Essuula 5
1 Awo oluvannyuma ne bajja Musa ne Alooni ne bagamba Falaawo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Leka abantu bange bankolere embaga mu ddungu.
2 Falaawo n'ayogera nti Mukama ye ani, mmuwulire eddoboozi lye okuleka Isiraeri? Simanyi nze Mukama, era nate sirireka Isiraeri.
3 Ne boogera nti Katonda wa Baebbulaniya yatusisinkana: tukwegayiridde, leka tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe; aleme okutukuba ne kawumpuli oba n'ekitala.
4 Kabaka w'e Misiri n'abagamba nti Lwaki mmwe, Musa ne Alooni, okubalesaayo abantu emirimu gyabwe? Mugende eri emigugu gyammwe.
5 Falaawo n'ayogera nti Laba, abantu ab'omu nsi bangi kaakano, nammwe mubawummuza mu migugu gyabwe.
6 Ku lunaku luli Falaawo n'alagira abakoza b'abantu n'abaami baabwe, ng'ayogera nti
7 Temuwanga nate abantu essuubi ery'okukoza amatoffaali ng'edda: bagende beekuŋŋaanyize essubi.
8 N'omuwendo ogw'amatoffaali, gwe baakola edda, mugubasalire; muleme okugukendeezaako n'akatono: kubanga bagayaala; kyebava bakaaba nga boogera nti Leka tugende tuweeyo saddaaka eri Katonda waffe.
9 Emirimu emizibu gisalirwe abasajja bagikole; baleme okuwulira ebigambo eby'obulimba.
10 Abakoza b'abantu ne bavaayo n'abaami baabwe, ne bagamba abantu nga boogera nti Bw'ati bw'ayogera Falaawo nti Siribawa ssubi.
11 Mugende mwekka, mwereetere essubi gye muyinza okuliraba: kubanga emirimu gyammwe tegirisalibwako n'akatono.
12 Awo abantu ne basaasaanira mu nsi yonna ey'e Misiri okukuŋŋaanya ebisasiro nga tewali ssubi.
13 Abakoza baabwe ne babakubiriza, nga boogera nti Mutuukirize emirimu gyammwe, emirimu egya buli lunaku, nga bwe mwakola essubi bwe lyabangawo.
14 Abaami b'abaana ba Isiraeri, abakoza ba Falaawo be baakuza ku bo, ne bakubibwa, nga boogera nti Lwaki obutatuukiriza mulimu gwammwe jjo ne leero okukola amatoffaali ng'edda?
15 Awo ne bajja abaami b'abaanal ba Isiraeri ne bakaabira Falaawo, nga boogera nti Kiki ekikukoza bw'otyo abaddu bo?
16 Abaddu bo tetuweebwa ssubi, ne batugamba nti Mukole amatoffaali: era, laba, abaddu bo tukubibwa; naye omusango guli ku bantu bo.
17 Naye n'ayogera nti Mugayaala, mugayaala: kyemuva mwogera nti Leka tugende tuweeyo saddaaka eri Mukama.
18 Kale kaakati mugende mukole emirimu; kubanga temuliweebwa ssubi,naye nammwe munaaleetanga omuwendo gw'amatoffaali.
19 Abaami b'abaana ba Isiraeri ne balaba nga balabye obubi bwe bayogera nti Temulikendeeza ku matoffaali gammwe n'akatono, emirimu egya buli lunaku.
20 Ne basisinkana Musa ne Alooni, abaali bayimiridde mu kkubo, nga bava eri Falaawo:
21 ne babagamba nti Mukama abatunuulire asale omusango; kubanga mukyayisizza okuwunya kwaffe mu maaso ga Falaawo, ne mu maaso g'abaddu be, okubawa ekitala mu mukono gwabwe okututta.
22 Musa n'addayo eri Mukama n'ayogera nti Ai Mukama, kiki ekikukozezza obubi abantu bano? Kiki ekikuntumizza nze?
23 Kubanga kasookedde njija eri Falaawo okwogera mu linnya lyo, akoze bubi abantu bano; so tewabawonya abantu bo n'akatono.