Okuva

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40


Chapter 40

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye olisimba ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu.
3 Era oligiteekamu essanduuko ey'obujulirwa, era olitimba eggigi ku ssanduuko.
4 Era oliyingiza emmeeza, n'oteekateeka ebintu ebigiriko; n'oyingiza ekikondo, n'okoleeza ettabaaza zaakyo.
5 Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky'okwoterezangako obubaane mu maaso g'essanduuko ey'obujulirwa, n'oteekawo akatimba ak'oluggi olw'eweema.
6 Era oliteeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo mu maaso g'omulyango ogw'ennyumba y'eweema ey'okusisinkanirangamu.
7 Era oliteeka ekinaabirwamu wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okifukamu amazzi.
8 Era olisimba oluggya okwetooloola, n'otimba akatimba ak'oluggi olw'oluggya.
9 Era olitwala amafuta ag'okufukangako, n'ofuka ku weema, ne ku byonna ebirimu, n'ogitukuza, n'ebintu byayo byonna: era eribeera entukuvu.
10 Era oligafukako ku kyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo, n'ebintu byakyo byonna, n'otukuza ekyoto: n'ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo.
11 Era oligafukako ku kinaabirwamu n'entobo yaakyo, n'okitukuza.
12 Era olireeta Alooni n'abaana be ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'obanaaza n'amazzi.
13 Era oliyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu; n'omufukako amafuta, n'omutukuza, ampeerereze mu bwakabona.
14 Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo:
15 n'obafukako amafuta, nga bw'ofuse ku kitaabwe, bampeerereze mu bwakabona: era bwe balifukibwako amafuta, kiribabeerera obwakabona obutalibavaako mu mirembe gyabwe gyonna.
16 Musa n'akola bw'atyo: nga byonna Mukama bye yamulagira, bwe yakola bw'atyo.
17 Awo olwatuuka mu mwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka ogw'okubiri, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, eweema n'esimbibwa.
18 Musa n'asimba eweema, n'ateekawo ebinnya byayo, n'ayimiriza embaawo zaayo, n'ayingiza emiti gyayo; n'awangiza empagi zaayo.
19 N'atimba eweema ku nnyumba, n'agiteekako kungulu eky'okubikka ku weema; nga Mukama bwe yalagira Musa.
20 N'atwala obujulirwa n'abuteeka mu ssanduuko, n'assa emisituliro ku ssanduuko, n'ateeka entebe ey'okusaasira kungulu ku ssanduuko:
21 n'ayingiza ssanduuko mu weema, n'atimba eggigi eryawulamu, n'akisa essanduuko ey'obujulirwa; nga Mukama bye yalagira Musa.
22 N'ateeka emmeeza mu weema ey'okusisinkanirangamu, ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa kkono, ebweru w'eggigi.
23 N'agiteekateekako emigaati mu maaso ga Mukama: nga Mukama bwe yalagira Musa.
24 N'ateeka ekikondo mu weema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso g'emmeeza, ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa ddyo.
25 N'akoleeza ettabaaza mu maaso ga Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa.
26 N'ateeka ekyoto ekya zaabu mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso g'eggigi:
27 n'akyoterezaako obubaane obw'ebyakaloosa ebiwoomerevu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
28 N'ateekawo akatimba ak'oluggi olw'eweema.
29 N'ateeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo ku mulyango ogw'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'akiwaako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta; nga Mukama bwe yalagira Musa.
30 N'ateeka ekinaabirwamu wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'akifukamu amazzi, okunaabiramu.
31 Musa ne Alooni n'abaana be ne bakinaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe;
32 bwe baayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, era bwe baasembereranga ekyoto, baanaabanga: nga Mukama bwe yalagira Musa.
33 N'asimba oluggya okwetooloola eweema n'ekyoto, n'atimba akatimba ak'oluggi olw'oluggya. Bw'atyo Musa n'amala omulimu.
34 Ekire ne kiryoka kibikka ku weema ey'okusisinkanirangamu, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba.
35 Musa n'atayinza kuyingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, kubanga ekire kyagituulako, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba.
36 Era ekire bwe kyaggibwanga ku weema, abaana ba Isiraeri ne batambulanga, mu lugendo lwabwe lwonna:
37 naye ekire bwe kitaggibwangako, ne batatambulanga okutuusa ku lunaku lwe kyaggibwangako.
38 Kubanga ekire kya Mukama kyabeeranga ku weema emisana, n'ekiro ne mubangamu omuliro, mu maaso g'ennyumba ya Isiraeri yonna, mu lugendo lwabwe lwonna.