Chapter 10
1 Mukama n'agamba Musa nti Yingira eri Falaawo; kubanga nkakanyazizza omutima gwe n'omutima gw'abaddu be, ndyoke ndage obubonero bwange buno wakati waabwe:
2 era olyoke obuulire mu matu g'omwana wo ne mu g'omwana w'omwana wo, bye nkoze ku Misiri, n'obubonero bwange bwe nkoze wakati waabwe; mulyoke mumanye nga nze Mukama.
3 Musa ne Alooni ne bayingira eri Falaawo, ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda w'Abaebbulaniya nti Olituusa wa okugaana okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange, bampeereze.
4 Naye, bw'onoogaana okubaleka abantu bange, laba, jjo ndireeta enzige mu nsalo yo:
5 zirisaanikira kungulu ku nsi, ensi ereme okulabika: zirirya ebisigadde ebyawonawo, omuzira bye gwabalekera, ne zirya buli muti ogubamerera mu nsuku:
6 era ennyumba zo zirijjula, n'ennyumba z'abaddu bo bonna n'ennyumba z'Abamisiri bonna: nga bakitaawo bwe bataalaba newakubadde bakitaabwe ba kitaawo, okuva lwe baabeerawo ku nsi okutuusa leero. N'akyuka, n'ava eri Falaawo.
7 Abaddu ba Falaawo ne bamugamba nti Alituusa wa ono okutubeerera omutego? Leka abantu, baweereze Mukama Katonda waabwe: tonnamanya nga Misiri efudde?
8 Ne bazzibwa Musa ne Alooni eri Falaawo: n'abagamba nti Mugende, muweereze Mukama Katonda wammwe: naye b'ani abaligenda?
9 Musa n'ayogera nti Tuligenda n'abaana baffe abato era n'abakadde baffe, n'abaana baffe ab'obulenzi era n'abaana baffe ab'obuwala, n'endiga zaffe era n'ente zaffe bwe tuligenda; kubanga obubi buli mu maaso gammwe kubanga kitugwanidde ffe okukolera Mukama embaga.
10 N'abagamba nti Mukama abe nammwe nga bwe ndibaleka mmwe n'abaana bammwe abawere: mulabe;
11 Nedda mmwe abasajja abakulu mugende kaakano, mumuweereze Mukama; kubanga ekyo kye mwagala. Ne bagobebwa mu maaso ga Falaawo.
12 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri wabe enzige, zirinnye ku nsi ey'e Misiri, zirye buli muddo ogw'ensi, byonna byonna omuzira bye gwalekawo.
13 Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga ku nsi ezaava ebuvanjuba ku lunaku luli obudde okuziba n'okukya; bwe bwakya enkya, embuyaga ezaava ebuvanjuba ne zireeta enzige.
14 Enzige ne zirinnya ku nsi yonna ey'e Misiri, ne zigwa mu nsalo zonna ez'e Misiri: zaali nzibu nnyo; edda n'edda tewabanga nzige nga ezo, newakubadde ennyuma waazo tewalibeera nga ezo.
15 Kubanga zaasaanikira kungulu ku nsi yonna, ensi n'efuusibwa ekizikiza; ne zirya buli muddo gwonna ogw'ensi n'ebibala byonna eby'emiti, omuzira bye gwalekawo: ne watasigala kintu kibisi, newakubadde omuti newakubadde omuddo ogw'omu nsuku, mu nsi yonna ey'e Misiri.
16 Falaawo n'alyoka ayita mangu Musa ne Alooni; n'ayogera nti Nnyonoonye Mukama Katonda wammwe, nammwe.
17 Kale kaakano nkwegayiridde, munsonyiwe okwonoona kwange omulundi guno gwokka, mumusabe Mukama Katonda wammwe, anziyeko olumbe luno lwokka.
18 N'ava eri Falaawo, n'asaba Mukama.
19 Mukama n'aleeta embuyaga ez'amaanyi ennyo ezaava ebugwanjuba, ne zitwala enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emmyufu; tewaasigala nzige n'emu mu nsalo yonna ey'e Misiri.
20 Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'ataleka abaana ba Isiraeri.
21 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza kibeere ku nsi ey'e Misiri, ekizikiza ekiwulikika.
22 Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu; ekizikiza ekikutte ne kiba mu nsi yonna ey'e Misiri ennaku ssatu;
23 tebaalabagana, newakubadde omuntu yenna teyagolokoka mu kifo kye ennaku ssatu: naye abaana ba Isiraeri bonna baalina omusana mu nju zaabwe.
24 Falaawo n'ayita Musa n'ayogera nti Mugende muweereze Mukama; endiga zammwe n'ente zammwe ze zibazisigala zokka: abaana abawere nabo bagende nammwe.
25 Musa n'ayogera nti Kikugwanidde nate okutuwa mu mikono gyaffe saddaaka n'ebiweebwayo ebyokebwa, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe.
26 Era n'amagana gaffe galigenda naffe; tewalisigala kinuulo n'ekimu; kubanga kitugwanidde okuzitwalako, tuweereze Mukama, Katonda waffe; era tetumanyi bye tulimuweerezesa Mukama, okutuusa lwe tulituuka eyo.
27 Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atayagala kubaleka.
28 Falaawo n'amugamba nti Vaawo wendi, weekuume, oleme okulaba amaaso gange nate; kubanga ku lunaku lw'olirabiramu amaaso gange, olifa.
29 Musa n'ayogera nti Oyogedde bulungi; siriraba nate maaso go.