Okuva

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40


Chapter 32

1 Awo abantu bwe baalaba nga Musa aludde okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaana eri Alooni, ne bamugamba nti Golokoka, otukolere bakatonda, abanaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.
2 Alooni n'abagamba nti Mumenye ku mpeta eza zaabu, eziri mu matu g'abakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere.
3 Abantu bonna ne bamenya ku mpeta eza zaabu ezaali mu matu gaabwe, ne bazireetera Alooni.
4 N'agitoola mu ngalo zaabwe, n'agiwumba n'ekyuma ekisala, n'agifuula ennyana ensaanuuse: ne boogera nti Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri
5 Alooni bwe yalaba, n'azimba ekyoto mu maaso gaayo; Alooni n'alangirira n'ayogera nti Enkya wanaabeera embaga eri Mukama.
6 Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okwokya, ne baleeta ebiweebwayo olw'emirembe; abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya.
7 Mukama n'agamba Musa nti Genda oserengete; kubanga abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri beeyonoonyesezza:
8 bakyamye mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira: beekoledde ennyana ensaanuuse, ne bagisinza, ne bagiwa ssaddaaka, ne boogera nti Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaaku ggya mu nsi y'e Misiri:
9 Mukama n'agamba Musa nti Abantu bano era, laba, be bantu abalina ensingo enkakanyavu:
10 kale kaakano ndeka, obusungu bwange bwake nnyo ku bo, era mbazikirize: era ndikufuula ggwe eggwanga eddene.
11 Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayogera nti Mukama, kiki ekyasizza ennyo obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogw'obuyinza?
12 Lwaki okwogeza Abamisiri nti Yabaggiramu obubi, okubattira ku nsozi, n'okubazikiriza okuva ku maaso g'ensi? Oleke obusungu bwo obukambwe, ojjulukuke oleke obubi obwo eri abantu bo.
13 Ojjukire Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, abaweereza bo, be weerayiririra wekka n'obagamba nti Ndyongera ezzadde lyammwe ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'ensi eyo yonna gye njogeddeko ndigiwa ezzadde lyammwe, nabo baligisikira emirembe gyonna.
14 Mukama n'ajjulukuka n'aleka obubi bw'abadde ayogedde okubakola abantu be.
15 Musa n'akyuka, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'alina ebipande bibiri eby'obujulirwa mu ngalo ze; ebipande ebyawandiikibwako ku njuyi zaabyo zombi; byawandiikibwako eruuyi n'eruuyi.
16 N'ebipande byali mulimu gwa Katonda, n'okuwandiika kwali kuwandiika kwa Katonda, okwayolebwa ku bipande.
17 Yoswa bwe yawulira eddoboozi ly'abantu nga boogerera waggulu, n'agamba Musa nti Waliwo eddoboozi ery'okulwana mu lusiisira.
18 N'ayogera nti Eryo si ddoboozi lyabo aboogerera waggulu olw'okuwangula, so si ddoboozi lyabo abakaaba olw'okugobebwa: naye eddoboozi lyabo abayimba lye mpulira.
19 Awo olwatuuka bwe yasemberera olusiisira, n'alyoka alaba ennyana n'abazina: obusungu bwa Musa ne bwaka nnyo, n'akasuka ebipande mu ngalo ze, n'abimenyera wansi w'olusozi,
20 N'atwala ennyana gye baali bakoze, n'agyokya n'omuliro, n'agisekulasekula, n'agimansira ku mazzi, n'aganywesaako abaana ba Isiraeri.
21 Musa n'agamba Alooni nti Abantu bano baakukola ki, ggwe n'okuleeta n'obaleetako okwonoona okunene?
22 Alooni n'ayogera nti Obusungu bwa mukama wange buleme okubuubuuka ennyo: gw'omanyi abantu bano, nga bagobererera ddala obubi.
23 Kubanga baŋŋamba nti Tukolere bakatonda, abanaatukulemberanga: kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.
24 Ne mbagamba nti Buli alina zaabu yonna yonna, bagimenyeko; awo ne bagimpa: ne ngiteeka mu muliro, n'ennyana eno n'evaamu.
25 Awo Musa bwe yalaba ng'abantu bajeemye; kubanga Alooni yabajeemya okusekererwa abalabe baabwe:
26 Musa n'alyoka ayimirira mu wankaaki w'olusiisira, n'ayogera nti Buli muntu ali ku lwa Mukama, ajje gye ndi. Abaana bonna aba Leevi ne bakuŋŋaana gy'ali.
27 N'abagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Muteeke buli muntu ekitala kye ku kisambi kye, muddiiŋŋane mu miryango gyonna mu lusiisira lwonna, mutte buli muntu muganda we, na buli muntu munne, na buli muntu muliraanwa we.
28 Abaana ba Leevi ne bakola ng'ekigambo kya Musa: ne bafa ku bantu ku lunaku luli abasajja nga nkumi ssatu.
29 Musa n'ayogera nti Mwetukuze leero eri Mukama, newakubadde okulwana buli muntu n'omwana we, era ne muganda we; alyoke abawe leero omukisa.
30 Awo olwatuuka enkya Musa n'agamba abantu nti Mwayonoonye ekyonoono ekinene: ne kaakano naalinnya eri Mukama; mpozzi naakola ekinaatangirira olw'ekyonoono kyammwe.
31 Musa n'addayo eri Mukama, n'ayogera nti Woo, abantu abo bayonoonye ekyonoono ekinene, ne beekolera bakatonda aba zaabu.
32 Naye kaakano, bw'onoosonyiwa ekyonoono kyabwe; naye bw'otoobasonyiwe, onsangule nze, nkwegayiridde, mu kitabo kyo kye wawandiika.
33 Mukama n'agamba Musa nti Buli eyannyonoonye nze, oyo gwe nnaasangula mu kitabo kyange.
34 Ne kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nnakugambako: laba, malayika wange anaakukulemberanga: era naye ku lunaku luli lwe ndiwalana, ndibawalanako ekibi kyabwe.
35 Mukama n'abonyaabonya abantu, kubanga baakola ennyana, Alooni gye yakola.