
41 Era olintwalira nze Abaleevi nze Mukama mu kifo ky'ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri; n'ebisibo by'Abaleevi mu kifo ky'embereberye zonna ku bisibo by'abaana ba Isiraeri.
42 Awo Musa n'abala, nga Mukama bwe yamulagira, ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri.
43 N'abasajja bonna ababereberye, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, abo abaabalibwa ku bo, baali obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsanvu mu basatu.
44 Mukama n'agamba Musa nti
45 Twala Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri n'ebisibo by'Abaleevi mu kifo ky'ebisibo byabwe: era Abaleevi banaabanga bange; nze Mukama.
46 N'olw'okununula ababereberye b'abaana ba Isiraeri bibiri mu nsanvu mu basatu, abafikkawo ku muwendo gw'Abaleevi,
47 onoosoloozanga sekeri ttaano buli muntu ng'emitwe bwe giri; onoozitwalanga nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri sekeri ze gera abiri:
48 era onoowanga effeeza enunula omuwendo gwabwe ogufikkawo Alooni ne batabani be.
49 Musa n'abasoloozaako effeeza enunula abo abafikkawo ku abo abaanunulibwa n'Abaleevi:
50 ababereberye b'abaana ba Isiraeri be yasoloozaako effeeza; sekeri lukumi mu bisatu mu nkaaga mu ssatu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri:
51 awo Musa n'awa Alooni ne batabani be effeeza enunula, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali nga Mukama bwe yalagira Musa.